
12
1Awo Yobu n’addamu n’ayogera nti
2Mazima ddala mmwe muli bantu bennyini,
Era amagezi galifiira wamu nammwe.
312:3 Yob 13:2; 15:9Naye nange nnina okutegeera so si mmwe mwekka;
Mmwe temunsinga:
Weewaawo, ani atamanyi ebiri ng’ebyo?
412:4 Yob 30:1, Zab 91:15Ninga omuntu asekererwa eri munne,
Omusajja eyakaabira Katonda n’amuddamu:
Omusajja ow’ensonga era eyatuukirira asekererwa.
5Mu kulowooza kw’oyo eyessa mulimu okunyooma akabi;
Kweteekeddeteekedde abo abaseerera n’ekigere kyabwe.
612:6 Yob 21:7Eweema ez’abanyazi ziraba omukisa,
N’abo abanyiiza Katonda baba mirembe;
Katonda aleeta ebintu bingi mu mukono gwabwe.
7Naye nno buuza ensolo, zinaakuyigiriza;
N’ennyonyi ez’omu bbanga, zinaakubuulira:
8Oba yogera n’ettaka, linaakuyigiriza;
N’ebyennyanja ebiri mu nnyanja binaakunnyonnyola.
912:9 Yob 1:21, Is 41:20Ani atamanyi mu ebyo byonna,
Ng’omukono gwa Mukama gwe guleese ebyo?
1012:10 Dan 5:23, Bik 17:28Obulamu bwa buli kintu ekiramu buli mu mukono gw’oyo,
N’omukka gw’abantu bonna.
1112:11 Yob 34:3Okutu tekukema bigambo,
Era ng’amatama bwe galega ku mmere yaago?
1212:12 Yob 32:7, Zab 119:100Amagezi gaba n’abasajja abakadde,
N’okutegeera kuba mu kuwangaala ennaku nnyingi.
1312:13 Yob 9:4; 36:5Eri ye eriyo amagezi n’amaanyi;
Yalina okuteesa ebigambo n’okutegeera.
1412:14 Yob 11:10, Is 22:22, Kub 3:7Laba, amenya so tekiyinzika kuzimbibwa nate;
Aggalira omuntu so tewayinza kubaawo kuggulawo.
1512:15 Lub 7:11-24, Ma 11:17, 1 Bassek 8:35, Am 9:6Laba, aziyiza amazzi ne gakala;
Nate agasindika ne gavuunika ensi.
1612:16 Yob 5:12Eri ye eriyo amaanyi n’okukolera ddala;
Alimbibwa n’alimba babe.
1712:17 2 Sam 17:23, Yob 9:24, Is 40:23, 1 Kol 1:19Atwala abateesa b’ebigambo nga banyagiddwa,
N’abalamuzi abafuula abasirusiru.
18Asumulula olujegere lwa bakabaka,
Era asiba ekiwato kyabwe n’olukoba.
19Atwala bakabona nga banyagiddwa,
Era amegga ab’amaanyi.
20Abeesigwa amalawo okwogera kwabwe,
N’abakadde abaggyako okutegeera kwabwe.
2112:21 Zab 107:40Afuka okunyoomebwa ku balangira,
Era asumulula olukoba olw’ab’amaanyi.
2212:22 Dan 2:22, 1 Kol 4:5Ayolesa eby’obuziba ng’abiggya mu kizikiza,
Era ayerula ekisiikirize eky’okufa.
2312:23 2 Bassek 18:11, Is 9:3; 26:15Ayaza amawanga, era agazikiriza:
Abunya amawanga mu nsi, era agakomyawo.
2412:24 Yob 6:18, Zab 107:40Abakulu b’abantu ab’omu nsi abaggyako omwoyo,
Era abawabiza mu ddungu awatali kkubo.
2512:25 Yob 5:14, Zab 107:27, Is 19:14Bawammantira mu kizikiza awatali musana,
Era abatagassa ng’omutamiivu.