
23
1Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti
223:2 Yob 10:1, Zab 32:4Ne leero okwemulugunya kwange kujeemu:
Okukubibwa kwange kusinga okusinda kwange obuzito.
323:3 Zab 9:7,8Singa mmanyi gye nnyinza okumulabira,
Singa nnyinza okutuuka n’awali entebe ye!
423:4 Yob 13:3; 33:5Nandiriraanyizza ensonga yange mu maaso ge,
Ne njijuza akamwa kange ensonga.
5Nandimanye ebigambo bye yandinzizeemu,
Ne ntegeera bye yandiŋŋambye.
6Yandinnyombesezza olw’obukulu bw’obuyinza bwe?
Nedda, naye yandinzisizzaako omwoyo.
7Eyo ab’amazima bandiyinzizza okuwoza naye;
Bwe nnandiwonyezebbwa bwe ntyo ennaku zonna eri omulamuzi wange.
823:8,9 Yob 9:11; 35:14Laba, ntambula mu maaso, naye ye nga taliiyo;
Ne ntambula ennyuma, naye ne ssiyinza kumulaba:
9Ku mukono ogwa kkono, bw’akola omulimu, naye ne ssiyinza kumulaba:
Yeekweka ku mukono ogwa ddyo n’okulaba ne ssiyinza kumulaba:
1023:10 Zab 66:10; 139:1-3,24, Zek 13:9, 1 Peet 1:7Naye amanyi ekkubo lye nkwata;
Bw’alimala okunkema, ndivaamu nga zaabu.
1123:11 Zab 17:5; 44:18Okugulu kwange kwasimbira ddala mu bigere bye;
Ekkubo lye nalikwata ne ssikyama.
1223:12 Zab 119:11,103, Yok 4:32,34Siddanga nnyuma okuva mu kiragiro eky’emimwa gye;
Natereka ebigambo eby’akamwa ke okusinga emmere yange eŋŋwanira.
1323:13 Yob 9:12; 12:14, Zab 115:3Naye ye alowooza bumu, era ani ayinza okumukyusa?
Era emmeeme ye kye yeegomba ekyo ky’akola.
1423:14 Yob 10:13, 1 Bas 3:3Kubanga atuukiriza ekyo ekyanteekerwawo:
N’ebingi ebiri bwe bityo biri naye.
15Kyenva neeraliikirira ye okubaawo;
Bwe ndowooza mmutya.
16Kubanga Katonda azirisizza omutima gwange.
Era Omuyinza w’ebintu byonna anteganyizza:
17Kubanga saazikirizibwa okusooka ekizikiza,
So teyabikka ku kizikiza ekikutte eri amaaso gange.