
46
146:1 Is 21:9, Yer 50:2Beri avuunama, Nebo akutama; ebifaananyi biri ku nsolo ne ku bisolo: ebintu bye mwatambuzatambuzanga bifuuse omugugu, omutwalo eri ensolo ekooye. 2Bakutama bavuunama wamu; tebayinza kuwonya mugugu, naye bo bennyini bagenze mu kusibibwa.
346:3 Ma 1:31Mumpulire, ggwe ennyumba ya Yakobo, n’ekitundu kyonna ekifisseewo ku nnyumba ya Isiraeri, be nnaweekanga nze okuva mu lubuto, be nnasitulanga okuva munda: 446:4 Zab 71:18n’okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n’okutuusa ku nvi naabasitulanga: nze nakola era nze naaweekanga: weewaawo, naasitulanga era naawonyanga. 5Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingererako tufaanane? 6Abaggya ezaabu nnyingi mu nsawo ne bapima effeeza mu minzaani, bagulirira omuweesi wa zaabu n’agifuula katonda; bavuunamira, weewaawo, basinza. 746:7 Zab 115:7Bamukongojja ku kibegabega, bamusitula ne bamusimba mu kifo kye n’ayimirira; mu kifo kye talisegukawo: weewaawo, walibaawo alimukaabirira, naye tayinza kwanukula newakubadde okumuwonya mu nnaku ze.
8Mujjukire ekyo, mwerage obusajja: mukijjukire nate, mmwe aboonoonyi. 9Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda: kubanga nze Katonda so tewali mulala; nze Katonda so tewali anfaanana; 1046:10 Zab 33:11, Nge 19:21, Beb 6:17alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n’ebigambo ebitannakolebwa okuva ku biro eby’edda; ayogera nti Okuteesa kwange kulinywera era ndikola bye njagala byonna: 1146:11 Kubal 23:19, Is 41:2ayita ennyonyi ey’amaddu okuva ebuvanjuba, omusajja ow’okuteesa kwange okuva mu nsi ey’ewala; weewaawo, nayogera, n’okutuukiriza ndikituukiriza; nateesa, n’okukola ndikikola. 12Mumpulirize, mmwe abalina emitima emikakanyavu, abali ewala n’obutuukirivu: 1346:13 Zab 85:9, Is 51:5, Yo 2:32nsembeza obutuukirivu bwange, tebuliba wala, n’obulokozi bwange tebulirwawo; era nditeeka obulokozi mu Sayuuni ku lwa Isiraeri ekitiibwa kyange.