
21
121:1 2 Bassek 25:18, Yer 29:25; 37:3Ekigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona ng’ayogera 221:2 2 Bassek 25:1, Zab 105:2,5nti Nkwegayiridde, tubuulize eri Mukama; kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atutabaala: mpozzi Mukama anaatukola ng’ebikolwa bye byonna eby’ekitalo bwe biri, atuveeko.
3Awo Yeremiya n’abagamba nti Bwe muti bwe muba mugamba Zeddekiya 421:4 Yer 32:5; 37:10nti Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndizza ennyuma ebyokulwanyisa ebiri mu mikono gyammwe bye mulwanyisa ne kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazingiza, abali ebweru wa bbugwe, era ndibakuŋŋaanyiza wakati mu kibuga kino. 521:5 Kuv 6:6, Ma 4:34; 29:28, Yer 27:5; 32:37Nange mwene ndirwana nammwe n’engalo ezigoloddwa n’omukono ogw’amaanyi, nga ndiko obusungu n’ekiruyi n’obukambwe obungi. 6Era nditta abali mu kibuga kino, abantu era n’ensolo: balifa kawumpuli mungi. 721:7 Ma 28:50, Yer 37:17; 39:5; 52:9, Ez 5:11Awo oluvannyuma, bw’ayogera Mukama, ndigabula Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abaddu be n’abantu, abo kawumpuli n’ekitala n’enjala be byafissaawo mu kibuga muno, mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni ne mu mukono gw’abalabe baabwe ne mu mukono gw’abo abanoonya obulamu bwabwe: era alibatta n’obwogi bw’ekitala; talibasonyiwa so talibakwatirwa kisa so talisaasira. 821:8 Ma 30:15,19, Yer 38:2Era ogambanga abantu bano nti Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Laba, nteeka mu maaso gammwe ekkubo ery’obulamu n’ekkubo ery’okufa. 921:9 Yer 15:2; 38:17; 39:18; 45:5Abeera mu kibuga muno alifa n’ekitala n’enjala ne kawumpuli: naye oyo avaamu n’asenga Abakaludaaya abaabazingiza ye aliba omulamu, n’obulamu bwe buliba munyago gy’ali. 1021:10 Zab 34:16, Yer 44:11, Ez 14:8, Am 9:4Kubanga ntadde amaaso gange ku kibuga kino okukireetako obubi so si bulungi, bw’ayogera Mukama: kirigabulwa mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni, naye alikyokya omuliro.
11N’eby’ennyumba ya kabaka wa Yuda, muwulire ekigambo kya Mukama: 1221:12 Yer 4:4; 22:3,16, Zek 7:9, Yer 5:19Mmwe ennyumba ya Dawudi, bw’ati bw’ayogera Mukama nti Mutuukirizenga emisango enkya, era muggyenga omunyago mu mukono gw’omujoozi, ekiruyi kyange kireme okutambula ng’omuliro ne kyokya ne wataba ayinza okukizikiza, olw’obubi obw’ebikolwa byammwe. 1321:13 Yer 49:4, Ez 13:8Laba, ndi mulabe wo, ai ggwe abeera mu kiwonvu n’awali olwazi olw’omu lusenyi, bw’ayogera Mukama; mmwe aboogera nti Ani aliserengeta okututabaala? oba ani aliyingira mu nnyumba zaffe? 1421:14 Nge 1:31, Ez 20:47era ndibabonereza ng’ebibala bwe biri eby’ebikolwa byammwe, bw’ayogera Mukama: era ndikumira omuliro mu kibira kyakyo, era gulyokya byonna ebikyetoolodde.