
40
1Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama, Nebuzaladaani omukulu w’abambowa bwe yamala okumuteera mu Laama, bwe yamutwala ng’asibiddwa mu masamba mu basibe bonna ab’e Yerusaalemi ne Yuda abatwalibwa e Babulooni nga basibe. 240:2 Ma 29:24,25Omukulu w’abambowa n’atwala Yeremiya n’amugamba nti Mukama Katonda wo yayogera obubi buno ku kifo kino: 3n’okuleeta Mukama abuleese, era akoze nga bwe yayogera; kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lye, ekigambo kino kyekivudde kibatuukako. 440:4 Yer 39:12Kale nno, laba, nkusumulula leero mu masamba agali ku mukono gwo. Oba ng’osiima okujja nange okugenda e Babulooni, jjangu, nange naakukuumanga bulungi; naye oba ng’okiyita kibi okujja nange okugenda e Babulooni, lekayo: laba, ensi yonna eri mu maaso go; gy’osiima okugenda era gy’osinga okwagala, gy’oba ogenda. 5Awo bwe yali nga tannaddayo, n’ayogera nti Ddayo nno eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w’e Babulooni gw’awadde okufuga ebibuga bya Yuda, obeere ewuwe mu bantu: oba genda yonna gy’osiima okugenda. Awo omukulu w’abambowa n’amuwa ebyokulya n’ekirabo n’amuta. 6Awo Yeremiya n’agenda eri Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, n’abeera ewuwe mu bantu, abaali basigadde mu nsi.
740:7 2 Bassek 25:12,23,24, Yer 39:10Awo abaami bonna ab’ebitongole abaali mu byalo, bo n’abasajja baabwe, bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni awadde Gedaliya mutabani wa Akikamu okufuga ensi, era ng’amukwasizza abasajja n’abakazi n’abaana abato ne ku abo abasinga obwavu mu nsi, ku abo abataatwalibwa e Babulooni nga basibe; 840:8 Yer 41:1-3; 42:1awo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa, Isimaeri mutabani wa Nesaniya ne Yokanani ne Yonasaani batabani ba Kaleya ne Seraya mutabani wa Tanukumesi ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w’omu Maakasi, bo n’abasajja baabwe. 9Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n’abalayirira bo n’abasajja baabwe ng’ayogera nti Temutya kuweereza Abakaludaaya: mubeere mu nsi, muweerezenga kabaka w’e Babulooni, era munaabanga bulungi. 1040:10 Yer 42:12Nze, laba, naabeeranga e Mizupa okuyimiriranga mu maaso g’Abakaludaaya abalijja gye tuli: naye mmwe mukuŋŋaanye omwenge n’ebibala eby’omu kyeya n’amafuta, mubiteeke mu bintu byammwe, mubeerenga mu bibuga byammwe bye mulidde. 11Era bwe batyo n’Abayudaaya bonna abaali mu Mowaabu ne mu baana ba Amoni ne mu Edomu n’abo abaali mu nsi zonna bwe baawulira nga kabaka w’e Babulooni afissizzaawo ku Yuda era ng’akuzizza ku bo Gedaliya mutabani wa Akikaamu mutabani wa Safani; 1240:12 Yer 43:5kale Abayudaaya bonna ne bakomawo nga bava mu bifo byonna gye baali babagobedde ne bajja mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bakuŋŋaanya omwenge n’ebibala eby’omu kyeya bingi nnyo nnyini.
1340:13 Yer 41:11; 42:1,2Era nate Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaami bonna ab’ebitongole abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa 1440:14 Yer 41:10ne bamugamba nti Omanyi nga Baalisi kabaka w’abaana ba Amoni atumye Isimaeri mutabani wa Nesaniya okukutta? Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n’atabakkiriza. 15Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n’ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng’agamba nti Kaŋŋende, nkwegayiridde, nzite Isimaeri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya: yandikuttidde ki, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanye gy’oli n’okusaasaana ne basaasaana, n’ekitundu kya Yuda ekifisseewo ne kizikirira? 16Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n’agamba Yokanani mutabani wa Kaleya nti Tokola kigambo ekyo: kubanga omuwaayiriza Isimaeri.