
18
1Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti
218:2 Mak 12:13Mulituusa wa okuteega ebigambo?
Musooke okulowooza, ne tulyoka twogera.
318:3 Zab 73:22Ekituyisa ensolo kiki,
Ne tufuuka abatali balongoofu mu maaso go?
418:4 Yob 14:18; 16:9Ggwe eyeetaagula olw’obusungu bwo,
Ensi erirekebwa ku lulwo?
Oba olwazi luliggibwa mu kifo kyalwo?
518:5 Yob 21:17, Zab 18:28, Nge 13:9Weewaawo, omumuli gw’omubi gunaazikizibwanga,
So n’olusasi olw’omuliro gwe terwakenga.
6Omumuli gunaabanga kizikiza mu weema ye,
N’ettabaaza ye eri waggulu we eneezaamizibwanga.
718:7 Yob 5:13Ebigere eby’amaanyi ge binaafundikirwanga,
N’okuteesa kwe ye kunaamusuulanga.
818:8-10 Zab 9:15; 140:5Kubanga ebigere bye ye bimusudde mu kitimba,
Era atambulira ku mutego.
9Ekyambika kinaamukwatanga ekisinziiro,
N’akakunizo kinaamunywezanga.
10Akamasu kamukwekeddwa mu ttaka,
N’ekigu kimukwekeddwa mu kkubo.
1118:11 Yob 20:25, Yer 6:25Entiisa eneemukanga enjuyi zonna,
Era eneemuyigganyanga ku bisinziiro bye.
1218:12 Zab 38:17Amaanyi ge ganaalumwanga enjala,
N’obuyinike bunaamubangako ng’asejjera.
13Bunaalyanga ebitundu by’omubiri gwe,
Weewaawo, omubereberye w’okufa anaalyanga ebitundu bye.
1418:14 Kub 9:11Anaasimbulwanga mu weema ye gye yeesiga;
Era anaaleetebwanga eri kabaka w’ebitiisa.
1518:15 Zab 11:6, Ez 38:22Ekitali kikye n’akatono kinaabanga mu weema ye:
Ekibiriiti kinaamansirwanga ku kifo mwe yabeeranga,
1618:16 Yob 14:2, Kos 9:16, Mal 4:1Ekikolo kye kinaakaliranga ddala wansi,
Ne waggulu ettabi lye linaatemebwangawo.
1718:17 Yob 30:8, Zab 34:16; 109:13,15Ekijjukizo kye kinaabulanga ku nsi,
So taabenga na linnya mu luguudo.
1818:18 Yob 10:21,22Anaagoberwanga mu kizikiza okuva mu musana,
Era anaayigganyizibwanga okuva mu nsi.
1918:19 Is 14:22Taabenga na mwana newakubadde omuzzukulu mu bantu be,
Newakubadde omuntu yenna asigadde gye yabeeranga.
2018:20 1 Sam 26:10, Yob 21:6, Yer 50:27Abanaddangawo baneewuunyanga olunaku lwe,
Ng’abo abaasooka bwe baatiisibwa.
2118:21 Balam 2:10, Yer 9:3, 2 Bas 1:8Mazima ennyumba z’atali mutuukirivu bwe zifaanana bwe zityo,
Era kino kye kifo ky’oyo atamanyi Katonda.