
17
117:1 Kuv 27:2, Yob 19:24, Nge 3:3; 7:3, 2 Kol 3:3Ekibi kya Yuda kyawandiikibwa n’ekkalaamu ey’ekyuma n’ejjinja erya alimasi essongovu: kyayolebwa ku kipande eky’omutima gwabwe, ne ku mayembe g’ebyoto byammwe; 217:2 Ma 16:21, Yer 2:20abaana baabwe nga bwe bajjukira ebyoto byabwe ne Baasera baabwe awali emiti egimera ku nsozi empanvu. 317:3 Is 2:3Ai olusozi lwange oluli mu nnimiro, ndigabula ebintu byo n’obugagga bwo bwonna okuba omunyago, n’ebifo byo ebigulumivu olw’okwonoona, mu nsalo zo zonna. 417:4 Ma 32:22, Yer 15:14Naawe olivaamu ku bubwo wekka mu busika bwo bwe nnakuwa; era ndikuweerezesa abalabe bo mu nsi gy’otomanyi: kubanga mukumye omuliro mu busungu bwange obunaabuubuukanga emirembe gyonna.
517:5 2 Byom 32:8, Zab 146:3Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Akolimiddwa omusajja oyo eyeesiga abantu, n’afuula omubiri okuba omukono gwe, n’omutima gwe guva ku Mukama. 617:6 Ma 29:23, Yob 20:17; 39:6, Yer 29:32; 48:6Kubanga alifaanana omwoloola oguli mu ddungu, so taliraba ebirungi bwe birijja; naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey’omunnyo so eteriimu bantu. 717:7 Zab 2:12; 34:8; 71:5Alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama lye ssuubi lye. 817:8 Zab 1:3Kubanga aliba ng’omuti ogwasimbibwa awali amazzi, ne gulanda emmizi gyagwo awali omugga, so tegulitya musana bwe gwaka ennyo, naye amalagala gaagwo galiyera; so tegulyeraliikiririra mu mwaka ogw’ekyeya, so tegulirekayo kubala bibala. 9Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumanya? 1017:10 1 Byom 28:9, Yob 34:11, Yer 11:20; 32:19, Bar 8:27Nze Mukama nkebera omutima, nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali, ng’ebibala bwe biri eby’ebikolwa bye. 1117:11 Zab 39:6; 55:23, Luk 12:20Ng’enkwale bw’ekuŋŋaanya obwana bw’etezaalanga, bw’atyo bw’abeera oyo afuna obugagga so si lwa mazima; ennaku ze nga zikyali za kitundu bulimuvaako, ne ku nkomerero ye aliba musirusiru.
12Ekifo eky’awatukuvu waffe ye ntebe ey’ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye. 1317:13 Yos 24:20, Is 1:28, Yer 1:16; 2:13; 14:8, Luk 10:20, Yok 4:10,14Ai Mukama, essuubi lya Isiraeri, bonna abakuvaako balikwatibwa ensonyi; abansenguka baliwandiikibwa ku ttaka, kubanga bavudde ku Mukama, oluzzi olw’amazzi amalamu. 1417:14 Ma 10:21, Zab 6:2Mponya, ai Mukama, kale lwe nnaawona; ndokola, kale lwe nnaalokoka: kubanga ggwe oli ttendo lyange. 1517:15 Is 5:19, 2 Peet 3:4Laba, baŋŋamba nti Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa? kijje nno. 1617:16 Zab 40:9; 139:4Nze ku bwange seeyuna obutaba musumba ennyuma wo; so seegombanga olunaku olw’okulabiramu ennaku; ggwe omanyi: ekyava mu mimwa gyange kyabanga mu maaso go. 1717:17 Yer 16:19Tobeera ntiisa gye ndi: ggwe oli buddukiro bwange ku lunaku olw’okulabiramu obubi. 1817:18 Zab 35:4,8, Zab 146:3Bakwatibwe ensonyi abo abanjigganya, naye nze nneme okukwatibwa ensonyi; bo bakeŋŋentererwe, naye nze nneme okukeŋŋentererwa; baleeteko olunaku olw’okulabiramu obubi, obazikirize okuzikirira okw’emirundi ebiri.
19Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti Genda oyimirire mu mulyango ogw’abaana b’abantu, bakabaka ba Yuda mwe bayingirira era mwe bafulumira ne mu miryango gyonna egy’e Yerusaalemi; 20obagambe nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bakabaka ba Yuda, ne Yuda yenna ne bonna abali mu Yerusaalemi, abayingirira mu miryango gino: 2117:21 Nek 13:15-19bw’ati bw’ayogera Mukama nti Mwekuume muleme okusituliranga ku lunaku lwa ssabbiiti omugugu gwonna, so temuguyingirizanga mu miryango egy’e Yerusaalemi; 2217:22 Kuv 31:13, Kubal 15:32-36, Is 56:2; 58:13, Ez 20:12so temuggyanga mugugu mu nnyumba zammwe ku lunaku olwa ssabbiiti, so temukolanga mulimu gwonna: naye mutukuzanga olunaku olwa ssabbiiti nga bwe nnalagira bajjajjammwe; 2317:23 Yer 5:3; 7:24,26naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe baleme okuwulira era baleme okukkiriza okuyigirizibwa. 24Awo olulituuka, bwe munaanyiikiranga okumpulira, bw’ayogera Mukama, obutaleetanga mugugu gwonna okuguyisa mu miryango gy’ekibuga kino ku lunaku olwa ssabbiiti, naye bwe munaatukuzanga olunaku olwa ssabbiiti obutalukolerangako mulimu gwonna; 2517:25 Yer 22:4kale mu miryango gy’ekibuga kino munaayingirangamu bakabaka n’abalangira abatudde ku ntebe ya Dawudi, nga bali ku magaali era nga beebagadde embalaasi, bo n’abakungu baabwe, abasajja ba Yuda n’abaliba mu Yerusaalemi: n’ekibuga kino kinaabanga kya lubeerera. 2617:26 Lub 13:1, Leev 7:37, Zab 107:22; 116:17, Yer 33:13, Zek 7:7Era balijja nga bavudde mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi ne mu nsi ya Benyamini ne mu nsi ey’ensenyi ne ku nsozi ne mu bukiika obwa ddyo, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka n’ebitone n’omugavu, era nga baleeta ssaddaaka ez’okwebaza mu nnyumba ya Mukama. 2717:27 2 Bassek 25:9, Yer 7:20, Kung 4:11Naye bwe mutampulirenga okutukuza olunaku olwa ssabbiiti, obutatwalanga mugugu ne wakubadde okuyingiriranga mu miryango gy’e Yerusaalemi ku lunaku olwa sabbiiti; kale ndikumira omuliro mu miryango gyakyo, era gulyokya amayumba ag’e Yerusaalemi, so tegulizikizibwa.