
2
12:1 Yob 1:6Awo nate olunaku lwali lumu abaana ba Katonda ne bajja okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani naye n’ajjira mu bo okukiika mu maaso ga Mukama. 22:2 Yob 1:7Mukama n’agamba Setaani nti Ova wa? Setaani n’addamu Mukama n’ayogera nti Nva kuddiŋŋana mu nsi n’okutambulatambula omwo wano ne wali. 32:3 Yob 1:8Mukama n’agamba Setaani nti Olowoozezza ku muddu wange Yobu? kubanga tewali mu nsi amufaanana, omusajja eyatuukirira era ow’amazima, atya Katonda ne yeewala obubi: era akyanywezezza obutayonoona bwe, newakubadde nga wasaakiriza gy’ali, okumuzikiririza obwereere. 4Setaani n’addamu Mukama n’ayogera nti Eddiba olw’eddiba, weewaawo, byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe. 52:5 Yob 1:5Naye kaakano golola omukono gwo, okome ku magumba ge ne ku mubiri gwe, era alikwegaanira mu maaso go. 6Mukama n’agamba Setaani nti Laba, ali mu mukono gwo; kyokka mulekere obulamu bwe. 72:7 Kuv 9:9, Ma 28:35, Is 1:6Awo Setaani n’ava awali Mukama, n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku bwezinge bwe. 82:8 Yob 42:6, Ez 27:30, Yon 3:6N’addiranga olugyo okweyaguza; n’atuulanga mu vvu. 92:9 Yob 1:5; 27:5,6Awo mukazi we n’amugamba nti Okyanywezezza obutayonoona bwo? weegaane Katonda ofe. 102:10 Yob 1:22, Zab 74:18,22, Yak 5:10,11Naye n’amugamba nti Oyogera ng’omu ku bakazi abasirusiru bwe boogera. Owa! tunaaweebwanga ebirungi mu mukono gwa Katonda ne tutaweebwa bibi? mu ebyo byonna Yobu teyayonoona na mimwa gye.
112:11 Yob 42:11, Nge 17:17, Bar 12:15, Yob 10:18,19Awo mikwano gya Yobu abasatu bwe baawulira obubi buno bwonna obumujjidde, ne bajja buli muntu ng’ava mu kifo kye ye; Erifaazi Omutemani, ne Birudaadi Omusuki, ne Zofali Omunaamasi: ne balagaana wamu okujja okumukaabirako n’okumukubagiza. 122:12 Lub 37:29, Yos 7:6, Kung 2:10, Ez 27:30Awo bwe baayimusa amaaso gaabwe nga bakyali wala ne batamumanya ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba; ne bayuza buli muntu omunagiro gwe, ne bafuumuulira enfuufu ku mitwe gyabwe eri eggulu. 132:13 Lub 50:10, Ez 3:15 Awo ne batuula wamu naye ku ttaka ne bamala ennaku musanvu emisana n’ekiro, ne wataba amugamba kigambo: kubanga baalaba ennaku ze nga nnyingi nnyo.