
51
151:1 Is 21:1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Laba, ndireeta ku Babulooni ne ku abo abali mu Lebukamaayi embuyaga ezizikiriza. 251:2 Yer 15:7, Mat 3:12Era nditumira Babulooni bannaggwanga abalikiwujja; n’ensi yaakyo baligimalamu byonna: kubanga balikirumbira enjuyi zonna ku lunaku olw’okulabiramu ennaku. 3Omulasi aleme okunaanuula omutego gwe, so aleme okweyimusa ng’ayambadde ekizibawo kye eky’ebyuma; so temusonyiwa balenzi baamu; muzikiririze ddala eggye lyamu lyonna. 4Era baligwira mu nsi ey’Abakaludaaya nga battiddwa, era nga bafumitiddwa mu nguudo zaakyo. 551:5 Is 54:5-7Kubanga Isiraeri talekeddwayo Katonda we, Mukama w’eggye, newakubadde Yuda; ensi yaabwe ng’ejjudde omusango gwe bazza eri Omutukuvu wa Isiraeri. 651:6 Lub 19:15Mudduke muve mu Babulooni wakati, muwonye buli muntu obulamu bwe; temuzikirizibwa mu butali butuukirivu bwakyo: kubanga bye biro Mukama mw’awalanira eggwanga; alikisasula empeera. 751:7 Zab 75:8, Yer 25:15,16, Kub 14:8; 17:4Babulooni kyabanga kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama, ekyatamiiza ensi zonna: amawanga ganywedde ku mwenge gwakyo; amawanga kyegavudde galaluka. 851:8 Is 21:9, Kub 18:2,9,11,19Babulooni kigudde mangu ago, era kizikiridde: mukiwowogganire; muddire eddagala olw’obulumi bwakyo, oba nga mpozzi kinaayinzika okuwonyezebwa. 951:9 Is 13:14, Kub 18:4,5Twandiwonyezza Babulooni, naye tekiwonye: mukireke, tudde buli muntu mu nsi y’ewaabwe ye; kubanga omusango gwakyo gutuuse mu ggulu, era gugulumizibwa okutuuka ne mu bbanga. 1051:10 Zab 37:6Mukama ayolesezza obutuukirivu bwaffe: mujje tubuulire mu Sayuuni omulimu gwa Mukama Katonda waffe. 1151:11 Is 13:17, Yer 46:4, Dan 5:31Muzigule obusaale, munyweze engabo: Mukama akubirizza omwoyo gwa bakabaka b’Abameedi; kubanga okuteesa kwe kuli eri Babulooni okukizikiriza: kubanga lye ggwanga Mukama ly’awalana, ly’awalana olwa yeekaalu ye. 1251:12 Nak 2:1Musimbe ebendera okwolekera bbugwe w’e Babulooni, munyweze abakuumi, muteekeewo abakuuma, mutegeke abateezi: kubanga Mukama ateesezza n’okukola akoze ebyo bye yayogera ku abo abali mu Babulooni. 1351:13 Kub 17:1,15Ai ggwe atuula ku mazzi amangi, alina eby’obugagga ebingi ennyo nnyini, enkomerero yo etuuse, ekigera ky’omululu gwo. 1451:14 Zab 105:34, Yer 22:5, Yo 1:4Mukama w’eggye yeerayidde yekka ng’ayogera nti Mazima ndikujjuza abasajja nga bulusejjera; era balikukuba olwogoolo.
1551:15-19 Yer 10:12-16Yakola ensi n’obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna n’amagezi ge, era yabamba eggulu n’okutegeera kwe: 16bw’aleeta eddoboozi lye, wabaawo oluyoogaano olw’amazzi mu ggulu, era alinnyisa emikka okuva ku nkomerero z’ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge. 17Buli muntu afuuse ng’ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ekifaananyi kye ekyole kimukwasa ensonyi: kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so mu byo temuli mukka. 18Birerya, mulimu gwa bulimba: mu biro mwe birijjirirwa birizikirira. 19Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo: kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky’obusika bwe: Mukama w’eggye lye linnya lye.
2051:20 Dan 7:7,19,23Ggwe mbazzi yange erwana, era eby’okulwanyisa byange: era ggwe ndimenyesamenyesa amawanga; era ggwe ndizikirizisa obwakabaka; 21era ggwe ndimenyesamenyesa embalaasi n’oyo agyebagadde; 2251:22 2 Byom 36:17, Is 13:16,18era ggwe ndimenyesamenyesa ekigaali n’oyo akitambuliramu; era ggwe ndimenyesamenyesa omusajja n’omukazi; era ggwe ndimenyesamenyesa omukadde n’omulenzi; era ggwe ndimenyesamenyesa omulenzi n’omuwala; 23era ggwe ndimenyesamenyesa omusumba n’ekisibo kye; era ggwe ndimenyesamenyesa omulimi n’omugogo gwe ogw’ente; era ggwe ndimenyesamenyesa abafuga n’abasigire. 2451:24 Zab 137:8Era ndisasula Babulooni n’abo bonna abali mu Bukaludaaya obubi bwabwe bwonna bwe baakakola mu Sayuuni mmwe nga mulaba, bw’ayogera Mukama.
2551:25 Kub 8:8; 18:8,9Laba, ndi mulabe wo, ai olusozi oluzikiriza, bw’ayogera Mukama, oluzikiriza ensi zonna: era ndikugololerako omukono gwange, ne nkuyiringisa okuva ku mayinja, era ndikufuula olusozi olwaggya. 2651:26 Yer 25:12So tebalikuggyako jjinja okuba ensonda, newakubadde ejjinja ery’emisingi; naye onoobanga matongo emirembe gyonna, bw’ayogera Mukama. 2751:27 2 Bassek 19:37, Yer 4:5; 25:14; 50:41, Nak 3:17Musimbe ebendera mu nsi, mufuuwe ekkondeere mu mawanga, mutegeke amawanga okulwana nakyo, muyite obwakabaka obwa Alalati ne Mini ne Asukenaazi, okukikuŋŋaanirako: mukigabire omugabe; mulinnyise embalaasi ng’obuwuka obuliko obwoya. 2851:28 Yer 34:1Mutegeke amawanga okulwana nakyo, bakabaka b’Abameedi, abaamasaza baamu, n’abasigire bonna abaamu, n’ensi yonna gy’atwala. 29Era ensi ekankana, erumwa: kubanga ebyo Mukama bye yamalirira eri Babulooni binywera, okufuula ensi y’e Babulooni amatongo, nga tewali abeeramu. 3051:30 Is 19:16; 47:14, Nak 3:13Abasajja ab’amaanyi ab’e Babulooni baleseeyo okulwana, basigadde mu bifo byabwe eby’amaanyi; amaanyi gaabwe gaweddewo; bafuuse ng’abakazi: ennyumba zaakyo zookeddwa; ebisiba byakyo bimenyese. 3151:31 2 Byom 30:6Matalisi omu aliddukana okusisinkana ne munne, n’omubaka omu okusisinkana ne munne, okunnyonnyola kabaka w’e Babulooni ng’ekibuga kye kimenyeddwa enjuyi zonna: 32era basoonookerezza amawungukiro n’endago bazookezza omuliro, n’abasajja abalwanyi batidde.
3351:33 Is 17:5; 21:10, Yo 3:13, Kub 14:15Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Omuwala wa Babulooni aliŋŋanga egguuliro mu biro lwe balisambiramu; ekyasigaddeyo ekiseera kitono ebiro eby’okukunguliramu birikituukira. 34Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni andidde, ambetense, anfudde ekibya ekyereere, ammize ng’ogusota, ajjuzizza olubuto lwe eby’okuliira byange ebirungi; ansudde. 35Ekyejo ekyagirirwa nze n’omubiri gwange kibeere ku Babulooni, ali mu Sayuuni bw’alyogera; era Omusaayi gwange gubeere ku abo abali mu Bakaludaaya, Yerusaalemi bw’alyogera. 36Mukama kyava ayogera bw’ati nti Laba, ndiwoza ensonga yo, ne nkuwalanira eggwanga: era ndikaliza ennyanja yaakyo, era ndimalawo ensulo yaakyo. 3751:37 Is 13:22; 25:2Kale Babulooni kirifuuka bifunvu, ekifo eky’ebibe eky’okubeeramu, ekyewuunyo, n’okusoozebwa, nga tewali akibeeramu. 3851:38 Am 3:4Baliwulugumira wamu ng’empologoma ento; balivuumira wamu ng’abaana b’empologoma. 39Bwe balibuguumirira, lwe ndifumba embaga yaabwe, era ndibatamiiza, basanyuke, era beebake otulo otutaliggwaawo, so baleme okuzuukuka, bw’ayogera Mukama. 40Ndibaserengesa ng’abaana b’endiga okuttibwa, ng’endiga ennume wamu n’embuzi emmandwa. 4151:41 Is 13:19, Yer 25:26Sesaki nga kimenyeddwa! n’ettendo ery’ensi zonna nga balisonookerezza! Babulooni nga kifuuse amatongo mu mawanga! 4251:42 Is 8:7,8Ennyanja erinnye ku Babulooni: olufulube lw’amayengo gaayo lukibisseeko. 43Ebibuga byakyo bifuuse matongo, ensi enkalu n’eddungu, ensi omutali muntu so tewali mwana wa muntu ayitawo. 4451:44 Ezer 1:7,8, Is 46:1, Yer 31:12Era ndireeta omusango ku Beri mu Babulooni, era ndiggya mu kamwa ke ekyo kye yamira; so n’amawanga nga tegakyakulukutira wamu gy’ali nate: weewaawo, bbugwe w’e Babulooni aligwa.
45Mmwe abantu bange, muve wakati mu kyo, mwerokole buli muntu ekiruyi kya Mukama. 4651:46 Is 37:7, Mat 24:6,7So n’omutima gwammwe guleme okuzirika, so temutyanga olw’ekigambo ekiriwulirwa mu nsi; kubanga ekigambo kirijjira mu mwaka gumu, era oluvannyuma mu mwaka omulala ekigambo kirijja n’ekyejo mu nsi, owessaza ng’alwana n’owessaza. 47Kale, laba, ennaku zijja lwe ndireeta omusango ku bifaananyi ebyole ebya Babulooni, n’ensi yaayo yonna erikwatibwa ensonyi; n’abaayo bonna abattiddwa baligwira wakati mu kyo. 4851:48 Kub 18:20Kale eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu biriyimba n’essanyu olwa Babulooni; kubanga abanyazi balijja gye kiri okuva obukiika obwa kkono, bw’ayogera Mukama. 49Nga Babulooni bwe kyagwisa aba Isiraeri abattibwa, bwe batyo e Babulooni ab’ensi yonna abattiddwa gye baligwira. 5051:50 Yer 44:28Mmwe abawonye ekitala, mugende, temuyimirira buyimirizi; mujjukire Mukama nga muyima wala, era Yerusaalemi kiyingire mu mwoyo gwammwe. 5151:51 Zab 44:15,16, Kung 1:10Tukwatiddwa ensonyi, kubanga tuwulidde ebivume; amaaso gaffe gaswadde: kubanga bannaggwanga bayingidde mu bifo ebitukuvu eby’omu nnyumba ya Mukama. 5251:52 Ez 26:15Kale, laba, ennaku zijja, bw’ayogera Mukama, lwe ndireeta omusango ku bifaananyi byakyo ebyole; ne mu nsi yaakyo yonna abaliko ebiwundu balisinda. 5351:53 Is 14:13, Yer 49:16Babulooni newakubadde nga kirinnye okutuusa mu ggulu, era newakubadde nga kinywezezza entikko ey’amaanyi gaakyo, era naye abanyazi balijja gye kiri okuva we ndi, bw’ayogera Mukama. 54Eddoboozi ery’okukaaba erivudde mu Babulooni n’ery’okuzikirira okunene erivudde mu nsi ey’Abakaludaaya! 55kubanga Mukama anyaga Babulooni, era azikirizza oluyoogaano olunene okuva mu kyo; n’amayengo gaabwe gawuuma ng’amazzi amangi, era baleeta okuyoogaana kw’eddoboozi lyabwe: 5651:56 Is 59:18kubanga omunyazi akituuseeko, ku Babulooni, n’abasajja baamu ab’amaanyi bawambiddwa, emitego gyabwe gimenyesemenyese: kubanga Mukama ye Katonda asasula, talirema kuwa mpeera. 57Era nditaamiiza abakungu baamu n’abagezigezi baamu, abaamasaza baamu n’abasigire baamu n’abasajja baamu ab’amaanyi; era balyebaka otulo otutaliggwaawo so tebalizuukuka, bw’ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w’eggye. 5851:58 Kaab 2:13Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye nti Babbugwe abagazi b’e Babulooni balisuulirwa ddala, n’emiryango gyakyo emiwanvu giryokebwa omuliro; n’amawanga galiteganira obutaliimu, n’ebika biriteganira omuliro; era balikoowa.
5951:59 Yer 28:1; 32:12Ekigambo Yeremiya nnabbi kye yalagira Seraya mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni wamu ne Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwaka ogw’okufuga kwe ogw’okuna. Era Seraya yali ssaabakaaki omukulu. 6051:60 Yer 36:2; 50:1—51:58Awo Yeremiya n’awandiika mu kitabo obubi bwonna obwali bugenda okujja ku Babulooni, bye bigambo ebyo byonna ebiwandiikiddwa ku Babulooni. 61Awo Yeremiya n’agamba Seraya nti Bw’olituuka mu Babulooni, kale tolemanga kusoma, ebigambo bino byonna, 62oyogere nti Ai Mukama, wayogera eby’ekifo kino okukizikiriza omuntu yenna aleme okutuula omwo, omuntu newakubadde ensolo, naye kirekebwewo ennaku zonna. 6351:63 Yer 19:10,11, Kub 18:21Awo olulituuka bw’olimala okusoma ekitabo kino, n’olyoka okisibako ejjinja n’okisuula mu Fulaati wakati: 64era olyogera nti Babulooni bwe kirikka bwe kityo, so tekiribbulukuka nate, olw’obubi bwe ndikireetako: era balikoowa.
Ebigambo bya Yeremiya we bikoma wano.