
13
1Laba, eriiso lyange lyalaba ebyo byonna,
Okutu kwange kwabiwulira ne kubitegeera.
213:2 Yob 15:9Bye mumanyi era nange mbimanyi:
Mmwe temunsinga.
313:3 Yob 13:15; 23:4Mazima naayogera n’Omuyinza w’ebintu byonna,
Era njagala okuteesa ne Katonda.
413:4 Zab 119:69Naye mmwe mugunja eby’obulimba,
Mmwenna muli basawo abataliiko kye bagasa.
513:5 Nge 17:28Singa musirikidde ddala!
Lwe mwandibadde n’amagezi.
6Muwulire nno ensonga yange,
Mutege okutu eri okuwoza kw’emimwa gyange.
7Munaawolereza Katonda nga mwogera ebitali bya nsonga,
Era nga muleeta eby’obulimba?
813:8 Balam 6:31Munaamutya kitiibwa?
Munaayomberera Katonda?
913:9 Bag 6:7Kirungi ye okubakebera?
Oba ng’omuntu bw’alimba munne munaamulimba ye?
10Talirema kubanenya,
Bwe munaatya ekitiibwa mu kyama.
1113:11 Yob 31:23Obukulu bwe obusinga tebulibatiisa,
N’entiisa ye teribagwako?
12Ebigambo byammwe ebijjukirwa ngero za vvu,
Enkomera zammwe nkomera za ttaka.
13Musirike mundeke njogere,
Ebinaayagala okujja binjijire.
1413:14 Balam 12:3Kiki ekinaaba kintwaza omubiri gwange mu mannyo gange,
Ne nteeka obulamu bwange mu mukono gwange?
1513:15 Yob 13:3; 14:14, Nge 14:32Newakubadde ng’anzita era naye naamulindiriranga:
Era naye naakakasanga amakubo gange mu maaso ge.
16Era ekyo kye kinaabanga obulokozi bwange;
Kubanga omusajja atatya Katonda taatuukenga mu maaso ge.
1713:17 Yob 21:2Muwulire nnyo ebigambo byange,
N’ebyo bye njatula bibe mu matu gammwe.
1813:18 Yob 23:4Laba nno, ndiraanyizza ensonga yange;
Mmanyi nga ndi mutuukirivu.
1913:19 Is 50:8Ani anaawakana nange?
Kubanga kaakano naasirika ne nta omukka.
2013:20 Lub 3:8Kyokka tonkola bigambo bibiri,
Kale ne sseekweka amaaso go:
2113:21 Yob 9:34Nziyaako omukono gwo gumbeere wala;
So n’entiisa yo ereme okunkanga.
2213:22 Yob 14:15Kale koowoola ggwe nange naayitaba;
Oba leka njogere naawe onziremu.
23Obutali butuukirivu bwange n’ebibi byange byenkana wa obungi?
Ntegeeza okusobya kwange n’okwonoona kwange.
2413:24 Ma 31:17, Yob 19:11; 33:10, Zab 44:24; 88:14Okisiza ki amaaso go,
N’ompita omulabe wo?
25Onoococca essubi eritwalibwa empewo?
Era onooyigganya ebisasiro ebikaze?
2613:26 Zab 25:7Kubanga ompandiikira ebigambo eby’ekkabyo,
Era onsisa obutali butuukirivu obw’omu buto bwange:
2713:27 Yob 10:14; 33:11N’ebigere byange obisiba mu nvuba, era olamba amakubo gange gonna;
Okoloboza olukoloboze okwetooloola ebigere byange:
28Newakubadde nga nfaanana ekintu ekivundu ekiggwaawo,
Ekyambalo ekiriiriddwa ennyenje.