
43
1Awo olwatuuka Yeremiya bwe yamalira ddala okwogera n’abantu bonna ebigambo byonna ebya Mukama Katonda waabwe, Mukama Katonda waabwe bye yali amutumye gye bali, bye bigambo ebyo byonna, 243:2 Zab 86:14awo Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanani mutabani wa Kaleya n’abasajja bonna ab’amalala ne boogera nga bagamba Yeremiya nti Olimba: Mukama Katonda waffe takutumye okwogera nti Temuyingiranga mu Misiri okubeera omwo: 343:3 Yer 38:22naye Baluki mutabani wa Neriya ye akutuweeredde okutugabula mu mukono gw’Abakaludaaya balyoke batutte batutwale e Babulooni nga tuli basibe. 4Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaami bonna ab’ebitongole n’abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Mukama okubeera mu nsi ya Yuda. 543:5 Yer 40:11,12Naye Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaami bonna ab’ebitongole ne batwala ekitundu kyonna ekya Yuda abaafikkawo abaali bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali babagobedde okubeera mu nsi ya Yuda; 643:6 Yer 41:10abasajja n’abakazi n’abaana abato n’abawala ba kabaka na buli muntu Nebuzaladaani omukulu w’abambowa gwe yalekera Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, ne Yeremiya nnabbi ne Baluki mutabani wa Neriya; 7ne bayingira mu nsi y’e Misiri; kubanga tebaagondera ddoboozi lya Mukama: ne batuuka n’e Tapanesi. 8Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya e Tapanesi nga kyogera 9nti Ddira amayinja amanene mu mukono gwo ogakweke mu ttaka ery’omu matoffaali agali awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo e Tapanesi, abasajja ba Yuda nga balaba; 1043:10 Yer 1:15; 25:9obagambe nti Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndituma ne nzirira Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni omuddu wange, ne nteeka entebe ye ku mayinja gano ge nkwese; era alitimba eweema ye eya kabaka ku go. 1143:11 Yer 15:2; 46:13Era alijja n’akuba ensi y’e Misiri; ab’okuttibwa baliweebwayo eri okuttibwa, n’ab’obusibe eri obusibe, n’ab’ekitala eri ekitala. 1243:12 Kuv 12:12, Is 19:1; 49:18, Yer 48:7, Ez 30:13Era ndikuma omuliro mu nnyumba za bakatonda b’e Misiri; era alibookya n’abatwala nga basibe: era alyambala ensi y’e Misiri ng’omusumba bw’ayambala ekyambalo kye; era alivaayo mirembe. 13Era alimenya empagi ez’e Besusemeesi ekiri mu nsi y’e Misiri; n’ennyumba za bakatonda b’e Misiri alizookya omuliro.