
55
155:1 Nge 9:5, Mat 5:6, Yok 7:37, Is 44:23Mukale, buli muntu alumiddwa ennyonta, mujje eri amazzi, n’oyo atalina bigula; mujje mugule mulye; weewaawo, mujje, mugule omwenge n’amata awatali bigula awatali muwendo. 255:2 Yok 6:27Lwaki okuwaayo ebigula olw’ebyo ebitali bya kulya? lwaki okuteganira ebyo ebitakkutibwa? mumpulirire ddala nze, mulye ebirungi, obulamu bwammwe busanyukire amasavu. 355:3 Nge 4:4, Is 61:8, Yer 32:40, Ez 37:26, Bik 13:34Mutege amatu gammwe, mujje gye ndi; muwulire, n’obulamu bwammwe bunaaba bulamu: nange naalagaana nammwe endagaano eteriggwaawo, kwe kusaasira kwa Dawudi okw’enkalakkalira. 455:4 Zab 18:43, Is 9:6,7, Yer 30:9, Mi 5:2, Bik 5:31Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu era omugabe eri amawanga. 555:5 Zek 8:22,23, Bik 3:13Laba, oliyita eggwanga lye wali tomanyi, era eggwanga eryali terikumanyi liriddukira gy’oli, ku lwa Mukama Katonda wo ne ku lw’Omutukuvu wa Isiraeri; kubanga akugulumizizza.
655:6 Zab 32:6, Am 5:4Munoonye Mukama nga bw’akyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bw’akyali okumpi: 7omubi aleke ekkubo lye, n’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo. 8Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n’amakubo gammwe si makubo gange, bw’ayogera Mukama. 955:9 Zab 103:11Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe. 1055:10 2 Kol 9:10Kuba enkuba nga bw’ekka n’omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n’omuli ebyokulya; 11bwe kityo bwe kinaabanga ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange: tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola ekyo kye njagala, era kiriraba omukisa mu ekyo kye nnakitumirira. 1255:12 Zab 98:8, Is 44:23Kubanga mulifuluma n’essanyu, mulitwalibwa n’emirembe okuvaayo: ensozi n’obusozi ziribaguka okuyimba mu maaso gammwe, n’emiti gyonna egy’oku ttale girikuba mu ngalo. 1355:13 Is 35:1,2; 41:19Mu kifo ky’omweramannyo mulimera olusambya, ne mu kifo ky’omutovu mulimera omumwanyi: era kiriba eri Mukama erinnya, akabonero akataliggwaawo akataliggibwawo.