
25
1Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti
2Okufuga n’entiisa biri naye;
Aleeta emirembe mu bifo bye ebigulumivu.
325:3 Yob 19:12, Zab 103:21, Mat 5:45, Yak 1:17Eggye lye liriko gye likoma?
Era ani ataviirwayo omusana gwe?
425:4 Yob 4:17; 14:4; 15:14, Zab 143:2Kale omuntu ayinza atya okuba n’obutuukirivu eri Katonda?
Oba ayinza atya okuba omulongoofu oyo azaalibwa omukazi?
5Laba, n’omwezi tegulina kumasamasa,
N’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge:
625:6 Zab 22:6, Is 41:14Okusinga ennyo omuntu, envunyu!
N’omwana w’omuntu, olusiriŋŋanyi!
All rights reserved – The Bible Society of Uganda