
46
146:1 Yer 1:5Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nnabbi ku mawanga.
246:2 2 Bassek 23:29, Yer 25:1Ku Misiri: eby’eggye lya Falaawomeko kabaka w’e Misiri eryali ku lubalama lw’omugga Fulaati e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogw’okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda.
346:3 Yer 51:11Muteeketeeke akagabo n’engabo, musembere okulwana. 4Muteeke amatandiiko ku mbalaasi, mulinnye, mmwe abeebagala embalaasi, muyimirire mu maaso nga mulina enkuufiira zammwe ez’ebyuma; muzigule amafumu, mwambale ebizibawo eby’ebyuma. 546:5 Yer 6:25Nkirabidde ki? bakeŋŋentereddwa, bazze nnyuma; n’abasajja baabwe ab’amaanyi basuuliddwa wansi, era badduse mbiro, so tebatunula nnyuma: entiisa eri ku njuyi zonna, bw’ayogera Mukama. 6Ab’embiro baleme okudduka so n’omusajja ow’amaanyi aleme okuwona; obukiika obwa kkono ku lubalama lw’omugga Fulaati beesitadde bagudde. 746:7 Is 8:7,8, Yer 47:2Ani ono agolokose nga Kiyira, amazzi ge geesuukunda ng’emigga? 846:8 Ez 32:2Misiri yagolokoka nga Kiyira, n’amazzi ge geesuukunda ng’emigga: naayogera nti Naagolokoka, naabikka ku nsi zonna; ndizikiriza ekibuga n’abo abakituulamu. 946:9 Is 66:19, Ez 27:10, Nak 3:2Mwambuke, mmwe embalaasi; mulaluke, mmwe amagaali; n’abasajja ab’amaanyi bafulume: Kuusi ne Puti abakwata engabo; n’Abaluudi abakwata abanaanuula omutego. 1046:10 Is 1:24; 34:5,6, Yer 50:15, Yo 1:15Kubanga olunaku olwo lunaku lwa Mukama, Mukama w’eggye, olunaku olw’okuwalanirako eggwanga awalane eggwanga ku balabe be: n’ekitala kirirya ne kikkuta, era kirinywa ku musaayi gwabwe ne kikkuta: kubanga Mukama, Mukama w’eggye, alina ssaddaaka gy’asalira mu nsi ey’obukiika obwa kkono ku lubalama lw’omugga Fulaati. 1146:11 Yer 8:22, Ez 30:21Yambuka e Gireyaadi, oddire eddagala, ggwe omuwala wa Misiri atamanyi musajja: onywera bwereere eddagala ery’engeri ennyingi; tewali kuwona eri ggwe. 12Amawanga gawulidde okuwemuka kwo, n’ensi ejjudde okukaaba kwo: kubanga omusajja ow’amaanyi yeesittadde ku w’amaanyi, bagwiridde wamu bombi.
1346:13 Yer 43:10,11, Ez 29:10Ekigambo Mukama kye yagamba Yeremiya nnabbi Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni bw’agenda okujja n’akuba ensi y’e Misiri.
1446:14 Yer 44:1Mubuulire mu Misiri, mulangire mu Migudooli, era mulangire mu Noofu ne Tapanesi: mwogere nti Fuluma oyimirire, weeteeketeeke; kubanga ekitala kiridde okwetooloola enjuyi zonna. 15Ababo ab’amaanyi kiki ekibatwaza olw’amaanyi? tebaayimirira, kubanga Mukama ye yabagoba. 1646:16 Leev 26:37Yabeesittaza bangi, weewaawo, baagwaŋŋanako: ne boogera nti Golokoka tuddeyo eri abantu ab’ewaffe ne mu nsi gye twazaalirwamu okuva eri ekitala ekijooga. 17Baayogerera eyo nti Falaawo kabaka w’e Misiri luyoogaano buyoogaano; asobezza entuuko ezaalagirwa. 1846:18 Balam 4:6, 1 Bassek 18:42,44, Yer 48:15Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Kabaka, erinnya lye Mukama w’eggye, mazima nga Taboli mu nsozi era nga Kalumeeri ku lubalama lw’ennyanja, bw’alijja bw’atyo. 19Ai omuwala abeera mu Misiri, weesibirire okugenda mu busibe: kubanga Noofu kirifuuka matongo, era kiryokebwa obutabaamu abeeramu. 2046:20 Yer 1:13, Kos 10:11Misiri nte nduusi nnungi nnyo; naye okuzikirira okuvudde mu bukiika obwa kkono kutuuse, kutuuse. 2146:21 Yer 50:27N’abasajja be b’agulirira abali wakati we bali ng’ennyana ez’omu kisibo; kubanga nabo bazze ennyuma, baddukidde wamu, tebaayimirira: kubanga olunaku olw’okulabiramu obuyinike bwabwe lubatuuseeko, ebiro eby’okujjirwa kwabwe. 2246:22 Is 10:34; 14:8; 29:4Eddoboozi lyakwo liritambula ng’omusota; kubanga balitambula nga balina eggye, ne bamutabaala nga balina embazzi, ng’abatema emiti. 2346:23 Balam 6:5Balitema ekibira kye, bw’ayogera Mukama, newakubadde nga tekinoonyezeka; kubanga basinga enzige obungi, so tebabalika. 24Omuwala wa Misiri alikwatibwa ensonyi; aliweebwayo mu mukono gw’abantu ab’obukiika obwa kkono. 2546:25 Yer 43:12Mukama w’eggye, Katonda wa Isiraeri, ayogera nti Laba, ndibonereza Amoni ow’e No, ne Falaawo, ne Misiri ne bakatonda be ne bakabaka be; Falaawo n’abo abamwesiga: 2646:26 Yer 44:30, Ez 29:13,14; 32:11era ndibagabula mu mukono gw’abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni, ne mu mukono gw’abaddu be: kale oluvannyuma erituulwamu nga mu nnaku ez’edda, bw’ayogera Mukama. 2746:27 Yer 30:10,11Naye totya ggwe, Yakobo omuddu wange, so tokeŋŋentererwa, ggwe Isiraeri: kubanga, laba, ndikulokola nga nnyima wala, n’ezzadde lyo nga nnyima mu nsi ey’obusibe bwabwe; kale Yakobo alikomawo, era alitereera era alyessa, so tewaliba alimutiisa. 2846:28 Yer 10:24Totya ggwe, ai Yakobo omuddu wange, bw’ayogera Mukama; kubanga nze ndi wamu naawe: kubanga ndimalirawo ddala amawanga gonna gye nnakugobera, naye ggwe sirikumalirawo ddala; naye ndikukangavvula mpola, so sirikuleka n’akatono nga tobonerezebbwa.