
3
13:1 Ma 24:1-4Boogera nti Omusajja bw’agoba mukazi we, naye n’amuvaako n’aba ow’omusajja omulala, omusajja oyo alimuddira nate? ensi eyo teryonooneka nnyo? Naye ggwe weefuula omwenzi eri baganzi bo bangi; era naye nzirira nate, bw’ayogera Mukama. 23:2 Ez 16:25Yimusa amaaso go eri ensozi ez’obweru olabe; we batasulira naawe wa? Wabaatulirira ku mabbali g’ekkubo, ng’Omuwalabu mu ddungu; era wayonoona ensi n’obwenzi bwo n’obubi bwo. 33:3 Ma 28:24, Yer 6:15; 8:12Empandaggirize kyezivudde ziziyizibwa, so tewabaddeewo ttoggo; era naye n’oba n’ekyenyi eky’omwenzi, wagaana okukwatibwa ensonyi. 4Tonkaabirenga okuva leero nti Kitange, ggwe musaale w’obuto bwange? 53:5 Zab 103:9Aliguguba n’obusungu bwe emirembe gyonna? aliremera mu bwo okutuusa enkomerero? Laba, wayogera n’okola ebigambo ebibi, n’okwata ekkubo lyo ggwe.
63:6 Yer 2:20Era nate Mukama n’aŋŋambira mu mirembe gya Yosiya kabaka nti Olabye ekyo Isiraeri eyaseeseetuka ky’akoze? alinnye ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi, ne yeefuulira eyo omwenzi. 73:7 Ez 16:46; 23:4Ne njogera bwe yamala okukola ebyo byonna nti Alinzirira; naye n’atadda: ne mwannyina ow’enkwe Yuda n’akiraba. 83:8 2 Bassek 17:19, Kos 1:6,9, Mat 19:7Ne ndaba, bwe nnamala okugoba Isiraeri eyaseeseetuka ne mmuwa ebbaluwa ey’okumugoba olw’ensonga eno kubanga ayenze, era naye Yuda ow’enkwe mwannyina n’atatya; naye era naye n’agenda ne yeefuula omwenzi. 93:9 Yer 2:27Awo olwatuuka kubanga mwangu okwenda ensi n’eyonooneka, n’ayenda ku mayinja n’ebikonge. 10Era naye ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo, mwannyina ow’enkwe Yuda tanziridde n’omutima gwe gwonna, naye ng’akuusakuusa, bw’ayogera Mukama. 113:11 Ez 16:51,52Awo Mukama n’aŋŋamba nti Isiraeri eyaseeseetuka yeeraze okuba omutuukirivu okukira Yuda ow’enkwe. 123:12 Ma 30:1-10, Zab 86:5,15Genda olangire ebigambo bino ng’otunuulira obukiika obwa kkono, oyogere nti Komawo, ggwe Isiraeri eyaseeseetuka, bw’ayogera Mukama; siibatunuulire n’obusungu: kubanga nnina okusaasira, bw’ayogera Mukama, siriguguba na busungu emirembe gyonna. 13Kyokka kkiriza obutali butuukirivu bwo, nga wasobya Mukama Katonda wo, n’osaasaanyiza amakubo go abagenyi wansi wa buli muti omubisi, so temwagondera ddoboozi lyange, bw’ayogera Mukama. 143:14 Is 54:5, Kos 2:19Komawo, mmwe abaana abadda ennyuma, bw’ayogera Mukama; kubanga nze bbammwe: era ndibatwala nga nziya omu ku kibuga n’ababiri ku kika, ne mbaleeta e Sayuuni: 153:15 Yer 23:4, Ez 34:23, Bik 20:28era ndibawa abasumba ng’omutima gwange bwe guli abalibaliisa n’okumanya n’okutegeera. 16Awo olulituuka bwe muliba nga mwaze era nga mweyongedde mu nsi, kale mu biro ebyo, bw’ayogera Mukama, nga tebakyayogera nti Essanduuko ey’endagaano ya Mukama; so teriyingira mu mwoyo gwabwe; so tebaligijjukira; so tebaligikyalira; so tebalikola nate bwe batyo. 173:17 Is 2:2; 60:9, Yer 7:24; 9:14; 11:8Mu biro ebyo baliyita Yerusaalemi entebe ya Mukama; n’amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa eyo, eri erinnya lya Mukama e Yerusaalemi: so tebalitambula nate ng’obukakanyavu bw’omutima gwabwe omubi bwe buli. 183:18 Is 11:13, Yer 16:15; 50:4, Kos 1:11, Am 9:15Mu biro ebyo ennyumba ya Yuda eritambulira wamu n’ennyumba ya Isiraeri, era baliviira wamu mu nsi ey’obukiika obwa kkono ne bayingira mu nsi gye nnawa bajjajjammwe okuba obusika. 193:19 Is 63:16Naye ne njogera nti Ndikuteeka ntya mu baana, ne nkuwa ensi ey’essanyu, obusika obulungi mu ggye ly’amawanga? ne njogera nti Mulimpita nti Kitange; so temulikyuka obutangoberera. 20Mazima omukazi nga bw’ava ku bba ng’asala olukwe, bwe mutyo nammwe bwe munsalidde enkwe, mmwe ennyumba ya Isiraeri, bw’ayogera Mukama. 213:21 Yer 31:9Eddoboozi liwuliddwa ku nsozi ez’obweru, okukaaba n’okwegayirira kw’abaana ba Isiraeri; kubanga banyodde ekkubo lyabwe, beerabidde Mukama Katonda waabwe. 223:22 Yer 30:17Mukomeewo, mmwe abaana abaseeseetuse, naawonya okuseeseetuka kwammwe. Laba, tuzze gy’oli; kubanga ggwe Mukama Katonda waffe. 233:23 Zab 3:8; 121:1,2Mazima okubeerwa okusuubirwa okuva ku nsozi kwa bwereere, oluyoogaano oluli ku nsozi: mazima mu Mukama Katonda waffe mwe muli obulokozi bwa Isiraeri. 24Naye ekyo ekikwasa ensonyi kye kimazeewo emirimu gya bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe; embuzi zaabwe n’ente zaabwe, batabani baabwe n’abawala baabwe. 253:25 Ezer 9:6,7, Ez 2:3Tugalamire ensonyi nga zitukutte, okuswala kwaffe kutubikkeko: kubanga twonoonye Mukama Katonda waffe, ffe ne bajjajjaffe okuva mu buto bwaffe ne leero: so tetugonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda waffe.