
51
1Mumpulirize, mmwe abagoberera obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n’obunnya bw’obuya bwe mwasimibwamu. 251:2 Ez 33:24Tunuulira Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala: kubanga bwe yali ali omu yekka ne mmuyita ne mmuwa omukisa ne mmwaza. 351:3 Lub 2:8; 13:10, Is 35:10Kubanga Mukama asanyusizza Sayuuni: asanyusizza ebifo bye byonna ebyazika n’afuula olukoola lwe okuba nga Adeni n’eddungu lye okuba ng’olusuku lwa Mukama; essanyu n’okujaguza birirabika omwo, okwebaza, n’eddoboozi ery’okuyimba.
451:4 Zab 78:1, Is 2:3Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu, mmwe eggwanga lyange: kubanga etteeka lirifuluma gye ndi, era ndibeesaawo omusango gwange okuba omusana eri amawanga. 551:5 Is 46:13Obutuukirivu bwange buli kumpi, obulokozi bwange bufulumye, n’emikono gyange girisalira amawanga emisango; ebizinga birinnindirira, n’omukono gwange gwe biryesiga. 651:6 Mat 24:35, 2 Peet 3:10, Kub 21:1Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, era mutunuulire ensi wansi: kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka, n’ensi erikaddiwa ng’ekyambalo, n’abo abagituulamu balifa bwe batyo: naye obulokozi bwange bunaabeereranga ennaku zonna, so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
751:7 Zab 37:31, Mat 10:28Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mutima gwammwe, temutyanga kuvuma kwa bantu, so temukeŋŋentererwanga lwa kuyomba kwabwe. 8Kubanga ennyenje eribaliira ddala ng’ekyambalo, n’enkuyege eribalya ng’ebyoya by’endiga: naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna, n’obulokozi bwange okutuusa emirembe gyonna.
951:9 Zab 44:1; 89:10, Is 27:1; 52:1, Luk 1:51Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi, ggwe omukono gwa Mukama; zuukuka nga mu nnaku ez’edda, mu mirembe egy’ebiro eby’edda. Si ggwe wuuyo eyatemaatema Lakabu, eyafumita ogusota? 1051:10 Kuv 14:21Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag’obuziba obuwanvu; eyafuula obuziba bw’ennyanja okuba ekkubo abaanunulibwa okusomokeramu? 11N’abo Mukama be yagula balikomawo ne bajja e Sayuuni n’okuyimba; n’essanyu eritaliggwaawo liriba ku mitwe gyabwe; balifuna essanyu n’okujaguza, ennaku n’okusinda biriddukira ddala.
1251:12 Zab 118:6, Is 40:1,6; 66:13Nze, nze mwene, nze nzuuyo abasanyusa: ggwe anni n’okutya n’otya omuntu alifa, n’omwana w’omuntu alifuuka ng’omuddo; 13ne weerabira Mukama Omukozi wo, eyabamba eggulu, n’ateekawo emisingi gy’ensi; n’ozibyanga obudde bulijjo ng’otya olw’obukaali bw’omujoozi, bwe yeeteekateeka okuzikiriza? era buli ludda wa obukaali bw’omujoozi? 1451:14 Is 45:13Eyawambibwa eyagobebwa aliteebwa mangu; so talifa n’akka mu bunnya, so n’emmere ye teribula. 1551:15 Yer 31:35Kubanga nze ndi Mukama Katonda wo asiikuusa ennyanja amayengo gaayo ne gawuluguma: Mukama ow’eggye lye linnya lye. 1651:16 Is 49:2; 59:21Era ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisseeko mu kisiikirize ky’omukono gwange, ndyoke nsimbe eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi ne ŋŋamba Sayuuni nti Ggwe bantu bange.
1751:17 Is 52:1, Yer 25:15, Zek 12:2, Mat 20:22, Mak 14:36Zuukuka, zuukuka, yimirira, ggwe Yerusaalemi, eyanywera mu mukono gwa Mukama ku kikompe eky’obukaali bwe; wanywa ku kibya eky’ekikompe eky’okutagatta n’okikutankira. 1851:18 Zab 74:9Ku baana bonna be yazaala tekuli wa kumukulembera; so tekuli amukwata ku mukono ku baana bonna be yalera. 19Bino byombi bikuguddeko; ani alikukaabirako? okuzika n’okuzikirira, n’enjala n’ekitala; n’akusanyusa ntya? 2051:20 Kung 2:11,12Batabani bo bazirise, bagalamira mu nguudo zonna we zisibuka, ng’engabi mu kitimba; bajjudde obukaali bwa Mukama, okunenya kwa Katonda wo. 2151:21 Is 54:11Kale nno kaakano wulira kino, ggwe abonyaabonyezebwa, era atamidde naye si na mwenge: 2251:22 Yer 50:34bw’atyo bw’ayogera Mukama wo Mukama era Katonda wo awoza ensonga ey’abantu be, nti Laba, nziye mu mukono gwo ekikompe eky’okutagatta, kye kibya eky’ekikompe eky’obukaali bwange; tokyakinywangako lwa kubiri: 2351:23 Is 47:6; 52:2, Yer 25:17,26,28era ndikiteeka mu mukono gw’abo abaakubonyaabonya; abaagamba obulamu bwo nti Kutama tuyiteko: naawe n’oteekawo amabegago ng’ettaka era ng’oluguudo eri abo abayitako.