
40
1Musanyuse, musanyuse abantu bange, bw’ayogera Katonda wammwe. 240:2 2 Byom 36:22, Kos 2:14Mwogere eby’okusanyusa Yerusaalemi, mumukoowoole nti entalo ze zimalirizibbwa, ng’obutali butuukirivu bwe busonyiyiddwa; ng’aweereddwa mu mukono gwa Mukama emirundi ebiri olw’ebibi bye byonna.
340:3 Zab 68:4, Mal 3:1, Mak 1:3, Yok 1:23Eddoboozi lyayogerera waggulu nti Mulongoose mu lukoola ekkubo lya Mukama, mugololere mu ddungu Katonda waffe oluguudo. 440:4,5 Luk 3:5,6Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi n’akasozi zirikkakkanyizibwa: n’obukyamu buligololwa, n’ebifo ebitali bisende biritereezebwa: 5n’ekitiibwa kya Mukama kiribikkulibwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu: kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde. 640:6-8 Yob 14:2, Zab 103:15, Yak 1:10,11, 1 Peet 1:24,25Eddoboozi lyayogera nti Yogerera waggulu. Ne wabaawo eyayogera nti Naayogerera ki waggulu? Omubiri gwonna muddo, n’obulungi bwagwo bwonna buliŋŋanga ekimuli eky’omu nnimiro: 7omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera; kubanga omukka gwa Mukama gugufuuwako: mazima abantu muddo. 8Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera: naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna.
940:9 Is 52:7Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, weerinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo n’amaanyi; liyimuse, totya; gamba ebibuga bya Yuda nti Laba, Katonda wammwe! 1040:10 Is 62:11, Kub 22:12Laba, Mukama Katonda alijja ng’ow’amaanyi, n’omukono gwe gulimufugira: laba empeera ye eri naye, n’okusasula kwe kuli mu maaso ge. 1140:11 Mat 18:12, Luk 15:5, Yok 10:3; 21:15Aliriisa ekisibo kye ng’omusumba, alikuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe, n’abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.
1240:12 Nge 30:4Ani eyali ageze amazzimu kibatu kye, n’apima eggulu n’oluta, n’agatta enfuufu ey’oku nsi mu kigera, n’apima ensozi mu minzaani n’obusozi mu kipima? 1340:13 Bar 11:34, 1 Kol 2:16Ani eyali aluŋŋamizza omwoyo gwa Mukama, oba eyamuweerera ebigambo n’amuyigiriza? 1440:14 Yob 21:22Ani gwe yali ateesezza naye ebigambo, era ani eyali amuyigirizza, n’amutegeeza mu kkubo ery’omusango, n’amunnyonnyola okumanya, n’amulaga ekkubo ery’okutegeera? 1540:15 Is 29:5Laba, amawanga gali ng’ettondo eriri mu nsuwa, era babalibwa ng’effufugge eriri mu minzaani: laba, asitula ebizinga ng’ekintu ekitono ennyo. 1640:16 Zab 50:10Ne Lebanooni tamala kuba nku, so n’ensolo zaako tezimala kuba ekiweebwayo ekyokebwa. 1740:17 Zab 62:9, Dan 4:35Amawanga gonna gali nga si kintu mu maaso ge; gabalibwa gy’ali nga si kintu ddala era nga kirerya. 1840:18 Is 46:5, Bik 17:29Kale ani gwe mulifaananya Katonda? oba kifaananyi ki kye mulimugererako? 1940:19 Kos 13:2Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, n’omuweesi wa zaabu akibikkako zaabu, n’akifumbira emikuufu egya ffeeza. 2040:20 Yer 10:3-5Ayinze obwavu n’okuyinza n’atayinza kirabo ekyenkana awo yeeroboza omuti ogutalivunda; yeenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba ekifaananyi ekyole, ekitalijjulukuka. 2140:21 Bik 14:17, Bar 1:19,20Temunnamanya? temunnawulira? temubuulirwanga okuva ku lubereberye? temutegeeranga okuva ku kutondebwa kw’ensi? 2240:22 Kubal 13:33, Yob 9:8Ye wuuyo atuula ku nsi enneekulungirivu, n’abagituulamu bali ng’amayanzi; atimba eggulu ng’eggigi, era alibamba ng’eweema ey’okutuulamu: 2340:23 Yob 12:21afuula abalangira obutaba kintu; afuula abalamuzi b’ensi okuba ebirerya. 2440:24 Zab 83:13Weewaawo, tebasimbibwanga; weewaawo, tebasigibwanga; weewaawo, ekikolo kyabwe tekisimbanga mmizi mu ttaka; era abafuuwako ne bawotoka, n’embuyaga ez’akazimu ne zibatwalira ddala ng’ebisusunku. 25Kale ani gwe mulinfaananya nze okumwenkana? bw’ayogera Omutukuvu. 26Muyimuse amaaso gammwe waggulu mulabe eyatonda ebyo bw’ali, afulumya eggye lyabyo ng’omuwendo gwabyo bwe guli: byonna abituuma amannya; olw’obukulu bw’obuyinza bwe, era kubanga wa maanyi mu kuyinza, tewali na kimu ekibulako.
27Ekikwogeza ki, ggwe Yakobo, n’ogamba, ggwe Isiraeri, nti Ekkubo lyange likwekeddwa Mukama, n’omusango gwange guyise ku Katonda wange? 2840:28 Yob 11:7, Zab 121:4; 147:5Tonnamanya? tonnawulira? Katonda ataliggwaawo, Mukama, Omutonzi w’enkomerero z’ensi, tazirika so takoowa; amagezi ge teganoonyezeka. 29Awa amaanyi abazirika; n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. 30Abavubuka nabo balizirika balikoowa, n’abalenzi baligwira ddala: 3140:31 Zab 103:5naye abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.