
24
124:1 Mub 9:12, Is 2:12, Yo 1:15; 2:1, Am 5:18Omuyinza w’ebintu byonna kiki ekimulobera okutereka ebiro?
N’abo abamumanyi kiki ekibalobera okulaba ennaku ze?
224:2 Ma 19:14Wabaawo abajjulula obubonero bw’ensalo;
Banyaga embuzi lwa maanyi ne baziriisa.
324:3 Yob 22:6Bagoba endogoyi ey’abatalina kitaabwe,
Batwala ente ya nnamwandu okuba omusingo.
424:4 Nge 28:28, Am 5:12, Zef 2:3Bakyamya abeetaaga mu kkubo:
Abaavu ab’omu nsi beekweka wamu.
524:5 Zab 104:21,23Laba, ng’entulege mu ddungu
Bafuluma eri omulimu gwabwe nga banoonyeza ddala eby’okulya;
Ensiko ebawa emmere ya baana baabwe.
6Basala emmere ey’ensolo zaabwe mu ttale;
Era banoga ezabbibu ez’obubi.
724:7 Kuv 22:26,27Basula ne bakeesa obudde nga tebaliiko kye bambadde,
So tebaliiko kye beebikka empewo nga zifuuwa.
824:8 Kung 4:5Batoba n’oluwandaggirize olw’oku nsozi,
Era bavumbagira olwazi nga babuliddwa we beggama.
9Wabaawo abakwakula abatalina kitaabwe okubaggya ku mabeere,
Ne baggya omusingo ku mwavu:
1024:10 Yak 5:4N’okutambula ne batambula bwereere nga tebalina kye bambadde,
Era enjala ng’ebalumye beetikka ebinywa;
11Bakamulira amafuta mu bisenge by’abasajja abo;
Balinnya amasogolero gaabwe ne balumwa ennyonta.
1224:12 Yer 51:52Abantu basinda nga bali mu kibuga ekirimu abantu abangi,
Emmeeme y’abo abafumitiddwa n’ekaaba:
Naye Katonda takibala okuba obusirusiru.
1324:13 Yok 3:19,20Abo bali ku muwendo gw’abo abajeemera omusana;
Tebamanyi makubo gaagwo,
So tebabeerera mu mpenda zaagwo.
1424:14 Zab 10:8Omussi agolokokera wamu n’omusana, atta omwavu ne yeetaaga;
Era ekiro aba ng’omubbi.
1524:15 Nge 7:9Era n’eriiso ly’omwenzi lirindirira ekizikiza,
Ng’ayogera nti Tewali liiso erinandaba:
Ne yeefuula amaaso ge.
1624:16 Kuv 22:2, Mat 6:20Mu kizikiza mwe basimira ennyumba:
Beggalira emisana;
Tebamanyi musana.
17Kubanga obw’enkya buli ng’ekisiikirize eky’okufa eri abo bonna;
Kubanga bamanyi ebitiisa eby’ekisiikirize eky’okufa.
1824:18 Yob 9:26, Kos 10:7Aba wa mbiro ng’amazzi;
Omugabo gwabwe gukolimiddwa ku nsi:
Takyukira awali ekkubo ery’ensuku z’emizabbibu.
1924:19 Yob 21:13Ekyeya n’ebbugumu bimalawo amazzi agava mu muzira:
N’amagombe bwe gatyo gamalawo abo abayonoona.
2024:20 Yob 18:16, Nge 10:7Olubuto lunaamwerabiranga; envunyu eneemulyanga ng’ewoomeddwa;
Tajjukirwenga nate:
Kale obutali butuukirivu bunaamenyekanga ng’omuti.
21Alya omugumba atazaala;
So takola nnamwandu bulungi.
22Era awalula n’ab’amaanyi olw’obuyinza bwe:
Ayimuka, so tewali muntu asuubira okuba omulamu.
2324:23 Zab 11:4, Nge 15:3Katonda abawa okuba emirembe, ne beesigama okwo;
N’amaaso ge gali ku makubo gaabwe.
2424:24 Yob 14:2, Zab 37:10Bagulumizibwa; ne wayitawo ebbanga ttono nga bagenze;
Weewaawo, bakkakkanyizibwa, baggibwa mu kkubo ng’abalala bonna,
Era basalibwa ng’emitwe gy’ebirimba by’eŋŋaano.
25Era oba nga si bwe kiri kaakano, ani anannumiriza nga ndi mulimba,
Naafuula okwogera kwange obutabaako kye kugasa?