
56
156:1 Is 46:12,13Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Mukwatenga eby’ensonga, mukolenga eby’obutuukirivu: kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n’obutuukirivu bwange bunaatera okubikkulibwa. 256:2 Is 58:13Alina omukisa omuntu akola ekyo, n’omwana w’omuntu akinyweza; akwata ssabbiiti obutagyonoona, n’akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna. 356:3 Is 14:1So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti Mukama talirema kunjawula n’abantu be: so n’omulaawe tayogeranga nti Laba, ndi muti mukalu. 4Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama w’abalaawe abakwata ssabbiiti zange, ne beeroboza ebyo bye nsanyukira, ne banyweza endagaano yange. 556:5 2 Sam 18:18, Yok 1:12, Kub 3:12Nti: Abo be ndiwa ekijjukizo n’erinnya erisinga ery’abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala mu nnyumba ne munda w’ebisenge byange; ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo. 6Era ne bannaggwanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n’okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata ssabbiiti obutagyonoona, n’anyweza endagaano yange; 756:7Is 19:24,25, Mak 11:17, Bar 15:6abo ndibatuusa ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey’okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna. 856:8Is 11:12, Yok 10:16, Bef 1:10; 2:11-16Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti Oliboolyawo ne mmukuŋŋaanyiza n’abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.
956:9 Yer 12:9Mmwe mwenna ensolo ez’omu nsiko, mujje okulya, mmwe mwenna ensolo ez’omu kibira. 1056:10 Yer 6:13,17Abakuumi be bazibe ba maaso, bonna tebalina kumanya; bonna mbwa nsirusiru, tebayinza kuboggola; nga baloota, nga bagalamira, nga baagala okubongoota. 1156:11 Yer 23:1, Ez 34:2,3Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkubo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna. 1256:12 Is 28:7, Luk 12:19Boogera nti Mujje, naakima omwenge, ne twekamirira ekitamiiza; n’olw’enkya luliba ng’olwa leero, olukulu olutenkanikika.