
14
1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya ekyayogera ku kyanda bwe kiri.
214:2 Is 3:26, Kung 1:4; 2:8Yuda awuubaala, n’enzigi zaayo ziyongobera, batuula ku ttaka nga bambadde ebiddugala; n’okukaaba kwa Yerusaalemi kulinnye. 314:3 2 Sam 15:30N’abakungu baabwe batuma abaana baabwe abato emugga: batuuka ku binnya, ne batasangamu mazzi; baddayo ensuwa zaabwe nga njereere: ensonyi zibakwata, baswala, babikka ku mitwe gyabwe. 414:4 Yer 3:3Olw’ettaka eryatise, kubanga enkuba tetonnyanga mu nsi, abalimi kyebava bakwatibwa ensonyi, babikka ku mitwe gyabwe. 514:5 Zab 29:9Weewaawo, n’empeewo eri ku ttale ezaala, n’ereka omwana gwayo olw’obutabaawo muddo. 614:6 Yer 2:24N’entulege ziyimirira ku nsozi ez’obweru, ziwejjerawejjera empewo ng’ebibe; amaaso gaazo gaziba olw’obutabaawo bimera.
714:7 Zab 25:11Obutali butuukirivu bwaffe newakubadde nga butulumiriza, kola omulimu olw’erinnya lyo, ai Mukama: kubanga okudda kwaffe ennyuma kungi; twakwonoona. 814:8 Zab 71:5, Yer 17:13; 50:7Ai, ggwe essuubi lya Isiraeri, amulokolera mu biro eby’okulabiramu ennaku, wandibeeredde ki ng’omuyise mu nsi, era ng’omutambuze akyama okukeesa obudde? 914:9 Kuv 29:45, Is 59:1, Dan 9:18Wandibeeredde ki ng’omuntu asamaaliridde, ng’omusajja ow’amaanyi atayinza kulokola? era naye ggwe, ai Mukama, oli wakati muffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka.
1014:10 Kos 8:13; 9:9Bw’ati Mukama bw’agamba abantu bano nti Bwe batyo bwe baayagalanga okuwaba; tebaziyizanga bigere byabwe: Mukama kyava alema okubakkiriza; kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonereza ebibi byabwe. 1114:11 Yer 7:16Awo Mukama n’aŋŋamba nti Tosabira bantu bano baweebwe ebirungi. 1214:12 Is 1:15, Yer 6:20Bwe banaasiibanga, siiwulirenga kukaaba kwabwe; era bwe banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebitone, siibakkirizenga: naye ndibazikiriza n’ekitala n’enjala ne kawumpuli. 1314:13 Yer 4:10; 6:14, 1 Sam 7:9; 12:23, Zab 99:6; 106:23, Yer 15:19, Ez 14:14Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi babagamba nti Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye ndibawa emirembe egy’enkalakkalira mu kifo kino. 1414:14 Yer 5:31; 23:21; 27:9,15, Ez 13:6, Ma 7:15Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti Bannabbi balagulira eby’obulimba mu linnya lyange: saabatuma so saabalagira so saayogera nabo: babalagula okwolesebwa okw’obulimba n’obulaguzi n’ekigambo ekitaliimu n’obukuusa obw’omu mutima gwabwe bo. 1514:15 Yer 23:34Mukama kyava ayogera bw’ati ebya bannabbi abalagulira mu linnya lyange so saabatuma, naye ne boogera nti Ekitala n’enjala tebiriba mu nsi eno: nti Ekitala n’enjala bye birizikiriza bannabbi abo. 1614:16 Zab 79:3N’abantu be balagula balisuulibwa mu nguudo ez’e Yerusaalemi olw’enjala n’ekitala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe newakubadde batabani baabwe newakubadde bawala baabwe. Kubanga ndifuka ku bo obubi bwabwe. 1714:17 Yer 8:21; 10:19; 13:17Era olibagamba ekigambo kino nti Amaaso gange gakulukute amaziga emisana n’ekiro so galeme okulekayo; kubanga omuwala w’abantu bange atamanyi musajja awaguddwamu ekituli kinene, ekiwundu kibi nnyo nnyini. 1814:18 Yer 5:31, Ez 7:15Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n’ekitala! era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw’enjala! kubanga nnabbi era ne kabona batambulira mu nsi so tebalina kumanya.
1914:19 Yer 8:15; 15:18, Kung 5:22Ogaanidde ddala Yuda? emmeeme yo etamiddwa Sayuuni? otufumitidde ki, so tewali ddagala lya kutuwonya? Twasuubiranga emirembe, naye ne wataba birungi ebyajjanga; n’ebiro eby’okuwonyezebwamu, kale, laba, okukeŋŋentererwa! 2014:20 Zab 106:6, Dan 9:5,8Ai Mukama, tuukiriza obubi bwaffe n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: kubanga twakwonoona. 2114:21 Zab 106:45Totutamwa olw’erinnya lyo; tovumisa ntebe ya kitiibwa kyo: jjukira, tomenya ndagaano gye walagaana naffe. 2214:22 Yob 12:9; 38:28, Is 66:2, Yer 19:15, Zek 10:1,2Mu birerya by’ab’amawanga mulimu ebiyinza okutonnyesa enkuba? oba eggulu liyinza okuleeta empandaggirize? si ggwe wuuyo, ai Mukama Katonda waffe? kyetunaavanga tukulindirira ggwe; kubanga ggwe wabikola ebyo byonna.