
4
14:1 Lub 30:23, Is 3:6Era abakazi musanvu balyekwata ku musajja omu ku lunaku luli, nga boogera nti Tunaalyanga emmere yaffe ffe, era tunaayambalanga ebyambalo byaffe ffe: kyokka tutuumibwe erinnya lyo; otuggyeko ekivume kyaffe.
24:2 Is 11:1; 27:6, Yer 23:5; 33:15, Zek 3:8; 6:12Ku lunaku luli ettabi lya Mukama liriba ddungi era lya kitiibwa, n’ebibala by’ensi biribawoomera nnyo abo abawonye ku Isiraeri, biriba birungi. 34:3 Kuv 32:32, Zab 69:28, Is 6:13; 10:20, Luk 10:20Awo olulituuka, oyo asigadde mu Sayuuni n’oyo abeera mu Yerusaalemi, aliyitibwa mutukuvu, ye buli muntu awandiikibwa mu balamu mu Yerusaalemi: 44:4 Ez 36:25, Mal 3:2, Mat 3:11Mukama bw’aliba ng’anaalizza ddala empitambi y’abawala ba Sayuuni, era ng’amazeemu omusaayi gwa Yerusaalemi wakati mu kyo, olw’omwoyo ogw’omusango, era olw’omwoyo ogw’okwokya. 54:5 Kuv 13:21,22Era Mukama alitondera ku buli nnyumba ey’olusozi Sayuuni ekire n’omukka emisana, n’okumasamasa kw’omuliro ogwaka ekiro: kubanga waggulu ku kitiibwa kyonna kulibaako ekiritimbibwako. 64:6 Zab 27:5, Is 25:4Era walibaawo eweema okuba ekisiikirize emisana eri olubugumu, n’okuba ekiddukiro era omwekwekebwa eri kibuyaga n’enkuba.