
7
17:1 2 Bassek 15:37; 16:5Awo olwatuuka ku mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isiraeri, ne bayambuka e Yerusaalemi okukirwanyisa; naye ne bakiremwa. 27:2 Is 8:12Ne babuulira ennyumba ya Dawudi nga boogera nti Obusuuli butabaganye ne Efulayimu. Omutima gwe ne gunyeenyezebwa, n’omutima gw’abantu be, ng’emiti egy’omu kibira bwe ginyeenyezebwa n’empewo.
37:3 2 Bassek 18:17, Is 36:2Mukama n’alyoka agamba Isaaya nti Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne Seyalusayubu omwana wo, olusalosalo olw’ekidiba eky’engulu we lukoma, mu luguudo olw’ennimiro y’omwozi w’engoye; 4omugambe nti Weekuume obeerewo bubeezi; totya, so n’omutima gwo teguzirikanga olw’emimuli gino gyombi eginyooka egiggweeredde, olw’obusungu obukambwe obwa Lezini n’Obusuuli, n’obw’omwana wa Lemaliya. 5Kubanga Obusuuli buteesezza obubi ku ggwe, ne Efulayimu, n’omwana wa Lemaliya, nga boogera nti 6Twambuke tulumbe Yerusaalemi, tukiteganye, twewagulire omwo ekituli, tusseewo kabaka wakati mu kyo, omwana wa Tabeeri: 77:7 Is 8:10bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti Tekirinywera so tekirituukirira. 8Kubanga omutwe gw’Obusuuli ye Ddamasiko n’omutwe gw’e Ddamasiko ye Lezini: era emyaka enkaaga n’etaano nga teginnaggwaawo Efulayimu alimenyekamenyeka obutaba ggwanga: 97:9 2 Byom 20:20n’omutwe gwa Efulayimu ye Samaliya, n’omutwe gw’e Samaliya ye mwana wa Lemaliya. Bwe muligaana okukkiriza, mazima temulinywezebwa.
10Awo Mukama n’agamba nate Akazi nti 11Weesabire Mukama Katonda wo akabonero: kasabe oba mu buziba oba mu bbanga waggulu. 12Naye Akazi n’ayogera nti Siisabe so siikeme Mukama. 13N’ayogera nti Muwulire kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi; kigambo kitono gye muli mmwe okukooya abantu n’okwagala ne mwagala okukooya ne Katonda wange era? 147:14 Is 9:6, Mat 1:23, Luk 1:31,34,35Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, alizaala omwana wa bulenzi, era alituumwa erinnya lye Imanueri. 15Omuzigo n’omubisi gw’enjuki alibirya, bw’amanya okugaana ebibi, n’okweroboza ebirungi. 167:16 Is 6:12; 8:4Kubanga omwana nga tannamanya kugaana bibi n’okweroboza ebirungi, ensi gy’okyawaamu bakabaka baayo bombi erirekebwa. 177:17 1 Bassek 12:16, 2 Byom 28:20, Nek 9:32, Is 8:7,8Mukama alikuleetako ne ku bantu bo, ne ku nnyumba ya kitaawo, ennaku ezitajjanga, okuva ku lunaku Efulayimu lwe yaviiramu mu Yuda; kabaka w’e Bwasuli. 18Awo olulituuka ku lunaku luli Mukama alikoowoola ensowera eri mu bifo eby’ewala eby’emigga egy’e Misiri, n’enjuki eri mu nsi y’e Bwasuli. 19Era birijja, era biriwummulira byonna mu biwonvu ebyazika, ne mu bunnya obw’omu mayinja, ne ku maggwa gonna, ne ku malundiro gonna. 207:20 2 Bassek 18:13-16, Is 8:7Ku lunaku luli Mukama alimwesa akamwano akagule akali mu bifo eby’emitala w’omugga, ye Kabaka w’e Bwasuli, omutwe n’obwoya obw’oku bigere: era kalimalawo n’ekirevu. 21Awo olulituuka ku lunaku luli omusajja aliriisa ente eyonsa ento n’endiga bbiri; 22awo olulituuka olw’amata amangi ge zirigabiza anaalyanga omuzigo: kubanga buli muntu anaalyanga omuzigo n’omubisi gw’enjuki aliba asigadde wakati mu nsi.
237:23 Is 5:6Awo olulituuka ku lunaku luli, buli kifo awaabanga emizabbibu olukumi, buli gumu gwa sekeri lukumi, kiriba kya myeramannyo n’amaggwa. 24Balijjayo nga balina obusaale n’omutego; kubanga ensi yonna eriba myeramannyo, n’amaggwa. 257:25 Is 32:13,14N’ensozi zonna ze baalimanga n’enkumbi, tolituukayo olw’okutya emyeramannyo n’amaggwa, naye waliba wa kusindikayo nte, n’okulinnyirirwa endiga.