
47
147:1 Ez 25:15,16, Am 1:6,7, Zef 2:4,5Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nnabbi eky’Abafirisuuti, Falaawo nga tannakuba Gaza.
247:2 Is 8:7Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Laba, amazzi gatumbiira agava obukiika obwa kkono, era galifuuka mugga ogwanjaala, era galyanjaala ku nsi ne byonna ebigirimu, ekibuga n’abo abakituulamu: n’abantu balikaaba, n’abo bonna ababeera mu nsi baliwowoggana. 347:3 Yer 46:5, Nak 3:2Olw’emisinde gy’okusamba kw’ebinuulo by’ensolo ze ez’amaanyi, olw’okuwulukuka kw’amagaali ge, olw’okuvuuma okwa bannamuziga be, bakitaabwe kyebava balema okutunula ennyuma eri abaana baabwe, emikono gyabwe olw’okuba eminafu; 447:4 Yo 3:4, Am 1:8; 9:7olw’olunaku olujja okunyaga Abafirisuuti, okumalawo ku Ttuulo ne Sidoni buli mubeezi asigaddewo: kubanga Mukama alinyaga Abafirisuuti, ekitundu ekifisseewo eky’ekizinga Kafutoli. 547:5 Yer 48:37Gaza aliko ekiwalaata; Asukulooni amaliddwawo, ekitundu ekifisseewo ku kiwonvu kyabwe: olituusa wa okwesala? 647:6 Ma 32:41Ai ggwe ekitala kya Mukama, olituusa wa obutatereera? weeteke mu kiraato kyo wummula osirike. 747:7 Ez 14:17, Mi 6:9Oyinza otya okutereera, kubanga Mukama aliko ky’akukuutidde? akiragidde okulwana ne Asukulooni n’ettale ly’ennyanja.