
53
153:1 Is 51:9, Yok 12:38, Bar 10:16Ani akkiriza ebigambo byaffe? era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama? 253:2 Is 52:14Kubanga yakulira mu maaso ge ng’ekisimbe ekigonvu era ng’ekikolo ekiva mu ttaka ekkalu: talina mbala newakubadde obulungi; era bwe tumulaba, nga tewali na kalungi akatumwegombesa. 353:3 Zab 22:6, Is 49:7, Mak 9:12, Yok 1:10,11Yanyoomebwa n’agaanibwa abantu; omuntu ow’ennaku era eyamanyiira obuyinike: era ng’omuntu abantu gwe bakweka amaaso gaabwe bwe yanyoomebwa bw’atyo, ne tutamuyitamu ka buntu.
453:4 Zab 69:26, Mat 8:17Mazima yeetikka obuyinike bwaffe n’asitula ennaku zaffe: naye twamulowooza nga yakubibwa yafumitibwa Katonda n’abonyaabonyezebwa. 553:5 Bar 4:25, 1 Peet 2:24Naye yafumitibwa olw’okusobya kwaffe, yabetentebwa olw’obutali butuukirivu bwaffe: okubonerezebwa okw’emirembe gyaffe kwali ku ye; era emiggo gye gye gituwonya. 653:6 Yer 50:6,17, 2 Kol 5:21, 1 Peet 2:25Ffe fenna twawaba ng’endiga; twakyamira buli muntu mu kkubo lye ye; era Mukama atadde ku ye obutali butuukirivu bwaffe fenna.
753:7 Yer 11:19, Mat 26:63, Yok 19:9, Bik 8:32Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n’atayasama kamwa ke; ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng’endiga esirika mu maaso g’abo abagisalako ebyoya; weewaawo, teyayasama kamwa ke. 853:8 Is 57:1Yaggibwawo olw’okujoogebwa n’omusango; n’eby’ezzadde lye, ani ku bo eyalowooza nga yazikirizibwa mu nsi ey’abalamu? yakubibwa olw’okusobya kw’abantu bange. 953:9 Mat 27:57,60, 1 Peet 2:22Ne bamuziikira wamu n’ababi, era n’abagagga mu kufa kwe; newakubadde nga tagiranga kyejo, so nga temuli bukuusa mu kamwa ke.
10Naye Mukama yasiima okumubetenta; amunakuwazizza: bw’ofuulanga obulamu bwe okuba ekiweebwayo olw’ekibi, aliraba ezzadde, alyongera ku nnaku ze, n’ebyo Mukama by’ayagala biriraba omukisa mu mukono gwe. 1153:11 Bik 13:39, Bar 5:18,19, 1 Yok 2:1Aliraba ku ebyo ebiva mu kulumwa kw’obulamu bwe, era birimumala: olw’okumumanya omuweereza wange omutuukirivu aliweesa bangi obutuukirivu: era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe. 1253:12 Luk 22:37, Bar 8:34, Baf 2:9, Bak 2:15, 1 Tim 2:5Kyendiva mmugabira omugabo wamu n’abakulu, era aligerekera omunyago wamu n’ab’amaanyi; kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa ku kufa, n’abalirwa wamu n’abasobya: naye yeetikka ekibi ky’abangi, era yawolereza abasobya.