
6
16:1 1 Bassek 22:19, 2 Byom 26:23, Yok 12:41Mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe, empanvu eyagulumizibwa, n’ekirenge kye nga kijjula yeekaalu. 2Basseraafi baali bayimiridde waggulu we: buli omu yalina ebiwaawaatiro mukaaga; ebibiri yabibikka ku maaso ge, n’ebibiri yabibikka ku bigere bye, n’ebibiri yabibuusa. 36:3 Kubal 14:21Omu n’ayogerera waggulu eri munne ng’agamba nti Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama ow’eggye: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye. 46:4 1 Bassek 8:10,11N’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyayogerera waggulu, ennyumba n’ejjula omukka. 56:5 Luk 5:8Ne ndyoka njogera nti Zinsanze! kubanga nfudde; kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu: kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow’eggye. 6Omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi, ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo; 7n’alikomya ku kamwa kange, n’ayogera nti Laba, lino likomye ku mimwa gyo; era obutali butuukirivu bwo buggiddwawo, n’ekibi kyo kirongoosebbwa. 86:8 Lub 1:26Ne mpulira eddoboozi lya Mukama, nga lyogera nti Naatuma ani, era anaatugenderera ani? Ne ndyoka njogera nti Nze nzuuno: ntuma nze. 96:9,10 Mat 13:14,15, Mak 4:12, Luk 8:10, Bik 28:26,27N’ayogera nti Genda obuulire abantu bano nti Okuwulira muwulire naye temutegeera; n’okulaba mulabe, naye temwetegereza. 106:10 Yok 12:40Savuwaza omutima gw’abantu bano, era ggala amatu gaabwe, era ziba amaaso gaabwe; baleme okulaba n’amaaso gaabwe, n’okuwulira n’amatu gaabwe, n’okutegeera n’omutima gwabwe, n’okukyuka, okuwonyezebwa. 116:11 Is 1:7Ne ndyoka njogera nti Mukama wange, birituusa wa okubaawo? N’addamu nti Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abituulamu, ne mu nnyumba nga temuli muntu, ensi n’ezikira ddala, 12era Mukama ng’ajjuludde abantu ng’abatutte wala, n’ebifulukwa nga bingi wakati mu nsi. 136:13 Ma 7:6, Yob 14:7Era ekitundu eky’ekkumi bwe kiriba nga kikyasigadde omwo, kiririirwa ddala nate: ng’omumyuliru era ng’omuvule ekikolo kyagyo nga kisigadde, bwe gitemebwawo; bwe kityo ensigo entukuvu kye kikolo kyayo.