
52
152:1 Nek 11:1, Yo 3:17, Kub 21:27Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni; yambala ebyambalo byo eby’obuyonjo, ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu: kubanga okuva leero temukyayingiranga mu ggwe nate atali mukomole n’atali mulongoofu. 2Weekunkumule enfuufu; golokoka otuule wansi, ggwe Yerusaalemi, weesumulule enjegere ez’omu bulago bwo, ggwe omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.
352:3 Is 45:13Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti Mwatundirwa bwereere; era mulinunulibwa awatali ffeeza. 452:4 Lub 46:6Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti Olubereberye abantu bange baaserengeta e Misiri okutuulayo: Omwasuli n’abajooga ng’abalanga bwereere. 552:5 Ez 36:20,23, Bar 2:25Kale nno kaakano nkola ki wano, bw’ayogera Mukama, kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere? abo ababafuga bawowoggana, bw’ayogera Mukama, n’erinnya lyange bazibya obudde bulijjo okulivuma. 652:6 Is 49:26Abantu bange kyebaliva bamanya erinnya lyange: kyebaliva bamanya ku lunaku luli nga nze nzuuyo ayogera; laba, nze nzuuno.
752:7 Bar 10:15Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta ebigambo ebirungi, alanga emirembe, aleeta ebigambo ebirungi eby’obulungi, alanga obulokozi; agamba Sayuuni nti Katonda wo afuga! 852:8 Is 33:17; 62:6, 1 Kol 13:12, 1 Yok 3:2Eddoboozi ly’abasajja bo abakuuma! bayimusa eddoboozi, bayimbira wamu; kubanga baliraba eriiso n’eriiso, Mukama bw’alikomawo e Sayuuni. 952:9,10 Zab 98:3,4, Luk 3:6Mubaguke okusanyuka, muyimbire wamu, mmwe ebifo eby’e Yerusaalemi ebyazika: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi. 10Mukama afungizizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g’amawanga gonna; n’enkomerero zonna ez’ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe. 1152:11 Ezer 1:7-11, Is 48:20, 2 Kol 6:17Mugende, mugende, muve omwo, temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu; muve wakati mu ye: mubeerenga balongoofu, mmwe abasitula ebintu bya Mukama. 1252:12 Kuv 12:33; 14:19, Is 58:8, Mi 2:13Kubanga temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka: kubanga Mukama alibakulembera; era Katonda wa Isiraeri ye alibasemba.
1352:13 Is 42:1Laba, omuweereza wange alikola n’amagezi, aliyimusibwa alisitulibwa, era aligulumira nnyo. 1452:14 Is 53:2,3Ng’abangi bwe baakwewuunya, (amaaso ge gaayonooneka bwe gatyo okusinga omuntu yenna, n’embala ye okusinga abaana b’abantu,) 1552:15 Is 49:7,23, Bar 15:21; 16:25bw’atyo bw’alimansira amawanga amangi; bakabaka balibuniza obumwa bwabwe gy’ali: kubanga kye batabuulirwanga balikiraba; ne kye batawuliranga balikitegeera.