
39
139:1-10 2 Bassek 25:1-12, Yer 52:4-16Awo olwatuuka Yerusaalemi bwe kyamenyebwa, (mu mwaka ogw’omwenda ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwezi ogw’ekkumi Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni mwe yajjira n’eggye lye lyonna okutabaala Yerusaalemi n’akizingiza; 2mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogwa Zeddekiya mu mwezi ogw’okuna ku lunaku olw’omwezi olw’omwenda mwe baawagulira ekituli mu kibuga:) 339:3 2 Bassek 18:17, Yer 1:15abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bayingira ne batuula mu mulyango ogwa wakati, Nerugalusalezeeri, Samugaluneebo, Salusekimu, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, wamu n’abakungu bonna abalala aba kabaka w’e Babulooni. 439:4 Ma 1:1Awo olwatuuka Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abasajja bonna abalwanyi bwe baabalaba, kale ne badduka ne bava mu kibuga kiro mu kkubo ery’olusuku lwa kabaka, mu mulyango oguli wakati wa babbugwe ababiri: n’afuluma mu kkubo erya Alaba. 539:5 Yos 5:10, Ez 17:15Naye eggye ery’Abakaludaaya ne libagoberera ne bayisiriza Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko: awo bwe baamala okumuwamba, ne bamuleeta eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni e Libula mu nsi ey’e Kamasi, n’amusalira omusango. 6Awo kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya e Libula ye ng’alaba: era kabaka w’e Babulooni n’atta n’abakungu bonna aba Yuda. 739:7 Ez 12:13Era n’aggyamu Zeddekiya amaaso, n’amusiba n’amasamba okumutwala e Babulooni. 839:8 Nek 1:3, Is 5:5Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n’ennyumba ez’abantu omuliro, ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi. 939:9 Yer 37:13; 40:1Awo Nebuzaladaani omukulu w’abambowa n’atwala e Babulooni nga basibe abantu abafisseewo abaali basigadde mu kibuga, era n’abasenze abaamusenga, n’abantu abafisseewo abaali basigaddewo. 1039:10 2 Bassek 25:12Naye Nebuzaladaani omukulu w’abambowa n’aleka ku baavu ab’omu bantu abaali batalina kintu mu nsi ya Yuda, n’abawa ensuku ez’emizabbibu n’ennimiro mu biro ebyo. 11Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alagira Nebuzaladaani omukulu w’abambowa ebya Yeremiya ng’ayogera nti 1239:12 Yer 40:4Mutwale omukuume nnyo, so tomukola kabi; naye omukolanga era nga ye bw’anaakugambanga. 13Awo Nebuzaladaani omukulu w’abambowa n’atuma, ne Nebusazubaani, Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, Labumagi, n’abaami bonna abakulu aba kabaka w’e Babulooni; 1439:14 2 Bassek 22:3,12; 25:22-25, Yer 38:28; 40:5,6ne batuma ne baggya Yeremiya mu luggya olw’abambowa ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani amutwale eka: awo n’abeera mu bantu.
15Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya bwe yali ng’asibiddwa mu luggya olw’abambowa, nga kyogera 1639:16 Yer 21:10; 38:7, Dan 9:12nti Genda obagambe Ebedumereki Omuwesiyopya nti Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta ebigambo byange ku kibuga kino olw’obubi so si lwa bulungi; era birituukirizibwa mu maaso go ku lunaku luli. 17Naye ndikuwonyeza ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama: so toliweebwayo mu mukono gw’abasajja b’otya. 1839:18 Zab 25:2; 37:40, Yer 21:9Kubanga sirirema kukulokola, so toligwa n’ekitala, naye obulamu bwo buliba munyago gy’oli: kubanga weesize nze, bw’ayogera Mukama.