
65
165:1 Zek 14:16, Bar 10:20,21, Bef 2:12,13Mbuuzibwako abo abatambuuzangako; ndabiddwa abo abatannoonyanga: nagamba nti Ndaba, ndaba, eri eggwanga eritatuumibwanga linnya lyange. 2Ngololedde emikono gyange okuzibya obudde abantu abajeemu abatambulira mu kkubo eritali ddungi, okugoberera ebirowoozo byabwe bo; 365:3 Is 1:29; 57:3-6; 66:17abantu abansunguwaza mu maaso gange olutata, nga basalira ssaddaaka mu nsuku, era nga bootereza obubaane ku matoffaali; 4abatuula mu malaalo, abasula mu bifo eby’ekyama; abalya ennyama y’embizzi n’amazzi ag’emizizo gali mu bibya byabwe; 565:5 Is 9:18aboogera nti Yimirira wekka, tonsemberera nze kubanga nze nkusinga obutukuvu: abo gwe mukka mu nnyindo yange, omuliro ogwaka okuzibya obudde. 665:6 Zab 50:3; 79:12, Yer 17:1Laba, kiwandiikiddwa mu maaso gange: sirisirika, naye ndisasula, weewaawo, ndisasula mu kifuba kyabwe 765:7 Kuv 20:5, Ez 20:27,28obutali butuukirivu bwammwe mmwe n’obutali butuukirivu bwa bajjajjammwe wamu, bw’ayogera Mukama, abaayoterezanga obubaane ku nsozi ne banzivoolera ku busozi: kyendiva nsooka okugera omulimu gwabwe mu kifuba kyabwe.
865:8 Is 17:6Bw’ati bw’ayogera Mukama nti Ng’omwenge omusu bwe gulabikira mu kirimba, ne wabaawo ayogera nti Tokizikiriza kubanga mulimu omukisa: bwe ntyo bwe ndikola ku lw’abaddu bange nneme okubazikiriza bonna. 965:9 Is 27:6Era ndiggya ezzadde mu Yakobo ne mu Yuda ndiggyamu alisikira ensozi zange: n’abalonde bange baligisikira n’abaddu bange balituula omwo. 1065:10 Yos 7:26; 24:20, Is 33:9; 35:2; 51:1, Kos 2:15Awo Saloni kiriba kisibo kya ndiga, n’ekiwonvu kya Akoli kiriba kifo ente we zigalamira, olw’abantu bange abannoonyezza. 1165:11 Yos 24:20, Ez 23:41, 1 Kol 10:21Naye mmwe abaleka Mukama, abeerabira olusozi lwange olutukuvu, abategekera Mukisa emmeeza, abajjuliza Kuteekawo omwenge omutabule; 1265:12 Is 66:4, Yer 7:13nze ndibateekerawo ekitala, nammwe mwenna mulikutama okuttibwa: kubanga bwe nnayita temwayitaba; bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira.
1365:13 Zab 22:26Kyava ayogera bw’ati Mukama Katonda nti Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala: laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta: laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala: 1465:14 Zab 5:11laba, abaddu bange baliyimba omutima gwabwe nga gusanyuse, naye mmwe mulikaaba omutima gwammwe nga gunakuwadde ne muwowoggana omwoyo gwammwe nga gulumiddwa. 1565:15 Zek 8:13Era mulirekera abalonde bange erinnya lyammwe okuba ekikolimo, era Mukama Katonda alikutta; n’atuuma abaddu be erinnya eddala: 1665:16 Ma 32:4, Is 43:18, Yer 4:2eyeesabira omukisa mu nsi kyanaavanga yeesabira omukisa eri Katonda ow’amazima; n’oyo alayira mu nsi anaalayiranga Katonda ow’amazima; kubanga obuyinike obwasooka bwerabiddwa, era kubanga bukwekeddwa amaaso gange. 1765:17 2 Peet 3:13, Kub 21:1Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n’ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo. 1865:18 Is 51:3, Yer 31:7Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda: kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n’abantu baamu okuba essanyu. 1965:19 Is 35:10; 62:5Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange: so n’eddoboozi ery’okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery’okulira. 2065:20 Mub 8:12,13Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze: kubanga omwana alifa nga yaakamaze emyaka kikumi, n’alina ebibi nga yaakamaze emyaka kikumi alikolimirwa. 2165:21 Ez 28:26Era balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez’emizabbibu ne balya ebibala byamu. 2265:22 Zab 92:12-14Tebalizimba omulala n’asulamu; tebalisimba omulala n’alya: kubanga ng’ennaku ez’omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez’abantu bange, n’abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw’engalo zaabwe. 2365:23 Ma 28:41, Zab 115:12-15, Is 49:4Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly’abo abaweebwa Mukama omukisa, n’enda yaabwe wamu nabo. 2465:24 Dan 9:21Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira. 2565:25 Lub 3:14, Is 11:6,7,9Omusege n’omwana gw’endiga binaaliiranga wamu, n’empologoma eneeryanga omuddo ng’ente: n’enfuufu ye eneebanga emmere ey’omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw’ayogera Mukama.