
19
1Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti
2Mulituusa wa okweraliikiriza emmeeme yange,
Ne mummenyamenya n’ebigambo?
319:3 Lub 31:7Mwakanvumira emirundi kkumi:
Temukwatiddwa nsonyi okunzitoowerera.
4N’okukyama newakubadde nga nkyamye,
Okukyama kwange kubeera nange mwene.
519:5 Zab 35:26Okwegulumiza oba nga muneegulumiza eri nze,
Ne mundeetako ekivume kyange:
619:6 Yob 8:3; 34:12, Kung 3:36Mutegeere nno nga Katonda ansudde mu nsonga yange,
Era anzingizizza n’ekitimba kye.
719:7 Kaab 1:2Laba, njogerera waggulu olw’okujoogebwa, naye ne siwulirwa:
Ndaagana nfune obuyambi, naye siraba antaasa.
819:8 Yob 3:23, Kung 3:7,9, Kos 2:6Azibye ekkubo lyange n’okuyinza ne ssiyinza kuyitamu,
Era atadde ekizikiza mu makubo gange.
919:9 Zab 89:39, Kung 5:16Anziyeeko ekitiibwa kyange,
Era aggye engule ku mutwe gwange.
10Ammenyemenye enjuyi zonna, era ŋŋenze:
N’essuubi lyange alisimbudde ng’omuti.
1119:11 Yob 13:24Era abuubuusizza obusungu bwe ku nze,
Era ampita omu ku balabe be gy’ali.
1219:12 Yob 10:17; 30:12Eggye lye litabaalira wamu, ne batuuma ekkubo lyabwe ku nze,
Ne basiisira okuzingiza eweema yange.
1319:13 Zab 69:8; 88:8Baganda bange abantadde wala,
N’abo be mmanyi bafuukidde ddala nga be ssimanyi. 1419:14 Zab 38:11; 55:13Ab’ekika kyange baweddewo,
Ne mikwano gyange ennyo banneerabidde.
1519:15 Lub 17:27Abo ababeera mu nnyumba yange n’abazaana bange bampita mugenyi:
Ndi munnaggwanga mu maaso gaabwe.
16Mpita omuddu wange n’atanjitaba,
Newakubadde nga mmwegayirira n’akamwa kange.
17Omukka gwange mukazi wange tagumanyi,
N’okwegayirira kwange abaana b’enda ya mmange tebakumanyi.
1819:18 2 Bassek 2:23Era n’abaana abato bannyooma;
Bwe nnyimuka banjogerako obubi.
1919:19 Zab 41:9; 55:13Emikwano gyange bonna be nteesa nabo bantamiddwa:
N’abo be nnayagalanga bakyuse okuba abalabe bange.
2019:20 Zab 102:5, Kung 4:8Eggumba lyange lyegatta n’eddiba lyange n’omubiri gwange,
Era mponye n’eddiba ly’okumannyo gange.
2119:21 Is 53:4Munsaasire, munsaasire, ai mmwe mikwano gyange;
Kubanga omukono gwa Katonda gunkomyeko.
2219:22 Zab 69:26Kiki ekibanjigganyisa nga Katonda,
So n’omubiri gwange tegubamala?
2319:23 Yob 31:35Singa nno ebigambo byange biwandiikiddwa!
Singa biwandiikiddwa mu kitabo!
2419:24 Yer 17:1Singa byoleddwa ku lwazi
N’ekkalaamu ey’ekyuma n’ekisasi okumala emirembe gyonna!
2519:25 Zab 19:14; 103:4, Is 43:14Naye mmanyi nga Omununuzi wange aba mulamu,
Era ku nkomerero ng’aliyimirira ku nsi:
2619:26 Zab 17:15, 1 Kol 13:12, 1 Yok 3:2Era eddiba ly’omubiri gwange bwe lirimala okuzikirizibwa bwe lityo,
Naye mu mubiri gwange ndiraba Katonda:
2719:27 Zab 73:26Gwe ndiraba nze mwene,
N’amaaso gange galimutunuulira so si mulala.
Emmeeme yange emaliddwawo munda yange.
28Bwe munaayogera nti Nga tunaamuyigganya so!
Kubanga ekikolo ky’ekigambo kirabise mu nze;
2919:29 Zab 58:11, Mub 12:14Mutyenga ekitala:
Kubanga obusungu buleeta okubonereza kw’ekitala,
Mulyoke mumanye nga waliwo okusala omusango.