
47
147:1 Zab 137:8, Is 3:26; 48:14Serengeta otuule mu nfuufu, ggwe omuwala wa Babulooni, atamanyi musajja; tuula ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w’Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga nyanyali era mwekanasi. 247:2 Balam 16:21, Is 20:4, Mat 24:41Ddira emmengo ose obutta: bikkula ku maaso, ggyako ekirenge, bikkula ku kugulu, oyite mu migga. 3Obwereere bwo bulibikkuka, weewaawo, ensonyi zo zirirabika: ndiwalana eggwanga so sirikkiriza muntu yenna. 4Omununuzi waffe, Mukama ow’eggye lye linnya lye, Omutukuvu wa Isiraeri. 547:5 Yer 8:14Tuula ng’osirise, weegendere mu kizikiza, ggwe omuwala w’Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga Mukyala wa mu bwakabaka. 647:6 Is 14:17; 51:23, Zek 1:15Nasunguwalira abantu bange, navumisa abusika bwange, ne mbawaayo mu mukono gwo: tewabasaasira n’akamu; ku bakadde obataddeko ekikoligo kyo kizito nnyo. 7N’oyogera nti Naabanga mukyala ennaku zonna: ebyo n’otobissa ku mwoyo so tewajjukira nkomerero yaabyo ya luvannyuma.
847:8 Kung 1:1, Zef 2:15, Kub 18:7Kale nno kaakano wulira kino, ggwe aweereddwa ejjaliri okwesiima, atuula ng’osiita, ayogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze; sirituula nga nnamwandu, so sirimanya kufiirwa baana: 947:9 Nak 3:4, Is 51:19, Yer 50:29,31naye bino byombiriri birikujjira mangu ku lunaku lumu, okufiirwa abaana ne bunnamwandu: birikujjako mu kigera kyabyo ekituukiridde, obulogo bwo newakubadde nga bungi butya, n’obusawo bwo newakubadde nga busukkiridde obungi. 10Kubanga weesiga obubi bwo; wayogera nti Siriiko andaba; amagezi go n’okumanya kwo bye bikukyamizza: n’oyogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze. 1147:11 Yer 51:41Obubi kyebuliva bukujjako; tolimanya mmambya yaabwo: n’akataali kalikugwako; toliyinza kukaggyawo: n’okuzika kulikujjako mangu ago kw’otomanyiridde. 12Yimirira nno n’obusawo bwo n’obulogo bwo obwayinga obungi, obwakutengezzanga okuva mu buto bwo; oba nga mpozzi oliyinza okugasa, oba nga mpozzi oliyinza okusobola. 1347:13 Is 44:25, Dan 2:2,10Abateesa naawe abayinga obungi bakukooyezza: abalaguza eggulu, abalengera emmunyeenye, abalanga eby’emyezi bayimirire nno bakulokole mu ebyo ebirikujjako. 1447:14 Is 10:17, Mal 4:1Laba, baliba ng’ebisusunku; omuliro gulibookya; tebalyewonya mu buyinza bw’omuliro: teguliba lyanda lya kwota, newakubadde ekyoto eky’okutuulako. 15Bwe bityo bwe biriba gy’oli ebyo ebyakutengezzanga: abaagulaananga naawe okuva mu buto bwo balibulubuuta bul muntu ku luuyi lwe ye; tewaliba wa kukulokola.