
15
115:1 1 Sam 7:9; 12:23, Zab 99:6; 106:23, Yer 15:19, Ez 14:14Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti Musa ne Samwiri newakubadde nga bayimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano: bagobe mu maaso gange, baveewo. 215:2 Yer 14:12, Ez 5:12Awo olulituuka bwe balikugamba nti Tunadda wa nga tuvuddewo? kale n’obagamba nti Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Ab’okuttibwa bagende eri okuttibwa; n’ab’ekitala eri ekitala; n’ab’enjala eri enjala; n’ab’okusibibwa eri okusibibwa. 315:3 Ma 28:26, Leev 26:16-22, Kub 6:8Era ndibateekerawo engeri nnya, bw’ayogera Mukama: ekitala okutta, n’embwa okutaagula, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo ez’omu nsi, okulya n’okuzikiriza. 415:4 Ma 28:25, Yer 24:9Era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’ensi, olwa Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda olw’ekyo kye yakolera mu Yerusaalemi. 515:5 Is 51:19Kubanga ani alikusaasira, ggwe Yerusaalemi? oba ani alikukungubagira? oba ani alikyama okubuuza ebifa gy’oli? 615:6 Ma 32:15, Yer 7:24Oŋŋaanyi, bw’ayogera Mukama, ozze ennyuma, kyenvudde nkugololerako omukono gwange ne nkuzikiriza; nkooye okwejjusa. 715:7 Is 41:16, Yer 5:3, Am 4:6,8-11, Mat 3:12Era n’abawujjira n’ekiwujjo mu miryango egy’ensi: mbaggyeeko abaana, nzikirizza abantu bange; tebaddanga okuva mu makubo gaabwe. 8Bannamwandu baabwe beeyongedde gye ndi okusinga omusenyu ogw’ennyanja: ndeese ku bo ku nnyina w’abalenzi omunyazi mu ttuntu: mmugwesizzaako obubalagaze n’ebitiisa nga tamanyiridde. 915:9 1 Sam 2:5, Am 8:9Eyazaala omusanvu ayongobera; atadde obulamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde: n’abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g’abalabe baabwe, bw’ayogera Mukama.
1015:10 Kuv 22:25, Yer 20:14Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow’empaka eri ensi zonna! siwolanga lwa magoba, so n’abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira. 11Mukama yayogera nti Mazima ndikuwa amaanyi olw’obulungi; mazima ndikwegayiriza omulabe mu biro eby’okulabiramu ennaku ne mu biro eby’okubonyaabonyezebwamu.
1215:12 Yer 1:13Omuntu ayinza okumenya ekyuma, ekyuma ekiva obukiika obwa kkono, n’ekikomo? 1315:13 Zab 44:12, Yer 17:3Ebintu byo n’obugagga bwo ndibiwaayo okuba omunyago awatali muwendo, olw’ebibi byo byonna, mu nsalo zo zonna. 1415:14 Ma 32:22, Yer 9:16; 16:13; 17:4; 22:28Era ndibiyisa wamu n’abalabe bo okugenda mu nsi gy’otomanyi: kubanga omuliro gukutte olw’obusungu bwange ogulibaakirako.
1515:15 Balam 16:28, Zab 69:7Ai Mukama, ggwe omanyi: njijukira onjijire, ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya; tonzigirawo ddala olw’okugumiikiriza kwo: manya nga nvumiddwa okunnanga ggwe. 1615:16 Zab 119:111,162, Yer 14:9, Ez 3:1,3, Kub 10:9,10Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n’ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n’okusanyuka kw’omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda ow’eggye. 1715:17 Zab 102:7, Kung 3:28Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu, so saasanyuka: natuula nzekka olw’omukono gwo; kubanga onjijuzizza okunyiiga. 1815:18 Yob 6:15, Yer 30:15Obulumi bwange bubeerera ki obw’olubeerera, n’ekiwundu kyange kibeerera ki ekitawonyezeka, ekigaana okulogebwa? kazzi oliba gye ndi ng’akagga akalimba, ng’amazzi agaggwaawo?
1915:19 Yer 3:14; 15:1Mukama kyava ayogera bw’ati nti Bw’olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw’olyawula eby’omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng’akamwa kange: balidda gy’oli naye ggwe toddanga gye bali. 2015:20 Yer 1:8,18,19; 20:11Era ndikufuula eri abantu bano bbugwe ow’ekikomo aliko enkomera; era balirwana naawe, naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe okukulokola n’okukuwonya, bw’ayogera Mukama. 2115:21 Is 49:25Era ndikuwonya mu mukono gw’ababi, era ndikununula okukuggya mu mukono gw’ab’entiisa.