
7
1Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera 27:2 Yer 18:11; 26:13nti Yimirira mu mulyango gw’ennyumba ya Mukama, olangirire eyo ekigambo kino, oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna aba Yuda, abayingira mu miryango gino okusinza Mukama. 3Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mulongoose amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe, nange ndibatuuza mu kifo kino. 4Temwesiganga bigambo bya bulimba nti Bino ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama, ye yeekaalu ya Mukama. 57:5 Yer 22:3Kubanga bwe munaalongoosezanga ddala amakubo gammwe n’ebikolwa byammwe; bwe munaatuukiririzanga ddala emisango eri omuntu ne munne; 67:6 Ma 6:14; 24:14bwe mutaajoogenga mugenyi n’atalina kitaawe ne nnamwandu, so temuuyiwenga musaayi ogutaliiko musango mu kifo kino, so temuutambulenga okugobereranga bakatonda abalala, okwerumyanga mmwe bennyini: 7kale ndibatuuza mu kifo kino mu nsi gye nnawa bajjajjammwe obw’edda bwonna okutuusa emirembe gyonna. 87:8 Ma 4:40Laba, mwesiga ebigambo eby’obulimba ebitayinza kugasa. 97:9 Kos 4:2Munabbanga, ne mutta, ne muyenda, ne mulayira eby’obulimba, ne mwoteza obubaane eri Baali, ne mutambula okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga, 107:10 Yer 32:34ne mujja ne muyimirira mu maaso gange mu nnyumba eno erituumibwa erinnya lyange, ne mwogera nti Tuwonyezebbwa; mulyoke mukole emizizo egyo gyonna? 117:11 Is 56:7, Mak 11:17Ennyumba eno etuumibwako erinnya lyange efuuse empuku y’abanyazi mu maaso gammwe? Laba, nze, nze mwene, nkirabye, bw’ayogera Mukama. 127:12 Balam 18:31, 1 Sam 1:3; 4:3-12, Zab 78:60, Yer 26:6Naye mugende nno mu kifo kyange ekyali mu Siiro, gye nnatuuza erinnya lyange olubereberye, mulabe kye nnakikola olw’obubi bw’abantu bange Isiraeri. 13Era kaakano kubanga mukoze ebikolwa ebyo byonna, bw’ayogera Mukama, ne njogera nammwe, nga ngolokoka mu makya ne njogera, naye ne mutawulira; ne mbayita naye ne mutayitaba: 147:14 Ma 12:5, 1 Bassek 9:7kyendiva nkola ennyumba eyitibwa erinnya lyange, gye mwesiga, n’ekifo kye nnawa mmwe ne bajjajjammwe, nga bwe nnakola Siiro. 157:15 2 Bassek 17:6,23, Kos 5:9Era ndibasuula okuva mu maaso gange, nga bwe nnasuula baganda bammwe bonna, ezzadde lyonna erya Efulayimu.
167:16 Kuv 32:10, Yer 11:14; 14:11, 1 Yok 5:16Kale tosabiranga bantu bano, so tobayimusizanga kukaaba newakubadde okusaba, so tonneegayiriranga okuwolereza, kubanga siikuwulire. 17Tolabye bye bakola mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez’e Yerusaalemi? 187:18 Ma 32:16,21, 1 Bassek 14:9; 16:2, Yer 11:17; 19:13; 44:17,19Abaana batyaba enku, bakitaabwe ne bakuma omuliro, abakazi ne bagoya obutta, okufumbira kabaka w’eggulu omukazi emigaati, n’okufukira bakatonda abalala ebiweebwayo eby’okunywa balyoke bansunguwaze. 197:19 Yob 35:6, Yer 51:51Basunguwaza nze? bw’ayogera Mukama; tebeesunguwaza bo bennyini, okuswaza amaaso gaabwe bo? 207:20 2 Byom 34:25, Yer 17:27; 44:6Mukama Katonda kyava ayogera bw’ati nti Laba, obusungu bwange n’ekiruyi kyange kirifukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo ne ku miti egy’omu ttale ne ku bibala eby’ettaka; era bulibuubuuka so tebulizikizibwa.
217:21 Yer 6:20Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, Katonda wa Isiraeri nti Mwongere bye muwaayo ebyokebwa ku ssaddaaka zammwe, mulye ennyama. 227:22 Kos 6:6Kubanga saayogera ne bajjajjammwe so saabalagira ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi ey’e Misiri eby’ebiweebwayo ebyokebwa newakubadde ssaddaaka: 237:23 Leev 26:12, Ma 5:33; 6:3, Yer 11:4,7naye ekigambo kino kye nnabalagira nti Muwulirenga eddoboozi lyange, nange naabanga Katonda wammwe, nammwe munaabanga bantu bange: era mutambulirenga mu kkubo lye mbalagira, mulyoke mube bulungi. 247:24 Zab 81:11,12, Yer 2:19; 15:6Naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira mu kuteesa kwabwe bo ne mu bukakanyavu bw’omutima gwabwe omubi, ne badda ennyuma so tebeeyongera mu maaso. 257:25 2 Byom 36:15,16Okuva ku lunaku bajjajjammwe kwe baaviira mu nsi ey’e Misiri ne leero, nabatumira abaddu bange bonna bannabbi, buli lunaku nga ngolokoka mu makya ne mbatuma: 267:26 Yer 16:12era naye ne batampulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe: baakola obubi okukira bajjajjaabwe.
27Era obagambanga ebigambo bino byonna; naye tebaakuwulirenga; era obakoowoolanga, naye tebaakuyitabenga. 287:28 Yer 9:3Era obagambanga nti Lino lye ggwanga eritawulidde ddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, so tebakkirizza kuyigirizibwa: amazima gafudde, gazikiridde okuva mu kamwa kaabwe.
297:29 Yob 1:20Sala enviiri zo ggwe Yerusaalemi, ozisuule wala, otanule okukungubagira ku nsozi ez’obweru; kubanga Mukama asudde abantu ab’omu mirembe egy’obusungu bwe, abaleseeyo. 307:30 2 Bassek 21:5,7, Yer 32:34, Ez 5:11Kubanga abaana ba Yuda bakoze ebiri mu maaso gange ebibi, bw’ayogera Mukama: batadde emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange, okugyonoona. 317:31 2 Bassek 23:10, Zab 106:38, Yer 31:40Era bazimbye ebifo ebigulumivu eby’e Tofesi ekiri mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, okwokya batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro; kye ssiragiranga so tekyayingira mu mutima gwange. 327:32 Yer 19:6,11, Ez 6:5Kale, laba, ennaku zijja, bw’ayogera Mukama, lwe kitaliyitibwa nate nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nti Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziika mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu. 337:33 Ma 28:26, Yer 12:9N’emirambo gy’abantu bano giriba mmere ya nnyoni ez’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsi; so tewaliba alizisaggula. 347:34 Leev 26:31,33, Is 24:7,8, Yer 16:9; 44:6, Ez 26:13, Kub 18:22,23Awo ne ndyoka nkomya mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez’e Yerusaalemi eddoboozi ery’ebinyumu n’eddoboozi ery’essanyu, eddoboozi ly’awasa omugole n’eddoboozi ly’omugole: kubanga ensi erifuuka nsiko.