
8
1Mu biro ebyo, bw’ayogera Mukama, baliggya amagumba ga bassekabaka ba Yuda n’amagumba g’abakungu be n’amagumba ga bakabona n’amagumba ga bannabbi n’amagumba g’abo abali mu Yerusaalemi mu malaalo gaabwe. 28:2 Ma 4:19, 2 Bassek 23:5, Yer 9:22, Ez 8:16Kale baligaaliira mu maaso g’enjuba n’omwezi n’eggye lyonna ery’omu ggulu, bye baayagalanga, era bye baaweerezanga, era bye baagobereranga mu kutambula kwabwe, era bye baanoonyanga, era bye baasinzanga: tegalikuŋŋaanyizibwa so tegaliziikibwa; galiba busa ku maaso g’ettaka. 38:3 Yob 3:21,22, Yer 23:3,8, Dan 9:7, Kub 9:6Era okufa kulyagalibwa okusinga obulamu eri bonna abafisseewo abasigalawo ku kika kino ekibi, abasigalawo mu bifo byonna gye nnabagobera, bw’ayogera Mukama w’eggye.
48:4 Bar 11:11Era nate obagambanga nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Abantu baligwa ne batayimuka nate? omuntu alikyama n’atadda? 58:5 Yer 7:24; 9:6Kale abantu bano ab’omu Yerusaalemi kiki ekibazzizza ennyuma nga baseeseetuka obutayosa? banywezezza obulimba, bagaanyi okudda. 68:6 Yob 39:19-25, 2 Peet 3:9Nawuliriza ne mpulira, naye tebaayogera bya nsonga: tewali muntu eyeenenya obubi bwe ng’ayogera nti Nkoze ki? buli muntu akyukira mu lugendo lwe ng’embalaasi efubutukira mu lutalo. 78:7 Lu 2:12, Is 1:3; 38:14, Yer 5:4,5Weewaawo, kasida ow’omu ggulu amanyi ebiseera bye ebyalagirwa; ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolya zirabirira ekiseera mwe zijjira; naye abantu bange tebamanyi kiragiro kya Mukama. 88:8 Bar 2:17,18Mwogera mutya nti Tulina amagezi, n’amateeka ga Mukama gali naffe? Naye, laba, ekkalaamu ey’obulimba ey’abawandiisi ewandiise ebitali bya mazima. 98:9 1 Kol 1:19,20Abagezigezi bakwatiddwa ensonyi, bakeŋŋentererwa, bawambiddwa: laba, bagaanyi ekigambo kya Mukama; era magezi ki agali mu bo? 108:10 Is 56:118:10-12 Yer 6:12-15Kyendiva mbawa abalala bakazi baabwe n’ennimiro zaabwe eri abo abalizirya: kubanga buli muntu, omuto era n’omukulu, wa mululu, nabbi era ne kabona, buli muntu alyazaamaanya. 11Era bawonyezza ekiwundu eky’omuwala w’abantu bange kungulu kwokka nga boogera nti Mirembe, mirembe; so nga emirembe tewali. 12Baakwatibwa ensonyi bwe baamala okukola eky’omuzizo? nedda, tebaakwatibwa nsonyi n’akatono, so tebaayinza kumyusa amaaso: kyebaliva bagwa mu abo abagwa: mu biro mwe balijjirwa mwe balimeggerwa, bw’ayogera Mukama. 138:13 Yo 1:7, Zef 1:2, Mat 21:19, Luk 13:6Ndibamalirawo ddala, bw’ayogera Mukama: ku muzabbibu tekuliba zabbibu, newakubadde ettiini ku mutiini, n’amalagala galiwotoka; n’ebintu bye nnabawa biribavaako. 148:14 Yer 4:5; 9:15, Kung 3:15,19, Kub 8:11Kiki ekitutuuza obutuuza? mukuŋŋaane, tuyingire mu bibuga ebiriko enkomera, tusirikire eyo: kubanga Mukama Katonda waffe atusirisizza, era atunywesezza amazzi ag’omususa, kubanga twayonoona Mukama. 158:15 Yob 30:26, Yer 14:19Twasuubira emirembe, naye ne wataba birungi ebyajja; twasuubira ebiro eby’okuwonyezebwamu, era, laba, okukeŋŋentererwa! 168:16 Zab 60:2, Yer 4:15; 10:25; 49:21Okufugula kw’embalaasi ze kuwuliddwa ng’oyima e Ddaani: olw’eddoboozi ery’okukaaba kw’ensolo ze ez’amaanyi ensi yonna ekankana; kubanga zizze, era ziridde ensi ne byonna ebigirimu; ekibuga n’abo abakituulamu. 17Kubanga, laba, ndisindika emisota, amasalambwa, agatalogeka; era galibaluma, bw’ayogera Mukama.
188:18 Kung 5:17Woowe, singa nnyinza okwesanyusa mu buyinike! omutima gwange guweddemu amaanyi munda yange. 198:19 Ma 32:21, Is 39:3Laba, eddoboozi ery’okwogerera waggulu okw’omuwala w’abantu bange eriva mu nsi eri ewala ennyo nti Mukama tali mu Sayuuni? Kabaka waakyo tali mu kyo? Lwaki bo okunsunguwazanga n’ebifaananyi byabwe ebyole n’ebirerya ebiggya? 20Ebikungulwa biwedde, ekyeya kiyise, naffe tetulokose. 218:21 Yob 30:30, Is 22:4, Yer 14:17Kubanga omuwala w’abantu bange afumitiddwa ekiwundu, nange nfumitiddwa ekiwundu: nzirugadde; okusamaalirira kunkutte. 22Teri ddagala mu Gireyaadi? teri musawo eyo? kale kiki ekirobedde omuwala w’abantu bange okuwona?