
12
112:1 Ezer 9:15, Yob 12:6; 21:7-15, Zab 73:3-12; 92:7, Kaab 1:13, Mal 3:15Oli mutuukirivu, ai Mukama, bwe mpoza naawe: naye era nandibadde ne kye nkunnyonnyolayoko: ekkubo ery’ababi lirabira ki omukisa? batereerera ki abo bonna abalimbalimba ennyo? 212:2 Is 29:13Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi; bamera, weewaawo, babala ebibala: oli kumpi mu kamwa kaabwe, oli wala n’emmeeme yaabwe. 312:3 Zab 17:3; 139:1, 2 Peet 2:12Naye ggwe, ai Mukama, ommanyi; ondaba n’okema omutima gwange bwe gufaanana gy’oli: basike ng’endiga ez’okusalibwa, obategekere olunaku olw’okuttirako. 412:4 Zab 107:34, Yer 9:10; 23:10, Kos 4:3, Bar 8:22Ensi erituusa wa okuwuubaala, n’emiddo egy’omu nsi yonna ne giwotoka? olw’obubi bw’abo abagirimu ensolo kyeziva zimalibwawo, n’ennyonyi; kubanga bayogera nti Taliraba nkomerero yaffe ya luvannyuma. 512:5 Yer 49:19, Zek 11:3Oba ng’oddukidde wamu n’abatambula n’ebigere ne bakukooyesa, kale oyinza otya okuwakana n’embalaasi? era newakubadde nga weegolodde mu nsi ey’emirembe, naye olikola otya mu malala; ga Yoludaani? 612:6 Nge 26:25, Yer 9:4; 11:19,21Kubanga era ne baganda bo n’ennyumba ya kitaawo, era nabo bakulimbyelimbye; era nabo balangirizza ennyuma wo: tobakkirizanga ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.
712:7 Yer 11:15Ndese ennyumba yange, nsudde obusika bwange; mpaddeyo oyo emmeeme yange gw’eyagala ennyo nnyini mu mukono gw’abalabe be. 8Obusika bwange bufuuse gye ndi ng’empologoma mu kibira: ayimusizza eddoboozi lye ku nze; kyenvudde mmukyawa. 912:9 Is 56:9, Yer 7:33, Ez 39:17Obusika bwange buli gye ndi ng’ennyonyi eyigga ey’amabala? ennyonyi eziyigga zimulumbye enjuyi zonna? mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez’omu nsiko, muzireete zirye. 1012:10 Is 63:18, Yer 2:8; 6:3Abasumba bangi boonoonye olusuku lwange olw’emizabbibu, balinnyiridde omugabo gwange n’ebigere, omugabo gwange ogusanyusa bagufudde ddungu omutali muntu. 1112:11 Is 42:25Bagufudde matongo; guwuubaala gye ndi nga gulekeddwayo; ensi yonna efuuse matongo, kubanga tewali muntu agissaako mwoyo. 12Abanyazi batuuse ku nsozi zonna ez’obweru mu ddungu: kubanga ekitala kya Mukama kirya okuva ku nkomerero y’ensi okutuuka ku nkomerero y’ensi: tewali kintu ekirina omubiri ekirina emirembe. 1312:13 Ma 28:38, Is 55:2, Yer 4:8,26, Kung 1:12, Mi 6:15, Kaab 2:13Basiga eŋŋaano, bakungudde amaggwa; beerumya bo bennyini, so tebaliiko kye bagasizza: era mulikwatibwa ensonyi olw’ebibala byammwe olw’ekiruyi kya Mukama.
1412:14 Zab 137:7, Ez 25:1-17Bw’ati bw’ayogera Mukama eri baliraanwa bange bonna ababi abakoma ku busika bwe nnasisa abantu bange Isiraeri nti Laba, ndibasimbula mu nsi yaabwe, era ndisimbula ennyumba ya Yuda wakati mu bo. 1512:15 Yer 48:47; 49:6Awo olulituuka bwe ndiba nga mmaze okubasimbula, ndikomawo ne mbakwatirwa ekisa; era ndibakomyawo buli muntu mu busika bwe na buli muntu mu nsi y’ewaabwe. 1612:16 Yer 4:2, 1 Peet 2:5Awo olulituuka bwe balinyiikira okuyiga amakubo g’abantu bange, okulayira erinnya lyange nti Nga Mukama bw’ali omulamu; era nga bwe baayigirizanga abantu bange okulayira Baali; kale balizimbibwa wakati mu bantu bange. 1712:17 Is 60:12Naye bwe batalikkiriza kuwulira, awo ndisimbula eggwanga eryo, nga nsimbula era nga ndizikiriza, bw’ayogera Mukama.