
18
118:1 Yos 19:47-48, Balam 1:34; 17:6; 21:25Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri: ne mu nnaku ezo ekika ky’Abadaani beenoonyeza obusika obw’okutuulamu; kubanga okutuusa ku lunaku olwo obusika bwabwe baali nga tebannabuweebwa mu bika bya Isiraeri. 218:2 Kubal; 13:17, Yos 2:1Awo abaana ba Ddaani ne batuma ab’omu kika kyabwe abasajja bataano ku muwendo gwabwe gwonna, abasajja abazira, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, okuketta ensi n’okugikebera; ne babagamba nti Mugende mukebere ensi: ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi, eri ennyumba ya Mikka, ne basula omwo. 3Bwe baali bali eyo ku nnyumba ya Mikka, ne bategeera eddoboozi ly’omuvubuka Omuleevi: ne bakyama okugenda eyo, ne bamugamba nti Ani eyakuleeta wano? era okola ki mu kifo kino? era kiki ky’olina wano? 4N’abagamba nti Bw’atyo ne bw’atyo Mikka bwe yankola, n’ampeera, nange ne nfuuka kabona we. 518:5 Kubal 27:21, Balam 20:18, 1 Sam 14:37; 22:10Ne bamugamba nti Tukwegayirira, buuza Katonda atulagule, tumanye oba ng’olugendo lwaffe lwe tugenda luliba n’omukisa. 618:6 1 Sam 1:17Kabona n’abagamba nti Mugende mirembe: olugendo lwammwe lwe mugenda luli mu maaso ga Mukama.
718:7 Yos 19:47, Balam 18:27,28Awo abasajja abo abataano ne balyoka beegendera, ne batuuka e Layisi, ne balaba abantu abali omwo, nga batuula mirembe, ng’engeri ey’Abasidoni bw’eri, nga basirise nga balina emirembe; kubanga tewaali muntu mu nsi nannyini buyinza eyandiyinzizza okubaswaza mu kigambo kyonna, era baabali wala Abasidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna. 8Ne batuuka eri baganda baabwe e Zola ne Esutaoli: baganda baabwe ne babagamba nti Mwogera mutya? 918:9 Kubal 14:7, Yos 2:23,24; 18:3, 1 Bassek 22:3Ne boogera nti Mugolokoke twambuke okulwana nabo: kubanga tumaze okulaba ensi, era, laba, nnungi nnyo: nammwe musirise? temugayaala kugenda n’okuyingira okulya ensi. 10Bwe muligenda, mulisanga abantu abatamanyiridde, era ensi ngazi: kubanga Katonda agibawadde mu mukono gwammwe; ekifo ekitabulwamu kintu ekiri mu nsi.
11Ne wavaayo okugenda ab’omu kika ky’Abadaani, abaava mu Zola ne mu Esutaoli, abasajja lukaaga abeesiba ebyokulwanyisa. 1218:12 Yos 15:60, Balam 13:25Ne bambuka, ne basiisira mu Kiriyasuyalimu mu Yuda: kyebava bayita ekifo ekyo Makanedani okutuusa leero: laba, kiri nnyuma w’e Kiriyasuyalimu. 1318:13 Balam 18:2Ne bavaayo ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi, ne bajja ne batuuka ku nnyumba ya Mikka. 1418:14 Balam 17:4,5Awo abasajja bataano abaagenda okuketta ensi ey’e Layisi ne baddamu ne bagamba baganda baabwe nti Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu ekkanzu, ne baterafi, n’ekifaananyi ekyole, n’ekifaananyi ekisaanuuse? kale nno mulowooze ekibagwanira okukola. 15Ne bakyamira eyo, ne bajja ne batuuka ku nnyumba y’omuvubuka Omuleevi, ye nnyumba ya Mikka, ne bamubuuza bw’ali. 16N’abasajja bali olukumi abeesiba ebyokulwanyisa ab’oku baana ba Ddaani baali bayimiridde ku mulyango gwa wankaaki. 17N’abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ne bambuka ne bayingira omwo, ne batwala ekifaananyi ekyole, n’ekkanzu, ne baterafi, n’ekifaananyi ekisaanuuse: ne kabona yali ayimiridde ku mulyango gwa wankaaki wamu n’abasajja bali olukaaga abeesiba ebyokulwanyisa. 1818:17,18 Balam 18:2,14Awo abo bwe baayingira mu nnyumba ya Mikka ne baggyamu ekifaananyi ekyole n’ekkanzu ne baterafi n’ekifaananyi ekisaanuuse, kabona n’abagamba nti Mukola ki? 1918:19 Balam 17:10Ne bamugamba nti Sirika, engalo zo oziteeke ku kamwa ko ogende naffe, obeere gye tuli kitaffe era kabona: kisinga obulungi ggwe okubeera kabona eri ennyumba y’omuntu omu, oba okuba kabona eri ekika n’ennyumba mu Isiraeri? 20Omutima gwa kabona ne gusanyuka, n’atwala ekkanzu ne baterafi n’ekifaananyi ekyole, n’agenda wakati mu bantu. 21Awo ne bakyuka ne beegendera, ne bakulembeza abaana abato n’ensolo n’ebintu. 22Bwe baali balese ennyuma walako ennyumba ya Mikka, abasajja abaali mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana, ne batuuka ku baana ba Ddaani. 23Ne bakoowoola abaana ba Ddaani. Ne bakyusa amaaso gaabwe ne bagamba Mikka nti Obadde otya okujja n’ekibiina ekyenkanidde wano? 2418:24 Lub 31:30N’ayogera nti Munziyeeko bakatonda bange be nnakola ne kabona ne mwegendera, nange nnina ki nate? kale mumbuuza mutya nti Obadde otya? 25Abaana ba Ddaani ne bamugamba nti Eddoboozi lyo lireme okuwulirwa mu ffe, abasajja ab’obusungu baleme okubagwako, naawe n’ofa n’ab’omu nnyumba yo. 26Abaana ba Ddaani ne beetambulira: awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi n’akyuka n’addayo mu nnyumba ye. 2718:27 Yos 19:47, Balam 18:10Ne batwala ebyo Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi, eri abantu abaali basirise abatamanyiridde, ne babatta n’obwogi bw’ekitala; ekibuga ne bakyokya omuliro. 2818:28 Balam 18:7, 2 Sam 10:6So tewaabaawo mulokozi, kubanga kyali wala n’e Sidoni, so tebassanga kimu na muntu yenna: era kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu. Ne bazimba ekibuga ne batuula omwo. 2918:29 Lub 30:5,6, Balam 20:1, 1 Bassek 12:29,30Ne batuuma ekibuga erinnya lyakyo Ddaani, ng’erinnya lya Ddaani jjajjaabwe bwe lyali eyazaalirwa Isiraeri: naye erinnya ly’ekibuga lyali Layisi olubereberye. 3018:30 Kuv 2:22; 18:3, Balam 17:12, 2 Bassek 15:29Awo abaana ba Ddaani ne beesimbira ekifaananyi kiri ekyole: ne Yonasaani, mutabani wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye ne batabani be be baali bakabona eri ekika ky’Abadaani okutuusa ku lunaku ensi lwe yanyagirwako. 3118:31 Yos 18:1, Balam 21:19, 1 Sam 1:3, Zab 78:60, Yer 7:12Awo ne beesimbira ekifaananyi kya Mikka ekyole kye yakola, ennaku zonna ennyumba ya Katonda ng’ekyali mu Siiro.