
29
129:1 Ez 8:1Era bino bye bigambo eby’omu bbaluwa Yeremiya nnabbi gye yaweereza ng’ayima e Yerusaalemi eri abakadde abafisseewo ab’omu busibe n’eri bakabona n’eri bannabbi n’eri abantu bonna Nebukadduneeza be yali atutte nga basibe okubaggya e Yerusaalemi okubatwala e Babulooni: 229:2 Yer 24:1(Yekoniya kabaka ne nnamasole n’abalaawe n’abakungu ba Yuda ne Yerusaalemi ne bafundi n’abaweesi nga bamaze okuva mu Yerusaalemi;) 3mu mukono gwa Erasa mutabani wa Safani ne Gemaliya mutabani wa Kirukiya, (Zeddekiya kabaka wa Yuda be yatuma e Babulooni eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni,) ng’ayogera 4nti Bw’ati Mukama w’eggye Katonda wa Isiraeri bw’agamba ab’obusibe bonna be nnatwaza e Babulooni nga basibe okubaggya e Yerusaalemi, 5nti Muzimbenga ennyumba mutuulenga omwo; musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu; muwasenga abakazi, muzaalenga abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala; 6era muwasizenga batabani bammwe abakazi, era mugabenga abawala bammwe okufumbirwa, bazaalenga abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala; mwalirenga eyo so temukendeera. 729:7 Ezer 6:10, 1 Tim 2:1,2Mwagalizenga ekibuga emirembe gye nnabatwaza okuba abasibe, era mukisabirenga eri Mukama: kubanga olw’emirembe gyakyo mmwe muliba n’emirembe. 829:8,9 Yer 5:31; 27:9Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye Katonda wa Isiraeri nti Bannabbi bammwe abali wakati mu mmwe n’abafumu bammwe balemenga okubalimba, so temuwulirizanga birooto byammwe bye muloosa. 9Kubanga babalagulira mu linnya lyange eby’obulimba: sibatumanga, bw’ayogera Mukama. 1029:10 Yer 25:12; 27:22; 33:14, Yer 31:17; 33:3Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti Emyaka nsanvu bwe girituukiririra Babulooni, ndibajjira ne ntuukiriza gye muli ekigambo kyange ekirungi nga mbakomyawo mu kifo kino. 11Kubanga mmanyi ebirowoozo bye ndowooza gye muli, bw’ayogera Mukama, ebirowoozo eby’emirembe so si bya bubi, okubawa okusuubira enkomerero yammwe ey’oluvannyuma. 1229:12 Yer 33:3Era mulinkaabira, era muligenda ne munsaba, nange ndibawulira. 1329:13 Ma 4:29, 2 Byom 15:2, Nge 8:17, Yer 24:7Era mulinnoonya ne mundaba, bwe mulinkenneenya n’omutima gwammwe gwonna. 1429:14 Ma 30:3, Yer 23:3Nange mulindaba, bw’ayogera Mukama, era ndikyusa nate obusibe bwammwe, ne mbakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nnabagobera, bw’ayogera Mukama; era ndibakomyawo mu kifo gye nnabaggya okubatwaza okuba abasibe. 15Kubanga mwogedde nti Mukama atuyimusirizza bannabbi mu Babulooni. 1629:16 Yer 22:2Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ebya kabaka atuula ku ntebe ya Dawudi, n’eby’abantu bonna abali mu kibuga muno, baganda bammwe abatafulumanga okugenda mu busibe wamu nammwe; 1729:17 Yer 24:8,10bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye nti Laba, ndisindika ku bo ekitala n’enjala ne kawumpuli, era ndibafuula ng’ettiini ezitaliiko kye zigasa ezitaliika kubanga ziyinze obubi. 1829:18 Yer 24:9; 42:18Era ndibayigganya n’ekitala n’enjala ne kawumpuli, era ndibawaayo okuyuuguumizibwa mu nsi zonna eza bakabaka eziri ku nsi, okuba ekikolimo n’ekyewuunyo n’okusoozebwanga n’ekivume mu mawanga gonna gye nnabagobera: 1929:19 Yer 25:4kubanga tebawulirizza bigambo byange, bw’ayogera Mukama, bye nnatuma abaddu bange bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma; naye ne mutakkiriza kuwulira, bw’ayogera Mukama. 20Kale muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe mwenna ab’omu busibe, be nnasindika e Babulooni okuva e Yerusaalemi.
2129:21 Yer 14:14Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye Katonda wa Isiraeri ebya Akabu mutabani wa Kolaya n’ebya Zeddekiya mutabani wa Maaseya ababalagulira mu linnya lyange eky’obulimba, nti Laba, ndibagabula mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni; era alibatta mmwe nga mulaba; 2229:22 Is 65:15, Yer 24:9, Dan 3:6era ku bo kwe baliggya ekikolimo abasibe bonna aba Yuda abali mu Babulooni nga boogera nti Mukama akufuule nga Zeddekiya era nga Akabu kabaka w’e Babulooni be yayokya omuliro: 2329:23 Yer 23:14, Mal 3:5kubanga bakoze eby’obusirusiru mu Isiraeri, era benze ku bakazi ba bannaabwe, era boogeredde mu linnya lyange ebigambo eby’obulimba bye sibalagiranga; era nze nzuuno amanyi, era nze ndi mujulirwa, bw’ayogera Mukama.
24N’ebya Semaaya Omunekeramu onooyogera 2529:25 2 Bassek 25:18, Yer 21:1; 35:4nti Bw’ati bw’agamba Mukama w’eggye Katonda wa Isiraeri nti Kubanga oweerezza ebbaluwa ng’oyima mu linnya lyo ggwe eri abantu bonna abali mu Yerusaalemi n’eri Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona n’eri bakabona bonna ng’oyogera 2629:26 2 Bassek 11:4,15; 9:11, Yer 20:1,2nti Mukama akufudde kabona mu kifo kya Yekoyaada kabona mubeere abaami mu nnyumba ya Mukama, olwa buli muntu aliko eddalu ne yeefuula nnabbi, omuteeke mu nvuba ne mu masamba. 2729:27 Yer 32:7Kale nno ekikulobedde ki okunenya Yeremiya ow’e Yanasosi eyeefuula nnabbi gye muli, 28kubanga yatutumira e Babulooni ng’ayogera nti Obusibe bwa kulwawo: muzibenga ennyumba, mutuulenga omwo; era musimbenga ensuku, mulyenga emmere yaamu? 29Awo Zeffaniya kabona n’asomera ebbaluwa eno mu matu ga Yeremiya nnabbi. 30Awo ekigambo kya Mukama ne kijja eri Yeremiya nga kyogera 3129:31 Yer 5:31nti Tumira abo bonna abali mu busibe ng’oyogera nti Bw’ati bw’ayogera Mukama ebya Semaaya Omunekeramu nti Kubanga Semaaya abalagudde, so nze simutumanga, era abeesigisizza eky’obulimba; 3229:32 Yer 17:6; 28:16Mukama kyava ayogera bw’ati nti Laba, ndibonereza Semaaya Omunekeramu n’ezzadde lye; taliba na musajja wa kutuula mu bantu bano, so taliraba birungi bye ndikola abantu bange, bw’ayogera Mukama: kubanga ayogedde eby’obujeemu eri Mukama.