
57
157:1 Zab 12:1Omutuukirivu azikirira, so tewali akissaako omwoyo; n’abantu ab’ekisa baggibwawo, nga tewali alowooza ng’omutuukirivu aggibwa mu bubi obugenda okujja. 257:2 2 Byom 16:14Ayingira mu mirembe; bawummulira ku bitanda byabwe, buli muntu atambulira mu bugolokofu bwe.
357:3 Yok 8:41,42Naye musembere wano, mmwe batabani b’omukazi omulogo, ezzadde ly’omwenzi n’omukazi omutambuzi. 457:4 Zab 35:21, Is 1:4Muzannyira ku ani? ani gwe mukongoola ne mumusoomoza? temuli baana ba kusobya, zzadde lya bulimba, 557:5 2 Bassek 16:4, Is 1:29, Ez 16:20,21mmwe abeereetera okwegomba mu mivule, wansi wa buli muti ogumera; abattira abaana mu biwonvu wansi w’enjatika z’enjazi? 6Mu mayinja amaweweevu ag’omu kiwonvu we wali omugabo gwo; ago, ago kye kitundu kyo: ago ge wafuukira ekiweebwayo ekyokunywa, ge wawa ekirabo. Ndiwooyawooyezebwa ebyo nga bibaddewo? 7Ku lusozi oluwanvu olugulumivu kwe wasimba ekitanda kyo: era eyo gye walinnyanga okuwaayo ssaddaaka. 857:8 Ez 16:25; 23:17Era wasimba ekijjukizo kyo ennyuma w’enzigi n’emifuubeeto: kubanga weebikkulidde omulala atali nze, era olinnye; ogaziyizza ekitanda kyo ne weeragaanira endagaano nabo; wayagala ekitanda kyabwe gye wakirabira. 9N’ogenda eri kabaka ng’olina amafuta ag’omugavu, n’oyongera kalifuwa wo, n’otuma wala ababaka bo, ne weetoowaza okutuusa ne mu magombe. 1057:10 Yer 18:12Olugendo lwo lwayinga obunene ne lukukooya; naye n’otoyogera nti Tewali ssuubi: walaba ekyakuzzaamu amaanyi; kyewava olema okuzirika. 1157:11 Zab 50:21; 78:11,36, Is 51:12,13Era ani gwe watya n’otekemuka n’okulimba n’olimba n’otonjijukira nze, so tokissanga ku mwoyo? obw’edda saasirika busirisi, naawe n’otontya? 12Ndibuulira obutuukirivu bwo, n’ebikolwa byo nabyo tebirikugasa. 1357:13 Zab 37:9, Is 11:9, Yer 11:12Bw’okaaba, abo be wakuŋŋaanya bakulokole; naye empewo eribatwala, omukka gulibaggirawo ddala bonna: naye oyo aneesiga nze ye alirya ensi, era ye alisikira olusozi olutukuvu. 1457:14 Is 62:10Era alyogera nti Mugulumize, mugulumize, mulongoose ekkubo, muggye enkonge mu kkubo ly’abantu bange.
1557:15 Zab 34:18; 138:6, Is 9:6; 42:3, Mi 6:6Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu omugulumivu atuula mu butaliggwaawo, erinnya lye Mutukuvu, nti Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu, era wamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde omukkakkamu, okulamya omwoyo gw’abakkakkamu, n’okulamya omutima gw’abo ababoneredde. 1657:16 Lub 6:3, Zab 103:9Kubanga siriwakana ennaku zonna, so sirisunguwala emirembe gyonna: kubanga omwoyo gwandiggweereddewo mu maaso gange, n’emmeeme ze nnakola. 1757:17 Yer 6:13Olw’omululu gwe ogutali gwa butuukirivu kyennava nsunguwala ne mmukuba, nakweka amaaso gange ne nsunguwala: ne yeeyongera okugenda mu maaso ng’abambaala mu kkubo ly’omutima gwe. 1857:18 Is 61:3, Yer 3:22Ndabye amakubo ge, era ndimuwonya: n’okuluŋŋamya ndimuluŋŋamya, ne mmuddiza ebisanyusa ye n’abo abamukaabirako. 1957:19 Bik 2:39, Bef 2:17, Beb 13:15Nze ntonda ebibala eby’emimwa: Emirembe, emirembe eri oyo ali ewala n’eri oyo ali okumpi, bw’ayogera Mukama; nange ndimuwonya. 2057:20 Yud 13Naye ababi baliŋŋanga ennyanja esiikuuka; kubanga teyinza kuteeka, n’amazzi gaayo gasiikuuka ebitosi n’ebisasiro. 2157:21 Is 48:22Tewali mirembe, bw’ayogera Katonda wange, eri ababi.