
10
110:1 Kubal 11:15, 1 Bassek 19:4, Yob 7:11,16; 21:4Emmeeme yange enyiye obulamu bwange;
Naafukumula okwemulugunya kwange;
Naayogeza kkabyo lya mmeeme yange.
210:2 Yob 9:3,29Naagamba Katonda nti Tonsalira musango okunsinga;
Ntegeeza kyova owakana nange.
310:3 Zab 138:8, Is 64:8Okiyita kirungi ggwe okujooga,
Okunyooma omulimu gw’engalo zo,
N’oyakira okuteesa kw’ababi?
410:4 1 Sam 16:17, Yok 8:15Olina amaaso ag’omubiri,
Oba ggwe olaba ng’abantu bwe balaba?
510:5 Yob 36:26, Zab 77:10; 90:4, 2 Peet 3:8Ennaku zo ziriŋŋanga ennaku ez’abantu,
Oba emyaka gyo ng’ennaku ez’abantu,
610:6 Yob 14:16N’okubuuza n’obuuza obutali butuukirivu bwange,
N’onoonya okwonoona kwange,
710:7 Ma 32:39, Yob 2:3,9, Is 43:13Newakubadde ng’omanyi nga ssiri mubi;
So tewali ayinza okuwonya mu mukono gwo?
810:8 Zab 119:73Emikono gyo gye gyannumba, gye gyankola
Wamu eruuyi n’eruuyi; naye onzikiriza.
910:9 Lub 3:19, Yob 34:15, Mub 12:7Nkwegayiridde, jjukira nga wammumba ng’ettaka;
Era olinziza nate mu nfuufu?
10Tonzituludde ng’amata,
N’onkwasa ng’amata amakalu?
11Wannyambaza eddiba n’omubiri,
Era wangatta wamu n’amagumba n’ebinywa.
12Wampa obulamu n’okuganja,
N’okujja kwo gye ndi kwe kwakuuma omwoyo gwange.
1310:13 Yob 23:14; 27:11Era naye wakisa ebyo mu mutima gwo;
Mmanyi ng’ekyo kiri naawe:
1410:14 Yob 9:28; 13:27, Zab 130:3Bwe nnyonoona, kale oneetegereza,
So tolinziyako butali butuukirivu bwange.
1510:15 Yob 9:15, Is 3:11Bwe mba omubi, nga zinsanze;
Era bwe mba omutuukirivu, era naye siriyimusa mutwe gwange;
Nga nswazibwa nnyo
Era nga ntunuulira ennaku ze ndaba.
1610:16 Is 38:13, Kos 5:14; 13:7Era omutwe gwange bwe gwegulumiza, onjigganya ng’empologoma:
Era nate weeraga ow’ekitalo gye ndi.
1710:17 Yob 16:8; 19:12Okomyawo buggya abajulirwa bo eri nze,
N’onnyongerako okunyiiga kwo;
Ebikyukakyuka n’obulwa biri nange.
1810:18 Yob 3:11Kale kiki ekyakunziyisa mu lubuto?
Nanditadde omukka, so tewandibaddewo liiso eryandindabye.
1910:19 Ob 16Nandibadde ng’atabangawo;
Nandisituliddwa okuva mu lubuto okuntwala mu ntaana.
2010:20 Yob 7:16; 9:27; 14:1Ennaku zange si ntono? Kale lekera awo,
Ondeke nsanyusibweko katono,
2110:21 Yob 3:5; 16:22, Zab 39:13; 88:12Nga sinnagenda eyo gye ssiivenga kukomawo,
Ye nsi ey’ekizikiza n’ey’ekisiikirize eky’okufa;
22Ensi ey’ekizikiza ekikutte, ng’ekizikiza kyennyini bwe kiri;
Ensi ey’ekisiikirize eky’okufa awatali kuteekateeka,
Era omusana gwayo guliŋŋanga ekizikiza.