
48
148:1 Yer 5:2Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abaatuumibwa erinnya lya Isiraeri era abavudde mu mazzi ga Yuda; abalayira erinnya lya Mukama, era aboogera ku Katonda wa Isiraeri, naye si mu mazima so si mu butuukirivu. 248:2 Mi 3:11Kubanga beeyita ba mu kibuga kitukuvu, era beesigama ku Katonda wa Isiraeri; Mukama ow’eggye lye linnya lye. 3Nabuulira ebigambo ebyasooka okuva edda; weewaawo, byava mu kamwa kange ne mbiranga: nabikola mangu ne bituukirira. 448:4 Kuv 32:9Kubanga namanya ng’oli mukakanyavu, n’ensingo yo kinywa kya kyuma, n’ekyenyi kyo kikomo; 548:5 Yer 44:15-17kyennava nkikubuulira okuva edda; nga tekinnatuukirira nakiranga gy’oli: olemenga okwogera nti Ekifaananyi kyange kye kibikoze, n’ekifaananyi kyange ekyole n’ekifaananyi kyange ekisaanuuse bye bibiragidde. 6Wakiwulira; laba bino byonna; nammwe temulikibuulira? Nkulaze ebigambo ebiggya okuva mu biro bino, ebigambo ebyakwekebwa, by’otomanyanga. 7Bitondeddwa kaakano so si kuva dda; era okusooka olwa leero tobiwuliranga; olemenga okwogera nti Laba, nali mbimanyi. 8Weewaawo, towuliranga; weewaawo, tomanyanga; weewaawo, obw’edda bwonna okutu kwo tekuggukanga: kubanga namanya nga walyazaamaanya nnyo, era wayitibwa musobya okuva mu lubuto. 948:9 Zab 78:38Olw’erinnya lyange ndyosaawo obusungu bwange, n’olw’ettendo lyange ndizibiikiriza gy’oli nneme okukuzikiriza. 1048:10 Ma 4:20Laba, nkulongoosezza naye si nga ffeeza; nkulondedde mu kikoomi kwe kubonyaabonyezebwa. 1148:11 Is 43:25, Ez 20:9Ku lwange nze, ku lwange nze kyendiva nkikola; kubanga erinnya lyange bandirivumye batya? n’ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.
12Mpuliriza, ggwe Yakobo, ne Isiraeri gwe nnayita: nze nzuuyo; nze w’olubereberye, era nze w’enkomerero. 1348:13 Zab 102:25, Is 40:26Weewaawo, omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi, n’omukono gwange ogwa ddyo gwe gwabamba eggulu: bwe mbiyita ne biyimirira wamu. 14Mwekuŋŋaanye, mmwe mwenna, muwulire; ani ku bo eyali abuulidde ebyo? Mukama yamwagala: alikola Babulooni by’ayagala, n’omukono gwe guliba ku Bakaludaaya. 1548:15 Is 45:1-3Nze, nze mwene, njogedde; weewaawo, mmuyimuse; mmuleese, era olugendo lwe alirulabisa omukisa. 1648:16 Is 45:19; 61:1Munsemberere, muwulire kino; okuva ku lubereberye soogereranga mu kyama; kasookedde kibaawo, nga wendi: era kaakano Mukama Katonda antumye n’omwoyo gwe. 17Bw’atyo bw’ayogera Mukama, omununuzi wo, Omutukuvu wa Isiraeri, nti Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza okugasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu. 1848:18 Ma 32:29, Zab 81:13, Is 66:12, Luk 19:42Singa wawulira amateeka gange! kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja: 1948:19 Lub 22:17, Kos 1:10era n’ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu, n’ab’enda yo ng’empeke zaagwo: erinnya lye teryandisanguliddwa so teryandizikiridde mu maaso gange.
2048:20 Is 35:10; 52:9,11, Yer 50:8; 51:6,45Mufulume mu Babulooni, mudduke Abakaludaaya; mubuulire mwogere kino mukirange n’okutuusa enkomerero y’ensi n’eddoboozi ery’okuyimba: mwogere nti Mukama anunudde omuweereza we Yakobo. 2148:21 Kuv 17:6So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu: yabakulukusiza amazzi mu lwazi: era yayasa n’olwazi, amazzi ne gatiiriika. 2248:22 Is 57:21Tewali mirembe eri ababi, bw’ayogera Mukama.