
62
162:1 Nge 4:18Ku lwa Sayuuni kyendiva nnema okusirika ne ku lwa Yerusaalemi kyendiva nnema okuwummula, okutuusa obutuukirivu bwe lwe bulifuluma ng’okumasamasa, n’obulokozi bwe ng’ettabaaza eyaka. 262:2 Zab 98:2, Kub 2:17; 3:12Kale amawanga galiraba obutuukirivu bwo, ne bakabaka bonna ekitiibwa kyo: awo olituumibwa erinnya eriggya akamwa ka Mukama lye kalituuma. 362:3 Zek 9:16Era oliba ngule ya bulungi mu mukono gwa Mukama, n’enkuufiira ey’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo. 462:4 Is 54:6-7, Mal 3:12, 1 Peet 2:10Toliyitibwa nate lwa kubiri nti Alekeddwa; so n’ensi yo teriyitibwa nate nti Eyazika: naye oliyitibwa nti Gwe nsanyukira, n’ensi yo eriyitibwa nti Eyafumbirwa: kubanga Mukama akusanyukira, n’ensi yo erifumbirwa. 562:5 Is 65:19Kuba omulenzi nga bw’awasa omuwala, bwe batyo batabani bo bwe balikuwasa: era ng’awasa omugole bw’asanyukira omugole, bw’atyo Katonda wo bw’alikusanyukira.
662:6 Is 52:8Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi; tebalisirika n’akatono emisana n’ekiro: mmwe abajjukiza ba Mukama, temuwummulanga, 762:7 Is 60:18, Zef 3:20so temumuganyanga kuwummula, okutuusa lw’alinyweza n’afuula Yerusaalemi okuba ettendo mu nsi. 862:8 Is 65:21,22, Yer 5:17Mukama alayidde omukono gwe ogwa ddyo n’omukono ogw’amaanyi ge nti Mazima siriwaayo nate eŋŋaano yo okuba emmere y’abalabe bo; so ne bannaggwanga tebalinywa mwenge gwo gwe wakolera emirimu: 962:9 Ma 14:23,26naye abaagikungula be baligirya ne batendereza Mukama; n’abo abaagunoga be baligunywera mu mpya ez’omu watukuvu wange.
1062:10 Is 11:10; 40:3; 57:14Muyite, muyite mu nzigi; mulongoose ekkubo ery’abantu; mugulumize mugulumize enguudo; mulondemu amayinja; muyimusize amawanga ebendera. 1162:11 Is 40:10, Zek 9:9, Mat 21:5Laba, Mukama alangiridde enkomerero y’ensi nti Mugambe omuwala wa Sayuuni nti Laba, obulokozi bwo bujja; laba empeera ye eri naye n’okusasula kwe kuli mu maaso ge. 1262:12 61:6Era balibayita nti Bantu batukuvu, Banunule ba Mukama: naawe oliyitibwa nti Eyanoonyezebwa, Kibuga ekitalekebwa.