
13
113:1 Bik 21:11, Ez 15:4,5Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti Genda weegulire olukoba lw’eddiba, weesibe mu kiwato kyo, so tolunnyika mu mazzi. 2Awo ne nneegulira olukoba, ng’ekigambo bwe kyali ekya Mukama, ne ndwesiba mu kiwato kyange. 3Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira omulundi ogw’okubiri nga kyogera 4nti Ddira olukoba lwe wagula oluli mu kiwato kyo, ogolokoke ogende ku Fulaati, olukisize eyo mu bunnya obw’omu lwazi. 5Awo ne ŋŋenda ne ndukwekera ku Fulaati, nga Mukama bwe yandagira. 6Awo olwatuuka ennaku nnyingi nga ziyiseewo Mukama n’aŋŋamba nti Golokoka ogende ku Fulaati oggyeyo olukoba lwe nnakulagira okulukisiza eyo. 7Awo ne ŋŋenda ku Fulaati ne nsima ne nziya olukoba mu kifo mwe nnali ndukisirizza: kale, laba, olukoba nga lwonoonese, nga teruliiko kye lugasa. 8Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti 913:9 Leev 26:19Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndyonoona amalala ga Yuda n’amalala amangi aga Yerusaalemi. 1013:10 Yer 3:17Abantu bano ababi abagaana okuwulira ebigambo byange, abatambulira mu bukakanyavu bw’omutima gwabwe, era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga n’okubasinzanga, balibeerera ddala ng’olukoba luno olutaliiko kye lugasa. 1113:11 Kuv 19:5, Yer 33:9, Zef 3:20Kuba olukoba nga bwe lwegatta n’ekiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nneegassa nange ennyumba yonna eya Isiraeri n’ennyumba yonna eya Yuda, bw’ayogera Mukama; balyoke babeerenga gye ndi eggwanga era erinnya era ettendo era ekitiibwa: naye ne batayagala kuwulira. 12Kyoliva obagamba ekigambo kino nti Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Buli kita kirijjula omwenge: nabo balikugamba nti Tetumanyi nga buli kita kirijjula omwenge? 1313:13 Yer 17:20; 18:18; 22:2, Ez 23:33Awo n’olyoka obagamba nti Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Laba, ndijjuza obutamiivu bonna abali mu nsi eno, bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi, ne bakabona, ne bannabbi, ne bonna abali mu Yerusaalemi. 1413:14 Zab 2:9, Yer 19:10,11Era ndibatandagira omuntu ne munne, bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, bw’ayogera Mukama: sirisaasira so sirisonyiwa so sirikwatibwa kisa, nneme okubazikiriza.
15Muwulire, mutege amatu; temuba na malala: kubanga Mukama ayogedde. 1613:16 Yos 7:19, Is 5:30; 8:22, Yok 11:10Mumuwe Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga tannaleeta kizikiza era ng’ebigere byammwe tebinnaba kwesittalira ku nsozi ez’ekizikiza; era nga bwe musuubira omusana, n’agufuula ekisiikirize eky’okufa n’aguddugaza okuba ekizikiza ekikutte. 1713:17 Yer 9:1,18; 14:17, Kung 1:16Naye bwe mutalikkiriza kuwulira emmeeme yange erikaaba amaziga kyama olw’amalala gammwe; n’amaaso gange galikaaba nnyo amaziga, ne gakulukuta amaziga, kubanga ekisibo kya Mukama kikwatiddwa. 1813:18 2 Bassek 24:12, Yer 22:26, Kung 5:16Gamba kabaka ne nnamasole nti Mwetoowaze mutuule wansi; kubanga ebiremba byammwe bikkakkanye, engule ey’ekitiibwa kyammwe. 1913:19 Yos 6:1Ebibuga eby’obukiika obwa ddyo biggaddwawo, so tewali wa kubiggulawo: Yuda atwaliddwa yenna nga musibe; yenna atwaliddwa ddala nga musibe.
2013:20 Yer 1:13,14; 6:22Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava obukiika obwa kkono: ekisibo kye waweebwa kiri ludda wa, ekisibo kyo ekirungi? 2113:21 Is 13:8Olyogera otya, bw’alikuteekako mikwano gyo okuba omutwe, kubanga ggwe kennyini ggwe wabayigiriza okukukola obubi? obuyinike tebulikukwata ng’omukazi alumwa okuzaala? 2213:22 Yer 5:19, Kung 1:9, Nak 3:5Era bw’onooyogerera mu mutima gwo nti Ebigambo bino binjijiridde lwaki? olw’obutali butuukirivu bwo kubanga bungi, ebirenge byo kyebivudde bibikkulwako, n’ebisinziiro byo bigirirwa ekyejo. 2313:23 Mat 19:26Omuwesiyopya ayinza okuwaanyisa omubiri gwe, oba ngo amabala gaayo? kale nammwe muyinza okukola obulungi abaamanyiira okukola obubi. 2413:24 Zab 83:13Kyendiva mbasaasaanya ng’ebisasiro ebivaawo olw’embuyaga ez’omu ddungu. 2513:25 Yob 20:29, Yer 2:32Kano ke kalulu ko, omugabo gwe nnakugerera, bw’ayogera Mukama; kubanga wanneerabira ne weesiga obulimba. 26Nange kyendiva mbikkula ku birenge byo ku maaso go, n’ensonyi zo zirirabika. 2713:27 Yer 2:20; 5:8, Ez 24:13Nalaba emizizo gyo, obwenzi bwo n’okubebera kwo, obukaba obw’okwenda kwo, ku nsozi ez’omu ttale. Zikusanze, ai Yerusaalemi! toyagala kulongoosebwa; ebyo birituusa wa okubaawo nate?