
8
18:1 Kaab 2:2Mukama n’aŋŋamba nti Weetwalire ekipande ekinene, okiwandiikeko n’ekkalaamu ey’omuntu nti Kya Makeru-salalukasu-bazi; 28:2 2 Bassek 16:10nange ndyetwalira abajulirwa abeesigwa okuwandiika, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya. 3Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi; n’aba lubuto, n’azaala omwana wa bulenzi. Mukama n’alyoka aŋŋamba nti Mutuume erinnya Makeru-salalu-kasu-bazi. 48:4 Is 7:16Kubanga omwana nga tannamanya kukaaba nti Kitange, era nti Mmange, obugagga obw’e Ddamasiko n’omunyago ogw’e Samaliya birinyagibwa mu maaso ga kabaka w’e Bwasuli.
5Mukama n’ayogera nange nate omulundi omulala nti 68:6 Yok 9:7Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi ga Sirowa agatambula empola, ne basanyukira Lezini n’omwana wa Lemaliya; 78:7 Is 7:20kale nno, laba, Mukama ayambusa ku bo amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amangi, kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna: era alyambuka okusukkirira ensalosalo ze zonna, era aliyiika ku ttale lye lyonna: 88:8 Is 7:14era alyeyongera n’akulukuta okutuuka mu Yuda; alyanjaala aliyitamu; alikoma ne mu bulago; n’okugololwa kw’ebiwaawaatiro bye kulijjuza ensi yo, ggwe Imanueri, nga bwe yenkana obugazi.
9Muyoogaane, mmwe amawanga, mulimenyekamenyeka; era mutege amatu, mmwe mwenna ab’omu nsi ez’ewala: mwesibe, mulimenyekamenyeka; mwesibe, mulimenyekamenyeka. 10Muteese ebigambo wamu, birizikirizibwa; mwogere ekigambo, tekiriyimirira: kubanga Katonda ali wamu naffe. 11Kubanga Mukama yayogera nange bw’atyo n’omukono ogw’amaanyi, n’anjigiriza nneme okutambulira mu kkubo ly’abantu bano, ng’ayogera nti 128:12 Is 7:2, 1 Peet 3:14Temwogera nti Okwekoba, mu byonna eggwanga lino bye liryogerako nti Okwekoba; so temutya kutya kwabwe, so temutekemuka. 138:13 Kubal 20:12Mukama ow’eggye oyo gwe muba mutukuza; era oyo abeerenga entiisa yammwe, era oyo abeerenga ekitiibwa kyammwe. 148:14 Ez 11:16, Bar 9:33, 1 Peet 2:8Era aliba ng’awatukuvu; naye aliba ng’ejjinja ery’okwesittalwako era olwazi olugwisa eri ennyumba zombi eza isiraeri, okuba omutego era ekyambika eri abo abatuula mu Yerusaalemi. 158:15 Is 28:13, Mat 21:44Era bangi abaliryesittalako, ne bagwa, ne bamenyeka, ne bategebwa, ne bakwasibwa.
168:16 Is 8:1,2Sibira ddala okutegeeza, osse akabonero ku mateeka mu bayigirizwa bange. 178:17 Is 1:15, Kaab 2:3Era ndirindirira Mukama, akweka amaaso ge ennyumba ya Yakobo, ne mmunoonya. 188:18 Leev 19:31, 1 Sam 28:11-14, 2 Bassek 23:24, Is 19:3Laba, nze n’abaana Mukama b’ampadde bya kuba bubonero era bya kuba byewuunyo mu Isiraeri ebiva eri Mukama ow’eggye, atuula ku lusozi Sayuuni.
19Era bwe babagambanga nti Mubuuze abo abaliko emizimu n’abafumu, abalira ng’ennyonyi era abajoboja: eggwanga tekirigwanira kubuuza Katonda waabwe? Ebigambo by’abalamu bandibibuuzizza bafu? 20Tudde eri amateeka n’obujulirwa! oba nga teboogera ng’ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera. 21Era baliyita mu nsi, nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala: awo olunaatuukanga bwe banaalumwanga enjala, banaanyiiganga ne bakolima nga balayira kabaka waabwe ne Katonda waabwe, ne batunuza amaaso gaabwe waggulu: 228:22 Is 5:30, Nak 1:8era banaatunuuliranga ensi, era, laba, nnaku n’ekizikiza, ekizikiza eky’okubonyaabonyezebwa; era baligoberwa mu kizikiza ekikutte.