
14
1Omuntu azaalibwa omukazi
Wa nnaku si nnyingi, era ajjude abuyinike.
214:2 Yob 8:9; 17:7, Zab 90:6; 103:15; 109:23, Mub 6:12, Is 40:6,7, Yak 1:10, 1 Peet 1:24Amulisa ng’ekimuli n’atemebwa:
Era adduka ng’ekisiikirize so tabeerera.
314:3 Zab 8:4; 143:2; 144:3Naawe omuzibulira amaaso go afaanana bw’atyo,
N’ondeeta mu musango nze naawe?
414:4 Yob 15:14, Zab 51:5, Yok 3:6Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali kirongoofu? tewali n’omu.
514:5 Yob 7:1; 21:21, Zab 39:4Kubanga ennaku ze zaateesebwa,
omuwendo gw’emyezi gye guli naawe,
Era wamuteekerawo ensalo ze z’atayinza kusukkako;
614:6 Yob 7:1,19Muggyeeko amaaso go awummule,
Okutuusa lw’alimala olunaku lwe ng’akolera empeera.
7Kubanga waliwo essuubi ery’omuti bwe gutemebwa nga guliroka nate,
Era ng’ettabi lyagwo etto teririfa.
814:8 Is 11:1Ekikolo kyagwo newakubadde nga kikaddiwa mu ttaka,
N’ekikonge kyagwo ne kifiira mu nsi;
9Naye olw’akaloosa k’amazzi gulimulisa,
Ne gusuula amatabi ng’ekisimbe.
1014:10 Yob 20:7Naye omuntu afa era ayongobera:
Weewaawo, omuntu ata omukka, kale ali ludda wa?
1114:11 Is 19:5Ng’amazzi bwe gaggweerera mu nnyanja,
N’omugga nga bwe guggwaawo ne gukalira;
1214:12 Zab 72:5; 89:29, Yok 11:11Bw’atyo n’omuntu agalamira n’atayimuka:
Okutuusa eggulu lwe litalibaawo nate, tebalizuukuka,
So tebalizuukuzibwa mu tulo twabwe.
1314:13 Yob 21:13, Is 26:20Singa onkwese mu magombe,
Singa onkisa kyama okutuusa obusungu bwo lwe buliyita,
Singa onteekeddewo ekiseera ekiragiddwa, n’onjijukira!
1414:14 Yob 7:1Omuntu bw’afa aliba mulamu nate?
Nandirindiridde ne mmala ennaku zonna ez’olutabaalo lwange,
Okutuusa okuteebwa kwange lwe kwandizze.
1514:15 Yob 10:3; 13:22Wandimpise, nange nandikuyitabye:
Wandibadde n’okwegomba eri omulimu gw’emikono gyo.
1614:16 Yob 31:4Naye kaakano obala ebigere byange:
Tolabirira kwonoona kwange?
1714:17 Ma 32:34, Kos 13:12Okusobya kwange kuteekeddwako akabonero mu nsawo,
Era osibira ddala obutali butuukirivu bwange.
1814:18 Yob 18:4, Is 34:4Era mazima olusozi olugwa luggwaawo,
N’olwazi luggibwawo mu kifo kyalwo;
19Amazzi gasiriiza amayinja;
Okwanjaala kwago kufumbiikiriza enfuufu ey’oku nsi:
Era ozikiriza essuubi ery’omuntu.
20Ennaku zonna ng’omuwangula, n’ayitawo;
Owaanyisa amaaso ge n’omusindika.
2114:21 Mub 9:5Batabani be batuuka mu kitiibwa, ye nga takimanyi;
Bakkakkanyizibwa, naye ye nga tategeera bwe bali.
22Naye omubiri gwe oguli ku ye gulumwa,
N’emmeeme ye eri munda ye enakuwala.