
16
1Era ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera 2nti Towasanga mukazi, so tozaalira baana ba bulenzi newakubadde ab’obuwala mu kifo kino. 3Kubanga Mukama bw’ayogera bw’ati eby’abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala abazaalirwa mu kifo kino n’ebya bannyaabwe ababazaala n’ebya bakitaabwe ababazaalira mu nsi muno, 416:4 Yer 7:33; 14:12; 15:2; 25:33nti Balifa bubi; tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; baliba ng’obusa ku maaso g’ettaka: era balimalibwawo n’ekitala n’enjala; n’emirambo gyabwe giriba mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga era ya nsolo ez’omu nsi. 516:5 Ez 24:16-23Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti Toyingira mu nnyumba mwe bakungubagira, so togenda kukuba biwoobe, so tobakaabira: kubanga nziye emirembe gyange ku bantu bano, bw’ayogera Mukama, mbaggyeeko ekisa n’okusaasira okulungi. 616:6 Leev 19:28, Yob 1:20Abakulu era n’abato balifiira mu nsi eno: tebaliziikibwa so n’abantu tebalibakungubagira, so tebalyesala, so tebalibeemwerera: 716:7 Ma 26:14, Kos 9:4so abantu tebalibabegera mmere nga babakaabira, okubakubagiza olw’abafu; so abantu tebalibawa kikompe kya kusanyusa okunywa olwa kitaabwe oba olwa nnyaabwe. 8So toliyingira mu nnyumba mwe baliira embaga, okutuula nabo, okulya n’okunywa. 916:9 Yer 7:34Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndikomya mu kifo kino mu maaso gammwe nammwe nga mukyali balamu, eddoboozi ery’ebinyumu n’eddoboozi ery’okusanyuka, eddoboozi eryawasa omugole n’eddoboozi ly’omugole. 1016:10 Yer 5:19; 13:10Awo olulituuka bw’olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonna, bo ne bakugamba nti Kiki ekyogezezza Mukama obubi buno bwonna obunene eri ffe? oba atulanga ki? oba kyonoono ki kye twonoonye Mukama Katonda waffe? 1116:11 2 Bassek 22:17kale n’olyoka obagamba nti Kubanga bajjajjammwe banvaako, bw’ayogera Mukama, ne batambula okugoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza ne bava ku nze, so tebaakwata mateeka gange; 1216:12 Yer 3:17; 7:26nammwe mwakola bubi okusinga bajjajjammwe; kubanga, laba, mutambula buli muntu ng’obukakanyavu bw’omutima gwe omubi bwe buli n’okuwulira ne mutampulira: 1316:13 Ma 4:26-28; 28:36,64,65, Yer 15:14kyendiva mbagoba mu nsi eno okugenda mu nsi gye mutamanyanga, mmwe newakubadde bajjajjammwe; era munaaweererezanga eyo bakatonda abalala emisana n’ekiro; kubanga siribalaga kisa n’akatono.
1416:14 Yer 23:7,8Kale, laba, ennaku zijja, bw’ayogera Mukama, lwe batakyayogera nti Nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y’e Misiri; 1516:15 Is 43:5,6, Yer 30:3naye nti Nga Mukama bw’ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey’obukiika obwa kkono ne mu matwale gonna gye yali abagobedde: era ndibakomyawo mu nsi y’ewaabwe gye nnawa bajjajjaabwe. 1616:16 Am 4:2, Kaab 1:15Laba, nditumya abavubi bangi, bw’ayogera Mukama, era balibavuba; oluvannyuma nditumya abayizzi bangi, era balibayigga okubaggya ku buli lusozi ne ku buli kasozi, ne mu bunnya obw’omu mayinja. 1716:17 Yob 34:21, Zab 51:9; 90:8, Yer 32:19Kubanga amaaso gange gatunuulira amakubo gaabwe gonna: tegakisibwa bwenyi bwange, so n’obutali butuukirivu bwabwe tebukwekebwa maaso gange. 1816:18 Is 40:2, Ez 43:7-9Era okusooka ndisasula obutali butuukirivu bwabwe n’ekibi kyabwe emirundi ebiri; kubanga bayonoona ensi yange n’emirambo egy’ebintu byabwe eby’ebivve, era bajjuzizza obusika bwange emizizo gyabwe. 1916:19 2 Sam 22:33, Zab 65:2, Is 25:4; 49:6,22,23, Yer 17:17Ai Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, era obuddukiro bwange ku lunaku olw’okulabiramu ennaku, eri ggwe amawanga gye galijja nga bava ku nkomerero z’ensi, era balyogera nti Bajjajjaffe baasikira bulimba bwereere, birerya n’ebigambo ebitaliiko kye bigasa. 2016:20 Yer 2:11, 1 Kol 8:4Omuntu alyekolera bakatonda, era abatali bakatonda? 2116:21 Yer 33:2Kale, laba, ndibamanyisa, omulundi guno gwokka ndibamanyisa omukono gwange n’amaanyi gange; era balimanya ng’erinnya lyange Yakuwa.