
15
1Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti
215:2 Yob 6:26; 8:2; 16:3, Kos 12:1Ow’amagezi yandizzeemu n’okumanya okutaliimu,
N’ajjuza olubuto lwe n’embuyaga ez’ebuvanjuba?
3Yandiwakanye n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa,
Oba ng’ayogera ebitaliiko kye biyinza?
4Weewaawo, omalawo okutya,
Era oziyiza okwagala Katonda mu maaso ge.
5Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko,
Era weeroboza olulimi lw’abagerengetanya.
615:6 2 Sam 1:16, Yob 9:20, Luk 19:22Akamwa ko ggwe ke kakusalira omusango okukusinga so si nze;
Weewaawo, emimwa gyo ggwe ye mujulirwa eri ggwe.
715:7 Yob 38:21, Zab 90:2, Nge 8:25Ggwe wasooka abantu bonna okuzaalibwa?
Oba ggwe baakuzaala ensozi nga tezinnabaawo?
815:8 Yob 29:4, Yer 23:18, Bar 11:34, 1 Kol 2:11Wali owulidde okuteesa kwa Katonda okw’omu kyama?
Era weeyita wa magezi wekka omu?
915:9 Yob 12:3; 13:2Kiki ky’omanyi ffe kye tutamanyi?
Kiki ky’otegeera ekitali mu ffe?
1015:10 Yob 12:12; 32:6,7Abameze envi n’abakadde ennyo bali wamu naffe,
Abasinga ennyo kitaawo obukadde.
11Okusanyusa kwa Katonda kutono, tekukumala,
N’ekigambo ekyogera naawe empola? 12Omutima gwo gukutwalira ki?
N’amaaso go gatemeza ki?
1315:13 Yob 21:4N’okukyusa omwoyo gwo okulwana ne Katonda,
N’oleka ebigambo ebiri bwe bityo okuva mu kamwa ko.
1415:14 Yob 14:4, Nge 20:9, 1 Yok 1:8,1015:14-16 Yob 25:4-6Omuntu kye kiki abeere omulongoofu?
N’oyo azaalibwa omukazi abeere omutuukirivu?
1515:15 Yob 4:18Laba, teyeesiga batukuvu be;
Weewaawo, eggulu si ddongoofu mu maaso ge.
1615:16 Yob 34:7, Zab 14:3; 53:1Omugwagwa era omuvundu si ye asinga nnyo obutaba mulongoofu,
Omuntu anywa obutali butuukirivu ng’amazzi!
17Naakwolesa, mpulira;
N’ekyo kye ndabye kye nnaabuulira:
18(Ab’amagezi kye baabuuliranga
Okuva ku bajjajjaabwe, ne batakikweka;15:18 Yob 8:8, Zab 44:1
1915:19 Yo 3:17Abaaweebwa ensi bokka,
So tewali munnaggwanga eyayita mu bo:)
2015:20 Yob 27:13Omubi aba lubuto lwa buyinike ennaku ze zonna,
Gwe muwendo gw’emyaka egyamuterekerwa omujoozi.
2115:21 Yob 18:11, 1 Bas 5:3Eddoboozi ery’entiisa liba mu matu ge;
Bw’aba ng’alabye omukisa omunyazi alimugwako:
22Takkiriza ng’alidda okuva mu kizikiza,
Era ekitala kimulindirira:
2315:23 Zab 59:15Atambuliratambulira ekyokulya ng’ayogera nti Kiri ludda wa?
Amanyi ng’olunaku olw’ekizikiza lweteeseteese, luli ku mukono gwe.
24Okweraliikirira n’obubalagaze bimutiisa;
Bimuwangula nga kabaka eyeeteeseteese okulwana:
25Kubanga agolodde omukono gwe eri Katonda,
N’agirira Omuyinza w’ebintu byonna eby’ekyejo;
2615:26 Zab 75:5Amufubutukirako ng’akakanyazizza ensingo ye,
N’amakundi amanene ag’oku ngabo ze:
2715:27 Zab 17:10Kubanga abisse ku maaso ge obugevvu bwe,
Era aleese ebifi by’amasavu ku mbiriizi ze;
28Era yabeeranga mu bibuga eby’amatongo,
Mu nnyumba omutali muntu,
Ezaali zaagala okufuuka ebifunvu.
29Taagaggawalenga so n’ebintu bye tebiibenga bya lubeerera,
So n’ebibala byabwe tebiikutamenga okutuuka ku ttaka.
3015:30 Yob 4:9Taavenga mu kizikiza;
Omuliro gunaakazanga amatabi ge,
Era anaavangawo olw’omukka ogw’omu kamwa ke.
3115:31 Is 59:4Aleme okwesiga ebitaliimu nga yeerimbalimba:
Kubanga ebitaliimu bye binaabanga empeera ye.
3215:32 Zab 55:23; 102:24Eneekomekkerezebwanga ebiro bye nga tebinnatuukirira,
N’ettabi lye teriggumizenga.
33Anaakunkumulanga ezabbibu ze ezitannaba kwengera ng’omuzabbibu,
Era anaasinsimulanga ekimuli kye ng’omuzeyituuni.
3415:34 Yob 20:26Kubanga ekibiina ky’abatatya Katonda kinaabanga kigumba,
Era omuliro gunaayokyanga eweema ezinaalwangamu enguzi.
3515:35 Zab 7:14, Is 59:4Baba mbuto za bubi, ne bazaala obutali butuukirivu,
N’olubuto lwabwe luteekateeka bukuusa.