
50
150:1 Is 13:1—14:27, Yer 51:59,60Ekigambo Mukama kye yayogera ekifa ku Babulooni, eky’ensi ey’Abakaludaaya, mu Yeremiya nnabbi.
250:2 Is 21:9; 46:1Mubuulire mu mawanga, mulangirire, musimbe ebendera; mulaalike, so temukisa: mwogere nti Babulooni kimenyeddwa, Beri akwatiddwa ensonyi, Merodaaki akeŋŋentereddwa; ebifaananyi byakyo bikwatiddwa ensonyi, esanamu zaakyo zikeŋŋentereddwa. 350:3 Yer 1:14; 51:29,62Kubanga mu bukiika obwa kkono evaayo eggwanga okukitabaala, erizisa ensi yaakyo, so tewaliba alibeera omwo: badduse, bagenze, abantu era n’ensolo. 450:4 Yer 3:18; 31:9, Kos 3:5Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw’ayogera Mukama, abaana ba Isiraeri balijja, bo n’abaana ba Yuda wamu; balikwata ekkubo lyabwe nga bakaaba amaziga, era balinoonya Mukama Katonda waabwe. 550:5 Is 2:3, Yer 31:21; 32:40Balibuuza ebya Sayuuni, amaaso gaabwe nga gatunulayo, nga boogera nti Mujje mwegatte ne Mukama nga mulagaanye endagaano eteriggwaawo eteryerabirwa.
650:6 Is 53:6; 65:10, Ez 34:6, Mat 18:12Abantu bange baabanga ndiga ezaabula: abasumba baabwe baabawabya, baabakyamiza ku nsozi: baavanga ku lusozi ne bagendanga ku kasozi, beerabidde ekifo kyabwe eky’okuwummuliramu. 750:7 Yer 14:8; 31:23; 40:2,3Bonna abaabalaba babalidde: n’abalabe baabwe ne boogera nti Tetwonoona kubanga bo basobezza Mukama, omubeera obutuukirivu, Mukama essuubi lya bajjajjaabwe. 850:8 Is 48:20, Yer 51:6,45Mudduke muve wakati mu Babulooni, muve mu nsi ey’Abakaludaaya, mubeere ng’embuzi emmandwa mu maaso g’ebisibo. 950:9 Yer 25:14Kubanga, laba, ndigolokosa ekibiina ky’amawanga amakulu ne mbatabaaza Babulooni okuva mu nsi ey’obukiika obwa kkono: era balisimba ennyiriri okulwana nakyo; kiriggibwa eyo: obusaale bwabwe buliba ng’obw’omusajja ow’amaanyi omukabakaba; tewaliba alidda obusa. 1050:10 Yer 25:12Kale Obukaludaaya buliba munyago: bonna ababunyaga balikkuta, bw’ayogera Mukama. 1150:11 Kung 1:21Kubanga musanyuse, kubanga mujaguza, mmwe abanyaga obusika bwange, kubanga muligita ng’ente enduusi ewuula, ne mufugula ng’embalaasi ez’amaanyi; 1250:12 Yer 51:43nnyammwe alikwatibwa ensonyi nnyingi nnyo; eyabazaala aliswala: laba, aliba wa nkomerero mu mawanga, olukoola, ensi enkalu, n’eddungu. 13Olw’obusungu bwa Mukama kyeriva erema okutuulwamu, naye erirekerwawo ddala: buli ayita ku Babulooni alisamaalirira n’asooza ebibonoobono byakyo byonna. 1450:14 Yer 51:3,11Musimbe ennyiriri okulwana ne Babulooni enjuyi zonna, mmwe mwenna abanaanuula omutego; mukirase, temusaasira busaale: kubanga kyayonoona Mukama. 1550:15 Yer 46:10; 50:29; 51:6,11Mukireekaanireko enjuyi zonna; kijeemulukuse; amakomera gaakyo gagudde, babbugwe baakyo basuuliddwa: kubanga lye ggwanga Mukama ly’awalana; mukiwalaneko eggwanga; nga bwe kyakolanga mukikole bwe mutyo. 1650:16 Is 13:14, Yer 51:9Mumaleewo asiga mu Babulooni, n’oyo akwata ekiwabyo mu biro eby’okukunguliramu: olw’okutya ekitala ekijooga balikyukira buli muntu eri abantu b’ewaabwe, era baliddukira buli muntu mu nsi y’ewaabwe.
1750:17 2 Bassek 17:6; 18:13; 24:10,14; 25:1-11, Yer 2:15; 51:34Isiraeri ndiga ewabye; empologoma zimugobye: kabaka w’e Bwasuli ye yasooka okumulya; ne Nebukadduleeza ono kabaka w’e Babulooni ye w’enkomerero, amenye amagumba ge. 1850:18 Is 10:12; 14:14Mukama w’eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw’ati nti Laba, ndibonereza kabaka w’e Babulooni n’ensi ye nga bwe nnabonereza kabaka w’e Bwasuli. 1950:19 Ez 34:13,14, Mi 7:14Era ndikomyawo Isiraeri nate mu ddundiro lye, era aliriira ku Kalumeeri ne Basani, n’emmeeme ye erikkutira ku nsozi za Efulayimu, ne mu Gireyaadi. 2050:20 Is 40:2, Yer 31:34Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo, bw’ayogera Mukama, obutali butuukirivu bwa Isiraeri balibunoonya, so nga tewali; n’ebibi bya Yuda, so tebirirabika: kubanga ndisonyiwa abo be ndireka okuba ekitundu ekifisseewo.
21Tabaala ensi y’e Merasayimu, gy’oba otabaala, n’abo abali mu Pekodi: otte ozikiririze ddala ennyuma waabwe, bw’ayogera Mukama, okole nga byonna bwe biri bye nnakulagira. 2250:22 Yer 51:54Eddoboozi ery’entalo liri mu nsi n’ery’okuzikirira okunene. 2350:23 Is 14:6, Kub 18:10,21Ennyondo ey’ensi zonna ng’etemeddwa ng’emenyese! Babulooni nga kifuuse amatongo mu mawanga! 2450:24 Yer 51:31, Dan 5:30Nakutegera omutego, n’okukwatibwa okwatiddwa, ai Babulooni, so tewamanyirira: olabise n’okukwatibwa okwatiddwa, kubanga wawakana ne Mukama. 2550:25 Is 13:5Mukama asumuludde etterekero ly’eby’okulwanyisa bye, era aggyeemu ebyokulwanyisa eby’okunyiiga kwe: kubanga Mukama, Mukama w’eggye, alina omulimu gw’agenda okukola mu nsi ey’Abakaludaaya. 26Mujje mukirumbe nga muva ku nsalo ekomererayo, musumulule amawanika gaakyo: mukituume nga bifunvu, mukizikiririze ddala: waleme okubaawo ekintu ekisigala ku kyo. 2750:27 Is 34:7,8Mutte ente zaakyo zonna; ziserengete mu kuttibwa: zizisanze! kubanga olunaku lwazo lutuuse, olunaku kwe zirijjirwa. 2850:28 Zab 64:9Eddoboozi ly’abo abadduka ne bawona mu nsi y’e Babulooni, okubuulira mu Sayuuni eggwanga Mukama Katonda waffe ly’aliwalana, ly’aliwalana olwa yeekaalu ye. 2950:29 Is 47:10, Yer 25:14Muyite abalasi bakuŋŋaane balumbe Babulooni, abo bonna abanaanuula omutego, musiisire okukyolekera enjuyi zonna; waleme okuba aliwona ku kyo: musasule ng’omulimu gwakyo bwe gwali; nga byonna bwe biri bye kyakolanga, bwe mutyo mukikolanga: kubanga yabanga wa malala eri Mukama, eri Omutukuvu owa Isiraeri. 3050:30 Yer 49:26Abalenzi baakyo kyebaliva bagwira mu nguudo zaakyo, n’abasajja baakyo bonna abalwanyi balisirisibwa ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama. 31Laba, ndi mulabe wo, ai ggwe alina amalala, bw’ayogera Mukama, Mukama w’eggye: kubanga olunaku lwo lutuuse, ekiseera mwe nnaakujjirira. 32Alina amalala alyesittala n’agwa, so tewaliba alimuyimusa; era ndikuma omuliro mu bibuga bye, era gulyokya bonna abamwetoolodde.
3350:33 Is 14:17Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye nti Abaana ba Isiraeri n’abaana ba Yuda babajoogera wamu: n’abo bonna abaabatwala okuba abasibe babanywezezza; bagaanyi okubata. 3450:34 Is 43:14; 51:22, Yer 51:36Omununuzi waabwe wa maanyi; Mukama w’eggye lye linnya lye: aliwoleza ddala ensonga yaabwe, alyoke awummuze ensi, era yeeraliikirize abo abali mu Babulooni. 3550:35 Yer 51:57, Dan 4:6; 5:30Ekitala kiri ku Bakaludaaya, bw’ayogera Mukama, ne ku abo abali mu Babulooni ne ku bakungu baamu ne ku bagezigezi baamu. 36Ekitala kiri ku abo abeenyumiriza, era balisiruwala: ekitala kiri ku basajja baamu ab’amaanyi, era balikeŋŋentererwa. 3750:37 Yer 51:30Ekitala kiri ku mbalaasi zaabwe ne ku magaali gaabwe ne ku bantu bonna abaatabulwa abali wakati mu kyo, era balifuuka ng’abakazi: ekitala kiri ku bintu byamu eby’obugagga, era birinyagibwa. 3850:38 Yer 51:36,47,52Ekyanda kiri ku mazzi gaamu, era galikalira: kubanga nsi ya bifaananyi byole, era balalukidde esanamu. 3950:39 Is 13:21,22Ensolo ez’omu nsiko ez’omu ddungu kyezinaavanga zibeera eyo, ne bamaaya banaabeeranga omwo: so tekiibeerwengamu nate ennaku zonna; so tekiituulwengamu emirembe n’emirembe. 4050:40 Lub 19:24,25Nga Katonda bwe yasuula Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyaliraanawo, bw’ayogera Mukama; bwe kityo tewaabenga muntu anaatuulanga eyo, so tewaabenga mwana wa muntu anaabeeranga omwo. 4150:41-43 Yer 6:22-24Laba, eggwanga liva obukiika obwa kkono; era ekika ekikulu, era bakabaka bangi abaliyimusibwa okuva ku njuyi z’ensi ezikomererayo. 42Bakwata omutego n’effumu; bakambwe so tebalina kusaasira; eddoboozi lyabwe liwuuma ng’ennyanja, era beebagala embalaasi; buli muntu ng’atala ng’omuntu bw’atalira olutalo, okulwana naawe, ai omuwala wa Babulooni. 43Kabaka w’e Babulooni awulidde ettutumo lyabwe, emikono gye ne giddirira: obubalagaze bumukutte n’obulumi ng’omukazi alumwa okuzaala. 4450:44-46 Is 14:24, Yer 49:19-21; 51:11,12,29Laba, alirinnya ng’empologoma eva ku malala ga Yoludaani, okulumba ekifo eky’amaanyi eky’okubeeramu: naye ndikibaddusa mangu ago; era buli alirondebwa, oyo gwe ndikuza ku kyo: kubanga ani afaanana nze? era ani alinteekerawo ekiseera? era ani omusumba aliyimirira mu maaso gange? 45Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw’ateeseza ku Babulooni; n’ebyo by’amaliridde eri ensi ey’Abakaludaaya: Tebalirema kubawalula okubaggyayo, abaana abato ab’omu kisibo; talirema kulekesaayo ekifo kyabwe eky’okubeeramu wamu nabo. 46Olw’eddoboozi ery’okumenya Babulooni ettaka likankana, n’okukaaba kuwuliddwa mu mawanga.