
11
1Awo Zofali Omunaamasi n’addamu n’ayogera nti
211:2 Nge 10:19, Mub 5:3Olufulube lw’ebigambo terugwana kuluddamu?
N’omuntu omwogeziyogezi agwana okumuwa obutuukirivu?
3Okwenyumiriza kwo kwandisirisizza abantu?
Era bw’oduula, tewaabeewo anaakukwasa ensonyi?
411:4 Yob 10:7Kubanga oyogera nti Okuyigiriza kwange kulongoofu,
Nange ndi mulungi mu maaso go.
5Naye Katonda singa ayogedde,
N’ayasamya emimwa gye eri ggwe:
611:6 Ezer 9:13Era singa akwolesezza ebyama eby’amagezi,
Nga ga ngeri nnyingi mu kukola okw’amaanyi!
Kale tegeera Katonda ng’akutaatira so si ng’obutali butuukirivu bwo bwe bwasaanira.
711:7 Yob 5:9, Zab 145:3, Mub 3:11; 8:17, Bar 11:33Oyinza okulaba Katonda olw’okunoonya?
Oyinza okulaba Omuyinza w’ebintu byonna n’omumalayo?
811:8 Yob 22:12, Zab 139:8Kyenkana eggulu obugulumivu; oyinza kukola ki?
Kisinga amagombe okugenda wansi; oyinza kumanya ki?
9Ekigero kyakwo kisinga ensi obuwanvu,
Era kisinga ennyanja obugazi.
1011:10 Yob 9:12; 12:14Bw’anaayitamu n’asiba abantu,
N’abayita okujja okusalirwa omusango, kale ani ayinza okumuziyiza?
11Kubanga amanyi abantu abataliiko kye bagasa:
Era alaba n’obutali butuukirivu newakubadde nga tabulowooza.
12Naye omuntu ataliiko ky’agasa talina kutegeera,
Weewaawo, abantu bazaalibwa ng’omwana w’entulege.
1311:13 1 Sam 7:3, Zab 78:8; 88:9; 143:6Bw’onooteekateekanga obulungi omutima gwo,
N’ogololanga emikono gyo eri ye;
14Obujeemu oba nga buli mu mukono gwo, buteekenga wala,
So n’obutali butuukirivu bulemenga okubeera mu weema zo;
1511:15 Yob 22:26; 31:7, 2 Peet 3:14, 1 Yok 3:21Kale toolemenga kuyimusa maaso go awatali bbala;
Weewaawo, onootereeranga so tootyenga:
1611:16 Is 65:16, Yob 1:21, Is 41:20Kubanga oneerabiranga ennaku ze walaba;
Onoozijjukiranga ng’amazzi agayiseewo:
1711:17 Zab 37:6, Is 58:8,10N’obulamu bwo bunaatangaalanga okusinga ettuntu;
Newakubadde nga waliwo ekizikiza, bunaabanga ng’obw’enkya.
1811:18 Zab 4:8, Nge 3:24Naawe onoobanga mirembe, kubanga essuubi weeriri;
Weewaawo, onoomagamaganga n’owummula mirembe.
1911:19 Is 17:2, Zef 3:13Era onoogalamiranga so tewaabenga anaakutiisanga;
Weewaawo, bangi abanaakwegayiriranga.
2011:20 Yob 17:5, Yer 15:9Naye amaaso g’ababi ganaggwangawo,
N’obuddukiro bunaababulanga,
N’essuubi lyabwe linaabanga kuta mukka.