
22
1Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti
222:2 Yob 35:7Omuntu ayinza okugasa Katonda?
Mazima ow’amagezi yeegasa yekka.
322:3 Zab 18:32Kiriko bwe kisanyusa Omuyinza w’ebintu byonna ggwe okubeera omutuukirivu?
Oba kimugasa ggwe okutuukiriza amakubo go?
422:4 Yob 14:3Kubanga omutya kyava akunenya,
Kyava asala omusango gwo?
5Obubi bwo si bungi?
So n’obutali butuukirivu bwo tebuliiko gye bukoma.
622:6 Kuv 22:26, Yob 24:3,9, Ez 18:12,16Kubanga waggya ku muganda wo emisingo egy’obwereere,
N’oyambula abaali obwereere ebyambalo byabwe.
722:7 Is 58:7, Mat 25:42Tonywesanga mazzi omukoowu,
Era wamma omuyala emmere.
8Naye ow’amaanyi ye yalya ensi;
N’ow’ekitiibwa ye yagibeeramu.
922:9 Yob 31:21, Is 10:2Wasindika bannamwandu nga tebalina kintu,
N’emikono gy’abatalina kitaabwe gyamenyeka.
1022:10 Yob 18:8-11Obukunizo kyebuva bukwetooloola,
N’entiisa gy’otomanyiridde ekweraliikiriza,
1122:11 Yob 27:20, Zab 69:1, Kung 3:54, Yon 3:3,5Oba ekizikiza n’otoyinza kulaba,
Amazzi amangi ne gakubikkako.
1222:12 Yob 11:8Katonda tali mu ggulu awagulumizibwa?
Era laba emmunyeenye bwe zenkana obugulumivu!
1322:13 Zab 59:7, Is 29:15, Ez 8:12Naawe oyogera nti Katonda amanyi ki?
Ayinza okusala omusango ng’ayima mu kizikiza ekikutte?
1422:14 Zab 139:11,12Ebire ebiziyivu bimubikkako n’okulaba talaba;
Era atambulira mu kwekulungirira kw’eggulu.
15Oyagala okukwata ekkubo ery’edda
Abantu ababi bye baalinnyirangamu?
16Abaakwakulibwa entuuko zaabwe nga tezinnabaawo,
Omusingi gwabwe ne gufukibwa ng’omugga:
1722:17 Yob 21:14, Zab 4:6Abaagambanga Katonda nti Tuveeko:
Era nti Omuyinza w’ebintu byonna ayinza kutukolera ki?
1822:18 Yob 21:16Naye yajjuza ennyumba zaabwe ebirungi:
Naye okuteesa kw’ababi kundi wala.
1922:19 Zab 2:4; 52:6; 58:10Abatuukirivu bakiraba ne basanyuka;
N’ataliiko musango abasekerera nnyo:
20Ng’ayogera nti Mazima abo abaatugolokokerako bamaliddwawo,
N’abo abafisseewo omuliro gubookezza.
2122:21 Nge 3:2Yiga nno obeere n’emirembe:
Bw’otyo bw’onoobanga n’ebirungi.
2222:22 Zab 119:11, Nge 2:6Nkwegayiridde, kkiriza amateeka eri akamwa ke,
Era tereka ebigambo bye mu mutima gwo.
2322:23 Yob 8:5,6; 11:13,14, Yer 24:6, Mal 3:7Bw’onookomangawo eri Omuyinza w’ebintu byonna, onoozimbibwanga;
Bw’onoggyangawo obutali butuukirivu okuba ewala n’eweema zo.
2422:24 1 Bassek 9:28N’oteeka ebibyo eby’obugagga mu nfuufu,
Ne zaabu eya Ofiri mu mayinja ag’omu bugga;
25Kale Omuyinza w’ebintu byonna ye anaabanga obugagga bwo,
Era anaabanga ffeeza ya muwendo mungi gy’oli.
2622:26 Yob 11:15, Zab 37:4, Is 58:14Kubanga lw’onoosanyukiranga Omuyinza w’ebintu byonna,
Era onooyimusanga amaaso go eri Katonda.
2722:27 Yob 33:26, Zab 50:14,15, Is 58:9Onoosabanga okusaba kwo eri ye, naye anaakuwuliranga;
Era onoosasulanga obweyamo bwo.
2822:28 Nge 4:18Era onoolagiranga ekigambo ne kinywera gy’oli;
N’omusana gunaayakiranga amakubo go.
2922:29 Zab 138:6, Nge 3:34, Mat 23:12, Yak 4:6, 1 Peet 5:5Bwe bakusuula, onooyogeranga nti Waliwo okuyimusibwa;
Era anaalokolanga eyeetoowaza. 3022:30 Lub 18:26, Zab 18:20; 24:4; 26:6Anaawonyanga n’oyo aba taliiko musango:
Weewaawo, anaawonyezebwanga olw’obulongoofu bw’engalo zo.