
20
1Awo Zofali Omunaamasi n’addamu n’ayogera nti
2Ebirowoozo byange kyebiva binziramu,
Olw’okwanguyiriza okuli mu nze.
3Mpulidde okunenya okunswaza,
Omwoyo ogw’okutegeera kwange ne gunziramu.
420:4 Ma 4:32Ekyo tokimanyi obw’edda,
Omuntu kasookedde ateekebwa ku ttaka,
520:5 Zab 37:35Ng’okuwangula kw’ababi kwa kuggwaawo mangu,
Era ng’essanyu ly’abatamanyi Katonda lya kiseera buseera?
620:6 Is 14:13,14, Ob 3,4Obukulu bwe newakubadde nga bulinnya okutuuka mu ggulu,
N’omutwe gwe gutuuka mu bire;
720:7 1 Bassek 14:10, Yob 14:10, Zab 83:10Naye anaabulanga emirembe gyonna ng’empitambi ye ye:
Abo abaamulabanga banaayogeranga nti Ali ludda wa?
820:8 Zab 73:20; 90:5, Is 29:7Anaavangawo ng’ekirooto, so taalabikenga:
Weewaawo, anaagoberwanga ddala ng’okwolesebwa okw’ekiro.
920:9 Yob 7:8,10Eriiso eryamulabanga teriimulabenga nate;
So n’ekifo kye tekiimutunuulirenga nate.
10Abaana be baneegonzanga eri abaavu,
N’emikono gye ginaakomyangawo obugagga bwe.
1120:11 Yob 21:26Amagumba ge gajjudde obuvubuka bwe,
Naye bunaagalamiranga naye mu nfuufu.
1220:12 Zab 10:7Obubi newakubadde nga bumuwoomera mu kamwa ke,
Newakubadde ng’abukweka wansi w’olulimi lwe;
13Newakubadde ng’abusonyiwa n’ataganya kubuta,
Naye ng’akyaguguba nabwo mu kamwa ke;
1420:14 Ma 32:33Naye emmere ye mu byenda bye efuuse,
Bwe busagwa bwe mbalasaasa munda ye.
15Yamira obugagga, era anaabusesemanga nate:
Katonda anaabuggyanga mu lubuto lwe.
1620:16 Nge 23:32Anaanuunanga obusagwa bw’embalasaasa:
Olulimi lw’omusota lunaamuttanga.
1720:17 Ma 32:13,14, Yob 29:6, Zab 36:8Taatunuulirenga migga,
Emigga egikulukuta egy’omubisi gw’enjuki n’omuzigo.
18Kye yateganira anaakizzanga, so taakimirenga;
So taasanyukenga ng’ebintu bwe biri by’afunye.
19Kubanga yajooga abaavu n’abaleka;
Yaggyawo ennyumba olw’amaanyi so taagizimbenga.
2020:20 Nge 17:1, Mub 5:13,14, Is 59:8Kubanga teyamanya kutereera munda ye,
Taawonyenga kintu ku ebyo by’asanyukira.
21Tewasigala kintu ky’atalya;
Omukisa gwe kyegunaavanga gulema okuba ogw’olubeerera.
22Mu lufulube lw’ebintu bye ebisukkirira anaalabanga ennaku:
Omukono gwa buli muntu aliko obuyinike gunaamutuukangako.
2320:23 Kubal 11:33Bw’aba ng’anaatera okukkusa olubuto lwe,
Katonda anaamusuulangako ekiruyi kye ekingi,
Era anaakitonnyesanga ku ye ng’alya.
2420:24 2 Sam 22:35, Am 5:19Anaddukanga ekyokulwanyisa eky’ekyuma,
N’omutego ogw’ekikomo gunaamufumitanga.
2520:25 Yob 18:11Aguggyamu ne guva mu mubiri gwe:
Weewaawo, omumwa gwagwo ogumasamasa guva mu mususa gwe;
Ebitiisa bimuliko.
2620:26 Yob 15:34, Zab 21:9Ekizikiza kyonna kyaterekerwa ebibye eby’obugagga:
Omuliro ogutakumibwa bantu gunaamwokyanga;
Gunaamalangawo ebyo ebisigadde mu weema ye.
27Eggulu linaabikkulanga ku butali butuukirivu bwe,
N’ensi eneemugolokokerangako.
28Ekyengera eky’omu nnyumba ye kinaavangawo,
Ebintu bye binaabuliranga ku lunaku olw’obusungu bwe.
2920:29 Yob 27:13Ogwo gwe mugabo gw’omuntu omubi oguva eri Katonda,
N’obusika Katonda bwe yamuteekerawo.