
27
1Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyajje atanule okufuga, ekigambo kino ne kijja eri Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti 227:2 Leev 26:13, 1 Bassek 22:11, Yer 28:10Bw’ati Mukama bw’aŋŋamba nti Weekolere ebisiba n’emiti egy’ekikoligo obiteeke mu bulago bwo; 327:3 2 Bassek 24:17, Yer 25:21,22obiweereze kabaka wa Edomu ne kabaka wa Mowaabu ne kabaka w’abaana ba Amoni ne kabaka w’e Ttuulo ne kabaka w’e Sidoni mu mukono gw’ababaka abajja e Yerusaalemi eri Zeddekiya kabaka wa Yuda; 4obalagire ebigambo eby’okutwalira bakama baabwe nti Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye Katonda wa Isiraeri nti Bwe muti bwe muligamba bakama bammwe 527:5 Zab 115:15,16, Is 45:12, Yer 21:5, Dan 4:17nti Nze nakola ensi, omuntu n’ensolo ebiri ku nsi, n’obuyinza bwange obungi n’omukono gwange ogugoloddwa; era nze ngiwa gwe nsiima. 627:6 Yer 25:9; 28:14, Ez 30:25Era kaakano mpadde ensi zino zonna mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni omuddu wange; era mmuwadde n’ensolo ez’omu nsiko okumuweerezanga. 727:7 Yer 25:12,14; 52:31, Dan 2:37,38; 5:1,30N’amawanga gonna galimuweereza ye ne mutabani we n’omwana wa mutabani we okutuusa ebiro eby’ensi ye lwe birituuka: kale amawanga mangi ne bakabaka abakulu ne balyoka bamufuula omuddu. 8Awo olulituuka eggwanga n’obwakabaka abatalikkiriza kuweerezanga Nebukadduneeza oyo kabaka w’e Babulooni, era abatalikkiriza kuteeka nsingo yaabwe wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni, eggwanga eryo ndiribonereza, bw’ayogera Mukama, n’ekitala n’enjala ne kawumpuli okutuusa lwe ndimala okubazikiriza n’omukono gwe. 927:9 Mat 18:10, Is 2:6, Yer 14:14; 29:8Naye mmwe temuwuliranga bannabbi bammwe newakubadde abafumu bammwe newakubadde ebirooto byammwe newakubadde abalogo bammwe newakubadde abasamize bammwe ababagamba nti Temuliweereza kabaka w’e Babulooni: 10kubanga babalagula kya bulimba okubatwala ewala n’ensi yammwe; era ndyoke mbagobemu ne muzikirira. 11Naye eggwanga eririteeka ensingo yaabwe wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni ne limuweereza, eggwanga eryo ndirireka libeere mu nsi yaabwe bo, bw’ayogera Mukama; era baligirima ne batuula omwo.
1227:12 Yer 38:17Awo ne ŋŋamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ng’ebigambo ebyo byonna bwe byali nga njogera nti Muteeke ensingo zammwe wansi w’ekikoligo kya kabaka w’e Babulooni, mumuweereze ye n’abantu be mubeere abalamu. 1327:13 Ez 18:31Mwagalira ki okufa, ggwe n’abantu bo, n’ekitala n’enjala ne kawumpuli, nga Mukama bw’ayogedde eby’eggwanga eritalikkiriza kuweereza kabaka w’e Babulooni? 14So temuwuliranga bigambo bya bannabbi aboogera nammwe nti Temuliweereza kabaka w’e Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba. 15Kubanga sibatumanga, bw’ayogera Mukama, naye balagulira mu linnya lyange obulimba; ndyoke mbagobemu ne muzikirira, mmwe ne bannabbi ababalagula. 1627:16 2 Bassek 24:13Era ne ŋŋamba ne bakabona n’abantu bano bonna nti Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Temuwuliranga bigambo bya bannabbi bammwe ababalagula nga boogera nti Laba, ebintu eby’omu nnyumba ya Mukama binaatera okukomezebwawo nate okuva mu Babulooni: kubanga babalagula kya bulimba. 1727:17 Yer 7:34Temubawuliranga; muweereze kabaka w’e Babulooni, mubeere abalamu: ekibuga kino kiki ekinaaba kikifuusa amatongo? 1827:18 Is 59:16, Dan 1:2Naye oba nga bannabbi, n’ekigambo kya Mukama oba nga kiri nabo, beegayirire nno Mukama w’eggye ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi bireme okugenda e Babulooni. 1927:19 2 Bassek 25:13Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye eby’empagi n’eby’ennyanja n’eby’entebe n’eby’ebintu bifisseewo ebisigadde mu kibuga kino, 2027:20 2 Bassek 24:14,15, Yer 24:1-10Nebukadduleeza kabaka w’e Babulooni by’ataatwala bwe yatwala nga musibe Yekoniya mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’amuggya e Yerusaalemi n’amutwala e Babulooni n’abakungu bonna aba Yuda ne Yerusaalemi; 21weewaawo, bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, Katonda wa Isiraeri, eby’ebintu ebisigadde mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka wa Yuda ne mu Yerusaalemi: 2227:22 Ezer 1:7,8, Yer 29:10; 52:17,20,21nti Biritwalibwa e Babulooni, era biribeera eyo okutuusa ku lunaku lwe ndibajjira, bw’ayogera Mukama; kale ne ndyoka mbaggyayo ne mbikomyawo mu kifo kino.